TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ekubye owa bodaboda essasi ng'etaasa omubbi

Poliisi ekubye owa bodaboda essasi ng'etaasa omubbi

Added 21st October 2018

POLIISI ekubye amasasi okukanga abantu ababadde baagala okutta omubbi ne gakwasa omuvuzi wa bodaboda nga kati apoocera mu ddwaaliro e Mulago.

 Mamani ng’ali ku kitanda.

Mamani ng’ali ku kitanda.

Nicholas Mamani 24, ow’e Katanabirwa mu disitulikiti ye Kyankwanzi amasasi gaamukwasizza ku bisambi byombi erimu ne liwagamira nga kati ali mu bulumi mu ddwaaliro.

Mamani yagambye nti aba bodaboda baakutte omusajja ng’atunda sipeeya ne bamuteebereza okuba nga ye yabbye pikipiki ya munnaabwe eyabadde ebuze n’agitemamu sipeeya.

Aba bodaboda wamu n’abatuuze bamubuuzizza sipeeya gye yamuggye kyokka yabadde akyabannyonnyola abalala ne batandika okumukuba.

Mu ngeri y’okwetaasa yadduse n’ayingira emu ku nnyumba y’omutuuze.

Abantu abamu badduse ne bayita poliisi etaase embeera nayo yayanguye okutuuka.

Aba poliisi okuva e Kyankwanzi abaggyidde ku pikipiki baayingidde mu nnyumba ne baggyaayo omusajja.

Kyokka baabadde bafuluma abantu ne bataama ne batandika okukasuka amayinja nga bwe basaba poliisi emubawe bamwekolereko kubanga ababbi be bakwatta ate babayimbula.

Poliisi bwe yalabye ng’abantu bataamye kwe kukuba amasasi mu bbanga nga gano ge gaakwasizza Mamani mu bisambi.

Yasookedde mu ddwaaliro e Kyankwanzi abaamusindise e Mulago basobole okumuggyaamu essasi eryabadde liremedde mu kisambi era ne baliggyamu.

Akulira poliisi y’e Kyankwanzi SP Odokonyero yagambye nti omuserikale eyakubye amasasi agaakwasizza Mamani yakwatiddwa ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso okuzuula ekyabaddewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tumukunde mu lukungaana.

Be baagoba ku ttaka ly'ebib...

MAJ. Gen. Henry Tumukunde asuubizza okuliyirira abantu bonna abaagobwa ku ttaka lye bibira n'okukyusa ebyenjigiriza...

Amuriat ng'ali e Terego.

Poliisi etaasizza Amuriat o...

PATRICK Oboi Amuriat, akwatidde FDC bendera mu kuvuganya ku Bwapulezidenti, amaze essaawa nnamba ng'asobeddwa oluvannyuma...

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...