TOP

Poliisi eragidde Zaake okuddamu okweyanjula

Added 21st October 2018

POLIISI eragidde omubaka wa Mityana Municipality, Francis Zaake okweyanjula ku kitebe kya bambega e Kibuli ku Mmande.

 Winnie Kiiza, Zaake, Nsamba ne Bombi Wine nga bali mu maka ga Zaake.

Winnie Kiiza, Zaake, Nsamba ne Bombi Wine nga bali mu maka ga Zaake.

Bya MOHAMMED SSEBULIBA, LUKE KAGIRI NE SOFIA NALULE

Zaake yagambye nti akyawulira obukosefu mu mubiri era akyayogeraganya ne balooya be batuuke ku kusalawo ku ky’okweyanjula ku poliisi ku Mmande eno nga bwe yalagiddwa.

Ku Lwokuna, ababaka ba Palamenti okuli Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) owa Kyaddondo East, Winnie Kiiza (mukazi Kasese), Gerald Karuhanga (Ntungamo Municipality), Muwanga Kivumbi (Butambala), Patrick Nsamba (Kasanda North), Paul Mwiru (Bugiri), Emmanuel Ssempala Kigozi (Makindye Municipality), Florence Namayanja (Bukoto East), Angelina Osege (Soroti), Gilbert Oulanyah n’abalala baakyalidde Zaake okumubuuzaako.

Zaake ne Bobi Wine baawayizza okumala akaseera nga bejjukanya bye baayitamu oluvannyuma lw’akavuyo akali mu Arua nga August 13, 2018 bwe baabakwatira mu kampeyini za Arua Municipality nga banoonyeza Kassiano Wadri akalulu.

Zaake yeewuunyizza okulaba ttiimu y’ababaka eyamukyalidde nga nnene kubanga yabadde asuubira abantu batono.

Yabeebazizza okumulaga omukwano n’abasaba n’okumubeererawo mu misango egyamuggulwako okuli okulya mu nsi olukwe n’okutoloka ku bakuumaddembe.

Yabategeezezza nti yafunye ebiragiro okuva ku poliisi ebimujjukiza okweyanjula ku kitebe kya bambega e Kibuli ku Mmande eno (enkya). Zaake yali yaweebwa omwezi gumu okuddamu okweyanjula ku poliisi e Kibuli era gwaweddeko ku nkomerero ya wiiki ewedde.

Wabula omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Emillian Kayima yagambye nti bannabyabufuzi ab’oludda oluvuganya gavumenti bazimbulukusa nnyo ensonga olw’ebigendererwa byabwe n’ategeeza nti Zaake bw’aba teyeewulira bulungi alina okuwandiikira ababeera bamwetaaga n’abategeeza embeera mw’ali ne basalawo oba bongezaayo okweyanjula kwe.

Omwezi oguwedde, omubaka Betty Nambooze owa Mukono Municipality naye yalagirwa okweyanjula ku poliisi oluvannyuma n’atwalibwa mu kkooti e Nakawa kyokka yagendera mu kagaali nga yeemulugunya okumuleppusa ng’amagulu gakyamuluma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...