TOP

By'olina okukola okutangira kookolo w'olususu

Added 18th October 2018

By'olina okukola okutangira kookolo w'olususu

PATRICK Kaboyo 40, mutuuze w’e Masujju - Mponge mu Disitulikiti y’e Mukono anoonya obukadde 5 n’ekitundu okufuna obujjanjabi obwetaagisa okujjanjaba akawuka ka kookolo akamulidde olususu lw’omubiri gwonna.

Annyonnyola olumbe bwe lwatandika: Bwe nnali mpeza emyaka 30, banzuulamu akawuka akaleeta siriimu, saatandikirawo ddagala naye oluvannyuma nagenda ne nfuna eddagala eriweweeza ku kawuka. Wabula ku ntandikwa y’omwaka oguwedde nafuna ekisente ku mukono ogwa ddyo.

Saasooka kukitwala mu ddwaaliro nga ndowooza nti kinaagenda, naye nagenda okulaba nga kyeyongera kugejja ate nga kinsiiwa nnyo. Nagenda mu ddwaaliro lya Mponge Health Center III ne bansindika e Mulago oluvannyuma lw’obutabeera na byuma bikebera lususu.

Eno gye baazuulira nti nnina akawuka ka kookolo w’olusu ng’ambunye omubiri gwonna. Wabula bwe bansaba ssente akakadde kamu n’emitwalo 30 okutandika obujjanjabi ne zimbula. Nagezaako okuzinoonya ne nnemererwa ate ng’eno bwe mmira eddagala ly’akawuka akaleeta siriimu.

Kati omubiri gwange gwonna gwafuuka nga ogwa namagoye, gunsiiwa, gulimu obunfumita ng’empiso naddala mu musana oba bwe ntuuyana, ate nnina ekizibu nti ebitundu byange ebyekyama bimaliddwaawo amabwa era okufuuyisa kwa nduulu. Oyo yenna asobola okumpa obuyambi asobola okubuyisa mu basawo ababudaabuda abalina akawuka ka siriimu ku ddwaaliro lya Mponge Health Center III,” Kaboyo bw’amaliriza.

KOOKOLO w’olususu alanga omubiri ogunafuye Dr. Fred Okuku, omukugu mu kujjanjaba obulwadde bwa kookolo e Mulago agamba nti kino kye kimu ku bika bya kookolo ebikyasinze okuba eby’omutawaana mu balwadde abalina akawuka akaleeta siriimu era kano ke kabonero akalaga nti abaserikale abalwanyisa endwadde mu mubiri baanafuwa. Buli omuntu bw’abeera n’akawuka akaleeta siriimu, kimubeerera kyangu okufuna obulwadde buno y’ensonga lwaki ennaku zino buli omulwadde bwe bamuzuulamu akawuka ka siriimu alina okutandikirawo eddagala okusobola okwewala embeera.

 

OMUWENDO GW ’ABA LWA DDE Uganda y’esinza abalwadde ba kookolo ow’ekika kino ng’abantu abalina akawuka ka siriimu abalina akawuka ka kookolo ono bali 60 ku 100. Akawuka kano kayitibwa Human Herpes Virus -8 (HHV-8) nga kasobola okwerippa ku buli kitundu kya mubiri okuli mu kamwa, ku byenda, ekibumba, ebitundu byekyama, amawuggwe, emimiro n’ebitundu ebirala wabula buli we kakwata koonoonawo ate kanguwa okusaasaana mu mubiri.

ENGERI GY ’ASAASAANAMU Dr. Okuku annyonnyola nti, ng’oggyeeko okukwata abo abalina akawuka ka siriimu kookolo ono asobola n’okukwata n’abatalina siriimu. Wabula kasobola okusaasaana okuva kw’akalina okudda ku mulala ssinga:

Omuntu yeekwata awali amabwa ga kookolo w’ekika kino n’atanaaba mu ngalo ate n’akwata omulala mu ngalo.

Omuzadde bw’abeera n’akawuka kano n’agaaya emmere oba ennyama n’agiwa omwana asobola okukwasa omwana obulwadde buno.

Ssinga abantu beenyegera ng’omu akalina asobola okukasiiga omulala olw’okuwaanyisiganya amalusu. 

Okunywera ku kintu kye kimu ng’ekikopo oba eccupa n’oyo alina akawuka akaleeta kookolo ono nakyo kivaako okukwasa omulala.

 Okukozesa akasenya ke kamu n’omuntu omulala ate n’okukozesa akasenya akakaddiye nga kakalabula ekibuno, ssinga ofuna amabwa mu kamwa ate n’onywera ku kikopo alina akawuka w’anyweredde ofuna akawuka kano.

Abakozesa emimwa mu bitundu byekyama mu biseera by’okwegatta balina ebitundu 100 okufuna akawuka kano ssinga munno abeera nako.

BY ’OKOLA OKWETANGIRA AKAWU KA KANO

Okumanya nga bw’oyimiridde ku kawuka akaleeta siriimu kye kisookera ddala.

2 Okwekebeza akawuka ka kookolo buli mwaka kiyamba nnyo okwetangira kuba ssinga kazuulibwa mangu, kasobola okuwona.

3 Okufaayo okulya emmere erimu ebiriisa by’omubiri byonna kiyamba abaserikale b’omubiri okuddamu amaanyi agalwanyisa ebirwadde ebiba bigulumbye.

4 Okwewala ebikolwa by’okwegatta n’abantu abangi oba b’otomanyi bwe bayimiridde ku by’akawuka ka siriimu.

5 Abawala abato n’abakyala ssinga bafuna okukakibwa akaboozi balina okugenda mangu mu ddwaaliro babakebere akawuka kano nga bukyali.

6 Okukyusibwa ebitundu by’omubiri ng’omusaayi, ensigoakataago, ekibumba n’ebirala birina okukolebwa eddwaaliro nga lirina ebyuma ebikebera kookolo okwewala okusiigibwa ssinga gwe babiggyeeko akalina.

7 Okwettanira dduyiro owa buli lunaku omubiri ne gutuuyana okuzibulukula obutuli bw’omubiri kyongera abaserikale b’omubiri amaanyi ne tutafuna bulwadde kika kino.

8 Abagatta empiso nga beekuba ebiragalalagala ebitamiiza balina okukomya omuze guno kuba gusaasaanya akawuka okuva kw’omu okudda mu mulala.

9 Abakyala abazaala nga balina akawuka akaleeta siriimu balina okwewala okuyonsa abaana baabwe kuba kibeera kyangu okulwaza omwana.

10 Buli alina akawuka akaleeta siriimu tandikirawo eddagala okwewala okufuna akawuka akaleeta kookolo ow’ekika kino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...

Nnawasa omubanda n'antamya ...

NZE Naboth Nuwagira, 27, mbeera Kitintale. Obulamu bwange bwonna eby’abakyala saabiwanga nnyo budde nga nnoonya...