TOP

Ab'e Butabika bagaanyi akakiiko ka Ssentebe

Added 18th October 2018

Ab’e Butabika bagaanyi akakiiko ka Ssentebe

SSENTEBE wa Zooni ya Butabika Hospital, Isaac Namabaale olukiiko lw’ebyokwerinda lwe yayise lumuvudde mu ngalo oluvannyuma lw’abatuuze okumutabukira nga bamulanga obwannakyemalira n'alonda akakiiko k'abakulembeze b'afuga nabo ekitundu kino nga takkiriziganyiza nabo.

Namabaale, abatuuze abaabade bakambuwadde okukira ennumba katono bamugajambule oluvannyuma lw’okumubuuza ku ngeri gye yalondamu abakulembeze bano bo be bagamba nti si batuuze batuufu mu kitundu.

Abatuuze bano nga bakulembeddwaamu Amir Kabuye bagamba nti, bwe baamala okulonda. Ssentebe, yakozesa obuyinza bwe n’alonda akakiiko akaliko abantu abatali batuuze mu kitundu nga n’empisa zaabwe si nnungi ne bawakanya eky’okukulemberwa abantu be bateekakasa.

Yayongedde n’ategeeza nti, ekyalo kino kinene nnyo ate Ssentebe n’abaakakiiko ke tebasiibawo nga ne bwe wagwawo ekizibu tewali we bayinza kuddukira okukigonjoola. Omu ku batuuze, Masuudi Ssemakula yawakanyizza ebyayogeddwa abamu ku batuuze n’agamba nti ye ssentebe tamulinaamu buzibu abantu be baamwerondera era n'olukiiko lwe yalonda alukkiririzaamu. Agamba nti, abamu ku bawakanya obukulembeze bwa Namabaale beebo abaali ku ludda olwamuvuganya abagezaako okumulemesa.

Omutuuze omulala, Mayanja Kizito agamba nti, abantu Namabaale be yalonda tebabamanyi mannya ate era abamu ku bo baakasenga mu kitundu kino nga tebamanyi mpisa zaabwe.

Olukiiko lwacankalanye oluvannyuma lw’abamu ku batuuze okulemesebwa okubuuza ebibuuzo ebibaluma nga bagamba nti bayaaye abatalina bye bagenda kwogera ebikulaakulanya ekitundu. Wano Meeya wa Nakawa, Ronald Balimwezo we yatuukidde n’akkakkanya abatuuze bano n’agamba nti tewali muntu asobola kuggya bwesige mu bakulembeze, alina okwemulugunya okw’engeri yonna alina kugenda mu kkooti.

Yabagambye nti, abakulembeze bano baamala dda okulayizibwa ku bukulu buno era essaawa eno baliwo mu mateeka era ye n'olukiiko lwe tebasobola kubagoba. Yabuuzizza Namabaale oba yayanjulira abatuuze abakulembeze ba LC1 b'afuga nabo n’amutegeeza nga bwe yakikola era ne babakkiriza.

Meeya Balimwezo yalagidde abatuuze bano okuwandiika ebbaluwa erimu okwemulugunya kwabwe ku nsonga y’abakulembeze bano be bateesiga bagitwale mu ofi isi ye alabe engeri gy’ayinza okugonjoola obutategeeragana buno mu mirembe.

Mu kitundu kino era waliwo obutakwatagana ku nsalo za zooni zino ng’abamu ku batuuze bagamba nti ba mu Mutungo Zooni 4 ate abalala bagamba nti bali Butabika. Wabula Balimwezo yabagambye nti ekitundu kino kiri mu muluka gw’e Butabika era n’asuubiza okutuuza olukiiko abalage ensalo zino ng’asinziira ku maapu ya Nakawa.

Mu lukiiko luno bakkaanyizza okusasula 2,000/- buli mwezi nga zino zigenda kuyambako okusasula abantu abaateekebwawo okukuuma mu budde bw’ekiro. Akulira Poliisi y’e Mutungo, Endrick Nuwamanya yayanjudde densite y’ekyalo buli mutuuze gy’alina okubeera nayo ng’anaasangibwa nga tagirina waakuvunaanibwa.

Olukiiko lwetabiddwaamu abakulembeze abalala okwabadde bakansala b’omuluka gw’e Butabika okuli Chrisitine Ofwono ne Andrew Kiriggwajjo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...