
Walusimbi (wakati) n’aba famire ye.
Bino byabadde ku kkooti enkulu mu Kampala abaserikale ba Flying Squard bwe babadde bazze okukwata Baker Walusimbi avunaanibwa emisango gy’okuwamba abawala ba yunivasite oluvannyuma n’abatta.
Walusimbi yayimbulwa October 4, ku kakalu ka bukadde 20 ezitali za buliwo ng’omulamuzi Yasin Nyanzi owa kkooti enkulu ye yamuta. Yalina okweyanjula buli lwalagiddwa n’abamweyimrira babiri.
Ku Lwokusatu Walusimbi yabadde azze okweyanjula kyokka n’abaserikale baabadde bamulinze okumukwata nga kigambibwa nti alina emisango emirala.
Walusimbi yakwatibwa mu 2005 ku misango gy’okuwamba abawala n’abasobyako oluvannyuma n’abatta. Abadde yaakamala emyaka 13 mu kkomera nga tewali bajulizi.
Walusimbi yategezezza nti bwe yatuuse mu ofiisi ya poliisi ku kkooti akulira poliisi eno n’amugamba nti musibe era akwatiddwa wabula teyamunnyonnyodde misango gimukwasizza n’ayongerako nti ebyo ajja kubimanya oluvannyuma.
Walusimbi eyabadde anekedde mu ssuuti enzirugavu yakyusizza engoye n’engatto okwetegekera ekkomera.
Kkooti yabadde yeetooloddwa abaserikale ba Flying Squad. Akulira poliisi ya kkooti, ASP Ngabiirwe yawerekedde Walusimbi okumufulumya oluggya lwa kkooti era wano aba Flying Squard we bamukwatidde.
Waabaddewo akonyolagano wakati wa famire ye ne poliisi era famire yasinzizza amaanyi ne bamuzza mu lujja lwa kkooti.
Abehhanda abaabadde abakambwe bategezezza nga Walusimbi bwe yayimbulwa olw’okubulwa obujulizi obumulumiriza ku misango egyamuteekebwako kyokka bewuunyizza okulaba ng’ate bagala kuddamu ku mukwata.
Baabadde bamuteeze mu mmotoka kigege nnamba UAV 479E. Walusimbi 45, kigambibwa nti ye musajja eyenyigira mu kutta abawala mu 2005 nga yabajjanga mu bifo ebikyakalirwamu bwe yali abatwalako mu mmotoka ye.
Omusango gwalemwa okuggwa oluvannyuma lw’abalondoola emisango egyamanyi mu kkooti abaali mu musango gwe okudduka n’okutuusa kati tebaddanga nga kwekwava okumuta.