TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssentebe bamukutte n'obuwanga bw'abantu mu ssabo!

Ssentebe bamukutte n'obuwanga bw'abantu mu ssabo!

Added 18th October 2018

ABATUUZE b’oku kyalo Busubi mu ggombolola y’e Kisekka mu Lwengo baguddemu encukwe poliisi bw’ekoze ekikwekweto n’egwa ku buwanga bw’abantu bubiri mu ssabo ly’omusawo w’ekinnansi Ssaalongo Pascal Lubega nga ye Ssentebe w’ekyalo kino.

Ekikwekweto kino kyaddiridde abatuuze okwekubira enduulu ku poliisi y’e Kinoni ku bantu abazze babuzibwawo ng’ekikwekweto kyagenze okukolebwa ng’abantu 3 be baakabuzibwawo mu bbanga lya myezi esatu ababiri ne bazuulibwa nga baasaddaakibwa.

Gertrude Namagimbi ow’e Busubi y’omu ku bali mu nnaku oluvannyuma lw’okubulwako muzzukulu we Bridget Namugenyi 11, eyali asoma P5.

Ono yabula nga July 1 2018 bweyali agenda okusaba oluvannyuma ebisigala bye ne bizuulibwa nga August 7 mu kibira kya kalitunsi e Kyamaganda ng’ebitundu ebisinga tebiriiko.

Namagimbi alumiriza nti abantu okwali ne mulamu wa Lubega eyategeerekeseeko erya Babirye abaakwatibwa nga beekuusa ku musango guno baayimbulwa nga tebagguddwaako musango gwonna.

Poliisi y’e Lwengo yamutegeeza nga Babirye bwe yabatolokako ng’okuva olwo taddangamu kulabika.

Nga August 2, 2018 omutuuze omulala Maria Solome Nantongo yabula oluvannyuma lwa Lubega okumuyita agende mu kabuga k’e Kinoni akawungeezi amusasule ssente ze yali amubanja.

Okuva olwo Nantongo teyaddamu kulabika okutuusa omulambo gwe bwe gwazuulibwa mu kibira kye kimu.

Kyaterekera Nsubuga omu ku batabani b’omugenzi Nantongo yategeezezza nti nyabwe bwe yabula baagenda ewa ssentebe okumubuuza nnyaabwe gye yali n’abategeeza nga bwe yamusasula ne baawukana.

Baamusaba ayite olukiiko basalire wamu amagezi okuzuula omuntu waabwe n’abategeeza nti ensonga yali amaze okuzikwasa poliisi ekyabakkakkanya kyokka ebbanga lyayita nga tewali kiraga nti waliwo poliisi ky’ekola okuzuula abatta Nantongo.

Ekyalo kye kimu kyaddamu okugwamu ensasagge nga July 8, 2018 omuvubuka Sebastian Ssegawa eyali omulaalo ewa Lubega bwe yabula era okutuusa kati tazuulibwanga, okusinziira ku mukwano gwa Ssegawa (amannya gasirikiddwa) yategeezezza Bukedde nti Ssegawa yayawukana nabo mu kabuga k’e Kinoni ku ssaawa 1:30 nga Lubega amuyise ewuwe amusasule emyezi ebiri gye yali amubanja ng’okuva olwo teyaddamu kulabika.

Kino kyaggye abatuuze mu mbeera ne bagumbaku poliisi y’e Kinoni nga bagisaba okubaako ky’ekola.

Poliisi yasitukiddemu n’ekola ekikwekweto ku masabo agali ku kyalo kino.

Kigambibwa nti mu ssabo era mwasangibwamu wuzi eyava ku lugoye lw’omugenzi Nantongo, Nsubuga yategeezezza Bukedde nti olugoye okwava wuzi eyo poliisi yalumutuma era n’alutwalayo ng’ekimu ku bizibiti poliisi.

Omwogezi wa Poliisi mu Greater Masaka, Lameck Kigozi yakakasizza nti kituufu poliisi y’e Lwengo yazuudde obuwanga bw’abantu bubiri mu ssabo lya Lubega naye n’akwatibwa ng’akuumibwa ku poliisi enkulu e Lwengo.

Yagambye nti mu kiseera kino bakyanoonyereza okumanya ku obuwanga buno nga n’abasawo abakugu bagenda kwe ambisibwa okuzuula oba obuwanga buno bulina akakwate ku bantu abaabula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...

Ennyumba Aligo gy'asulamu wamu ne bazzuku

WORLD POPULATION DAY: Abant...

KU Lwomukaaga nga July 7 lunaku lwa nsi yonna olw’obungi bw’abantu era eggulo we lwatuukidde nga mu Uganda mulimu...