
Muzeeyi Muyiisa. Ku ddyo ye Rema Namakula
John Chrisestom Muyiisa ow’e Kibaale-Ssese nga ye yali omukiise w’essaza ly’e Bujumba mu lukiiko lwa 1995 olwabaga ssemateeka w’eggwanga, agamba nti talina kigendererwa kya kwesiba ku muyimbi oyo kumufunirako kubanga alinawo naye ekimuluma ye mwana obutamanya musaayi gwe.
Muyiisa agamba nti ebimu ku bimuluma kwe kuwulira muzzukuluwe ng’agambibwa nga bw’atamanyi bamuzaala gattako okubeera n’omusajja (Eddy Kenzo) gw’atabalaga mu butongole. Wano Muyiisa kwe kuwa Kenzo amagezi yeeyanjuleyo mu bakadde bamanye omuntu omutuufu alina omwana waabwe.
Ku Kenzo yayongeddeko nti ‘Oyo naye mumanyi bamuzaala wali Ssenyange (Masaka).’
Wabula Mzee Muyiisa agattako nti waliwo abamu ku b’ekikakye be yayise abafere abaayita ebbali ne bafunza Rema nga bagamba nti bokka be bali mu kika era beebo b’amanyi.
Mu balala be yayogeddeko ye muyimbi Halima Namakula ng’oyo Rema gw’atwala nga kitaawe ne nnyina, nti Halima okumwefuga bwali bunafu bwa bassenga ba Rema be yali abeera nabo e Gayaza nga tebamuweerera.
Muyiisa anyumya nti taata wa Rema ye mugenzi Charles Mukiibi eyali omutunzi w’amasuuti mu Masaka era yafa Rema muto nnyo.
Mukiibi yazaalibwa mukulu wa Muyiisa ayitibwa Aloysious Mukiibi mu Nyendo –Kayirikiti.
Maamawe yali akolera mu Kisenyi mu Kampala. Agamba nti Rema e Ssese tamanyiiyo naye ng’abamuzaala omuli ne Gerald Ssemwogerere eyali Meeya (mukulu wa Muyiisa), Omubaka Muyiisa n’abanene abalala bava mu kika ekyo.
Rema amwanukudde
Rema bwe yawulidde bino yamuzzeemu nti; Kisoboka kitya Mzee (Muyiisa) bw’aba akakasa nti be banzaala, okumunoonyeza mu mawulire ng’ate ye tamugobangako.
Ku ky’okuyita Kenzo okumwanjulayo yagambye nti omusajja gw’alibalaga ye mutuufu ate alimulaga bamaze kumunoonya mu butuufu naye n’essaawa eno tebayinza kubiwulira buwulizi nti Kenzo ye bba ne batuuka n’okumuyita amwanjule nga ye Rema tasoose na kumulaga ssenga.
Halima Namakula attottodde
Omwana bamuleke amanyi abantu abatuufu abamuzaala naye nze simulemesangako naye bamanye nti Rema muntu mukulu kati yeetegeerera.
Maneja wa Rema ky’agamba Geofrey Kayemba;
Nange mpagira Rema ku ky’okumunoonyeza mu mawulire kubanga bwe muba mwe mumuzaala mwandibadde mumusanga waka n’obujulizi bw’obuzaale bwe bwe muba mubulina.
Ababamanyi bye bagamba Waliwo abagamba nti Rema alina ettabi ly’ekika ky’Abasese b’akkiririzaamu ng’abamuzaala era abo be baamulaga ne kitaawe we yaziikibwa mu Nyendo- Kayiritiki, era nti we yagenda n’akolawo n’emikolo nga buwungeera.
Nti ekyamutamya abamu ku bamuzaala, kwe kubamutwalira nga wa mwaka gumu nga kitaawe afudde ne basaba nnyina obujulizi bw’obuzaale bwe obungi n’abaviira ate eyo emboozi Rema n’agimanya ng’akuze ne yeetamwa n’abeesonyiwa.