TOP

Gwe baakutte mu bukambwe mmemba wa DP

Added 20th October 2018

YUSUF Kawooya nga bamukwata yalaajanye nnyo, ng’alaba obulamu bugenda. Abasajja abagambibwa okuba abaserikale abaabadde mu ngoye eza bulijjo nga bakutte emmundu baamutaayizza okuliraana Klezia ya Christ the King mu Kampala wakati ne bakozesa amaanyi agasukkiridde nga bamukwata.

 Kawooya nga bamunywerezza ku ttaka.

Kawooya nga bamunywerezza ku ttaka.

Omuserikale: Tukwagala mu mmotoka….

Kawooya: Nkoze ki?

Abaserikale baatandiddewo okumukuba nga bwe bamuvuma ebigambo ebizito. Omuserikale eyabadde mu ssaati ey’ebikuubo ebya kiragala yatandise okukuba Kawooya ebigala by’emmundu mu mugongo ne mu mbiriizi.

Kawooya: Onzitira ki?

Leka nnyingire mpola…..Leka nnyingire mpola nno…..(mu mmotoka)

Omuserikale: Yingira mu mmotoka……. Omuserikale akyusa ekigala ky’emmundu n’akisogga Kawooya mu bbunwe okumpi n’ekiwato.

Yakimusozze emirundi ebiri era Kawooya amaanyi ne gamuggwaamu. Bamuyingizza mu mmotoka kamunye UAF 325S nga bamukuba era bw’alaajana.

Abantu baabulijjo baawuliddwa nga balaga okunyolwa era omusajja omu n’agamba nti: Omusajja bamuttira wano bannange ate omukyala omulala n’ayisaamu eddoboozi mu nnyiike n’agamba nti; “Omusajja mumuleke nnamwe, mulimba….si bwe bakwata omuntu!”

BAAMULONDODDE AVA KU BBANKA

Mikwano gye bagamba nti Kawooya baamulondodde ava ku Bbanka ya KCB ku Jinja Road mu Kampala.

Ensonda mu byokwerinda zaategeezezza nti baasoose kumuteekako owa bodaboda eyabadde amutambulirako okuva ku KCB Bank okwambuka ku Kimathi Avenue okuliraana Klezia ya Christ the King.

 Kawooya nga bamunywerezza ku ttaka.

Bwe yakenze nti waliwo abamutambulirako, yasazeewo okutemerera ng’ateebereza nti bayinza okubeera ababbi abaagala okumunyagako ssente ze, era yabadde asala nga bw’aweta mu mmotoka, ne yeekoona kw’emu ku mmotoka n’agwa mu kkubo.

Abasajja abaabadde mu kamunye awo we baafubuttukiddemu nga bakutte emmundu n’empingu ne bamukwata mu ngeri ey’obukambwe okumulinnyisa kamunye yaabwe.

Ensonda mu byokwerinda zaategeezezza nti abaakutte Kawooya baabadde bajaasi b’ekitongole ky’amagye ekikessi.

Wabula ku bonna, tekwabaddeko yabadde mu yunifoomu. N’emmotoka gye baakozezezza okumukwata, yabadde takisi eriko ennnamba ezabulijjo nga n’omuntu asobola okugiyimiriza emutwaleko ng’alowooza takisi.

Emmotoka eno yasoose kujja n’esimba okuliraana La Bonita okumpi n’akafo Kawooya w’abadde atera okulya ekyemisana.

Abaabaddewo ‘misoni’ y’emmotoka baagitegedde Kawooya amaze kukwatibwa.

Okuva ku makya abantu abatamanyiddwa obwedda bakuba ku ssimu ye kyokka nga tebalina kye boogera, olwo Kawooya kwe kutegeeza ku banne nti essimu ye emusobedde, waliwo abagikubako naye teboogera okutuusa lw’abaggyako.

Obwedda ye agezaako okukuba naye ng’essimu ebuukako bubuusi terina gw’esobola kukubira, era kyategeerekese luvannyuma nti awo baabadde bamulondoola nga bakozesa essimu.

Omu ku bali mu byokwerinda yategeezezza Bukedde nti ekikwekweto kyabaddemu abaserikale munaana ababaadde bakutte emmundu AK47 ne SMG ku Lwokuna era baanyigidde Kawooya wansi oluvannyuma ne batandika okumukuba ebigala by’emmundu era n’omutwe tebaagutalizza.

Baasoose kumusiba mpingu nga tebannatandika kumukuba bigala bya mmundu. Abantu abaabadde okumpi awo we baakungaanidde okulaba ogubadde.

Abaserikale baayimirizza emmotoka zonna era ne basigala mu kibangirizi nga bwe bawa ebiragiro. Baamukutte essaawa nga zikunukkiriza mu munaana ez’emisana.

Baamututte alaajana nga bwakaaba kyokka ng’abasajja abaabadde abakambwe ebitagambika, bwe bamulagira obutabawogganira.

Abamu bagamba nti abaamukutte baamututte ku CPS kyokka abalala nti mmotoka yabulidde mu kibuga era baatandikiddewo okumunoonya wabula n’ababula.

Amyuka omwogezi w’amagye, Lt. Col. Deo Akiiki yagambye nti, okukwatibwa kwa Kawooya baabadde bakutegeddeko ng’abeebyokwerinda era baabadde mu nteekateeka ezifulumya ekiwandiiko ku nsonga eyo. Ebyamukwasizza nabyo byabadde bikyatankanibwa.

ABA FAMIRE BAGGUDDEWO OMUSANGO

Sharifa Nakitende muto wa Kawooya yagambye nti, olwalabye akatambi nga batulugunya mukulu we, baddukidde ku poliisi ya CPS mu Kampala ne baggulawo omusango gw’okuwambibwa kw’omuntu waabwe.

 Kawooya ng’ali ku ttaka.

Yagasseeko nti, baagenze ku buli poliisi mu Kampala ne babagamba nti tebamanyi waali.

Agattako nti, kye baabadde bazzaako kwe kugenda mu nkambi ya miritale e Makindye ne ku kitebe kya CMI e Mbuya balabe oba gy’akuumirwa.

Asuman Lule muganda wa Kawooya yagambye nti, baali bakola bonna ne Kawooya nga batema nnyama mu Lufula ku mulembe gwa Hajji Nasser Ntege Ssebaggala era yali muwagizi we lukulwe.

Yali muwagizi wa DP wabula yawagukako mu kayuuguumo akaaliwo mu 2006 era oluvannyuma yeesimbawo ku kifo kw’obwa Kansala akiikirira omuluka gwa Mutungo I ku kkaadi ya SDP ng’akolera wamu ne Michael Mabikke ne bamuwangula oluvannyuma Ssebaggala naamutwala mu kibiinja kye ekya Youth Brigade nga yaakikulira.

Nakitende yagambye nti, mukulu we alina amaka mangi naye gaabadde amanyi g’e Mbuya.

Yakulira bukojja mu Zooni 7 e Kitintale mu maka ga Haji Mukiibi azaala nnyina Hafuwa Zawedde era gye yatandikira n’emirimu gy’okutema ennyama oluvannyuma n’ayingira n’ebyobufuzi.

Oluvannyuma yaddayo mu DP era abadde atambulira nnyo mu bavubuka ba UYD.

Abadde akola ne looya Yusuf Nsibambi mu mirimu gy’ebyettaka wamu n’ekkolero ly’obutegula Nsibambi lye yateeka ku lw’e Masaka.

Kawooya era abadde akola n’emirimu gy’obwa bbulooka bw’ettaka era abamu baasoose kuteebereza nti byandiba nga bye baamuleetedde obuzibu.

Abamu baagambye nti waliwo abamuteebereza mu bikolwa by’okubba emmotoka wabula bino abooluganda lwe baabisambazze.

Aba DP baakitadde ku nsonga za Bobi Wine kubanga Kawooya y’omu ku baagenda mu Arua mu kalulu ka August gye baasibira Robert Kyagulanyi (Bobi Wine), Francis Zaake n’ababaka abalala ku ffujjo erigambibwa nti mwe baakubira emmotoka ya Pulezidenti ejjinja ne bagyasa endabirwamu.

Mwafiiramu ne ddereeva Yassin Kawuma eyali mu mmotoka ya Bobi Wine gwe baakuba amasasi.

Kawooya nti yali akolera mu kibinja kya Mabikke era ebintu bwe byatabuka nti y’omu ku badduka mu Arua n’akomawo e Kampala era aba DP bagamba nti omuntu waabwe yakwatiddwa lwa byabufuzi.

Kyokka abalala bagamba nti abadde yeenyigira mu by’okukola ogwa bawannyondo nga babapangisa ne bagenda bayambako okusengula kyokka bino aba DP nabyo baagambye nti biwuddiisa bantu kubaggya ku nsonga ntuufu.

Abdul Karim Lukoda, Sulaiman Kidandala Sserwadda , Fred Kavuma bonna nga ba DP baategeezezza nti baatandise okunoonya okuzuula munnaabwe gye baamusibidde balwanirire eddembe lye.

Baavumiridde engeri gye yakwatiddwaamu ne bagamba nti eyongera kuggumiza Bobi Wine ne Zaake kye balumiriza abaserikale okubatulugunya nga bakwatiddwa.

Yusuf Nsibambi yategeezezza nti Kawooya y’omu ku bakozi be ababadde abawulize kyokka nga tayuugayuuga kuva ku ndowooza ze.

Abavubuka ba DP batuuzizza olukiiko lwa bannamawulire ne balangirira kaweefube w’okunoonya munnaabwe n’okuggulawo emisango ku baserikale abaamutulugunyizza.

Nasser Sebaggala (Seya) yagambye nti Kawooya abadde mpagi luwaga eya DP e Kitintale. Mufumbo era alina n’abaana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

DERRICK ORONE naye alaze by...

Yawangudde eky'omubaka wa Gogonyo mu disitulikiti y'e Pallisa. Aludde mu nsiike y'okuyimba era abaddeko maneja...

GEOFFREY LUTAAYA alaze byat...

GEOFFREY LUTAAYA Sisobola kuva mu kuyimba kuba kwe kunfudde Lutaaya ensi gw'emanyi naye olw'obuvunaanyizibwa kati...

Ebyakwasizza Dr Lulume mu k...

OMUBAKA wa Buikwe South eyaakalondebwa Dr. Lulume Bayiga n'abantu abalala mwenda baakwatiddwa poliisi y'e Nyenga...

'Siri mwangu buli ankubyeek...

EYAGAANYE okusasula ssente z'entambula bamutabukidde ne bamwambula ne bamutwala ku poliisi gye yeekoledde obusolo...

Ssaabasumba asabye Gavument...

SAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala Dr.Cyprian Kizito Lwanga awadde Pulezidenti Museveni amagezi okusoosowaza...