TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bobi Wine bamutaddeko obukwakkulizo ku kivvulu kya 'Kyarenga' n'awanda omuliro

Bobi Wine bamutaddeko obukwakkulizo ku kivvulu kya 'Kyarenga' n'awanda omuliro

Added 21st October 2018

BOBI wine awanda muliro oluvannyuma lw’ekivvulu kya ‘Kyarenga’ ekirala ky’ategeka okussa e Namboole nga November 9, 2018 okussibwako obukwakkulizo.

Omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu, amanyiddwa nga Bobi Wine

Omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu, amanyiddwa nga Bobi Wine

Bobi Wine ng’ono era ye mubaka wa Kyadondo East mu palamenti amanyiddwa Robert Kyagulanyi yagambye; "Abaddukanya ekisaawe ky’e Namboole ne FUFA mulina okwewala okussibwa mu buzannyo nga buno obujama kuba abantu babalaba. Gavumenti ne bw'ebassaako akazito mulina okukola emirimu gyammwe nga mwetengeredde kuba ensi ebalaba. Ebifo bye mulimu bya kuweereza bantu era temusaanye kubyeyambisa kubakijjanya’’ bwe yategeezezza mu bubaka ku mukutu gwe ogwa Twitter.

Kino kiddiridde ekibiina ekiddukanya omupiira mu ggwanga ekya FUFA okuwandiikira abaddukanya ekisaawe e Namboole nga balaga okutya nti ekivvulu kya ‘’Kyarenga’’ ekitegekebwa  nga November 9,2018  kiyinza okukosa omupiira Uganda gw’egenda okuzannya ne Cape Verde ku Lwomukaaga nga November 17, 2018.

Akulira emirimu mu FUFA, Edagar Watson Ssuubi, yawandiikidde abaddukanya Namboole nga October 17,2018  nti okutegekebwa kw’ekivvulu ekyo kiyinza okuzaalira Uganda ebikalu kuba kiyinza okwonoona omutindo gw’ekisaawe ekibiina ekiddukanya omupiira mu Afrika ekya CAF ne kiggyyako Uganda Cranes obubonero n’etasobola kuyitamu kwetaba mu mpaka za AFCON omwaka ogujja.

Watson yagambye nti  CAF yalabula Uganda mu 2017 bwe yazannya ne Ghana ng’ekisaawe kiri mu mbeera mbi olw’omukolo ogwali gusoose okutegekebwayo ng’omupiira tegunnasambibwa. N’alabula abaddukanya Namboole okuba abeegendereza ku nsonga zino.

Bwe byatuuse wano abaddukanya ekisaawe ne bawandiikira Bobi Wine nga bamugamba nti okuggyako nga talina ngeri gy’agenda kukoona ku muddo mu kisaawe lwe bayinza omukkiriza okussaawo ekivvulu.

Akola nga maneja w’ekisaawe, Roland Kyalisiima yagambye nti abategeka ekivvulu balina okutuukiriza obukwakkulizo okuli okukkiriza okukozesa awatuula abalaba omupiira wokka n’awaddukira emisinde babe nga tebagenda kulinnya ku muddo.

Yagambye abategesi kino bwe baba bakikkiriza basasule nga October 29 terunnatuuka era baleetereko ebbaluwa ya poliisi eraga nti bakkiriziddwa okutegeka ekivvulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...