TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyakuba omuserikale essasi mu kamwa bamusibye emyaka 20

Eyakuba omuserikale essasi mu kamwa bamusibye emyaka 20

Added 21st October 2018

EYAKUBA omuserikale wa poliisi amasasi mu kamwa bamusalidde ekibonerezo kya kusibwa emyaka 20, oluvannyuma lw’okukkiriza emisango gyonna egibadde gimuvunaanibwa.

 Ojok ng’atuuka mu kkooti.

Ojok ng’atuuka mu kkooti.

Ojok Ismail ow’e Mbuya mu munisipaali y’e Nakawa yakkirizza omusango gw’okubbisa eryaanyi, okutiisatiisa omuserikale n’okubeera n’ebyokulwanyisa mu ngeri emenya amateeka.

Kigambibwa nti nga August 20, 2013, Ojok ng’ali n’omuntu omulala ku ssaawa 10:00 ng’obudde bukya, baasanga Tonny Omara ne Fred Turyomunsi abaali bakuuma ku Dewinton Street ne babategeeza nga bwe waaliwo abantu abaali bakola effujjo okuliraana ofiisi z’ekitongole ky’okulonda era nga balemesezza emmotoka okutambula.

Baatambula nabo ku bodaboda kyokka bwe baatuuka mu kifo kye baali babagambye baasanga emmotoka zitambula bulungi ne bamanya nti ababadde bakola effujjo bagenze.

Ojok ne munne baavuga bodaboda yaabwe ne bagenda n’abaserikale ne babavaako emabega.

Kyokka bwe baatuuka ku nkulungo ya Wampewo abasajja bano ne basiba bodaboda yaabwe era abaserikale ne basibira pikipiki yaabwe mu maaso.

Omara yavaako okugenda okubuuza abasajja bano ekyali kituuseewo wano Ojok we yamusikirako emmundu n’amugamba okuwaniika emikono mu bbanga n’amukuba essasi mu kamwa.

Oluvannyuma lw’okulaba bino Turyomunsi yavuga bodaboda kwe baali n’adduuka nga Ojok bw’agezaako okumuwereekereza amasasi.

Poliisi yakoze okunoonyereza n’ekizuula nga Ojok yali yeenyigidde mu bumenyi bw’amateeka era emmundu eyakozesebwa okukuba Omara yasangibwa mu nnyumba ye ng’ekwekeddwa waggulu mu siiringi ng’amasasi agaali wansi w’omufaliso gwe ge g’emmundu eno.

Bw’abadde mu Kkooti Enkulu etudde e Nakawa, akkiriza emisango esatu egimusomeddwa n’obujulizi obwamuweereddwaako.

Omulamuzi Lydia Mugambe yamusalidde ekibonerezo kya kusibwa emyaka 20, n’agamba nti kino ayagadde kibeere eky’okulabirako eri abantu abalala ababadde bayinza okwenyigira mu kikolwa nga kino.

Yamutegeezezza nga bw’alina eddembe okujulira ssinga takkiriziganya na kibonerezo kyamuweereddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Harold Kaija

Omukunzi wa FDC attiddwa mu...

AKULIRA okukunga abantu mu kibiina kya FDC mu disitulikiti y'e Lyantonde bamusse ne kireka ebibuuzo ku bigendererwa...

Minisita Namugwanya (mu kyenvu) n’omubaka Hussein (ku kkono) n’abamu ku bakulembeze abaalondeddwa.

Gavt. erondesezza akakiiko ...

GAVUMENTI erondesezza akakiiko ak'ekiseera ka bantu bataano mu St. Balikuddembe kagiyambeko okuddukanya akatale...

Amaka ga Kasango (mu katono) e Butabika mu munisipaali y’e Nakawa.

Obukama bwa Tooro buyingidd...

OLUVANNYUMA lwa ffamire okulemererwa okutuuka ku kukkaanya ku by'okuziika munnamateeka Bob Kasango eyafiira mu...

Florence Nabakooza bba Shafique Wangoli yakwatiddwa ng’ali lubuto.

Abaabulwako abaabwe olukala...

ABANTU abaabulwako abaabwe tebamatidde n'olukalala minisita w'ensonga z'omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odong lwe yayajulidde...

Ku kkono; Hope Kitwiine, Mildref Tuhaise, Mercy Kainobwisho, Patience Rubagumya, Connie Kekihembo, Agnes Nandutu ne Irene Irumba.

Abakyala balaze ebirungi by...

ABAKYALA abali mu bifo by'obukulembeze mu by'obusuubuzi balaze okusomoozebwa abakazi kwe bayiseemu olwa corona...