TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababaka bakunyizza poliisi ku beesenza ku ttaka lyayo

Ababaka bakunyizza poliisi ku beesenza ku ttaka lyayo

Added 21st October 2018

ABABAKA banenyezza poliisi olw’okulemwa okukuuma ettaka lyayo erisangibwa mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu ekireetedde abantu okulyesenzaako.

 Akulira bambega ba Polisi, Grace Akullo ne  Bangirana omukungu wa poliisi  nga bali mu kakiiko ka palamenti

Akulira bambega ba Polisi, Grace Akullo ne Bangirana omukungu wa poliisi nga bali mu kakiiko ka palamenti

Ababaka bagamba nti kyewuunyisa okulaba ng’abantu beeyambisa poliisi okugoba abeesenza ku ttaka lyabwe kyokka nga yo tesobola kukuuma lyayo.

Bino byabadde mu kakiiko ka palamenti akalondoola ensasaanya y’ensimbi za gavumenti akakubirizibwa omubaka Angelina Osege.

Akakiiko kali mu kwekenneenya lipooti y’omubalirizi w’ebitabo bya gavumenti  ey’omwaka 2015/16. Ekibinja kya poliisi kyakulembeddwa akulira bambega ba poliisi, Grace Akullo.

Lipooti y’omubairizi w’ebitabo bya gavumnti egamba nti ettaka lya poliisi e Tororo  lye limu ku lyesenzeddwaako abantu.

Omubaka Elliaa Asiku (Koboko) yagambye nti ettaka lya poliisi e Nateete nalyo lyesenzeddwaako abantu.

Akullo yagambye nti emisango egitaggwa egiri mu kkooti ku nsonga z’okwesenza ku ttaka kye kimu ku biremesezza okugoba abantu ku ttaka lya Poliisi. N’agamba nti olumu basanga abantu baazimbako dda n'ebizimbe!.

Ababaka baalaze obwennyamivu olwa poliisi okusasaanya ensimbi ennyingi kw'ezo ezigiweebwa ne bawa eky’okulabirako ky’amasannyalaze mu 2015/16 agaasaasaanyizibwako obuwumbi 17 ng’ate bajeti yali ya buwumbi munaana.

Rogers Muhirwa omumyuka w’omuwandiisi w’enkalakkalira mu Minisitule y’ensonga z’omunda yagambye nti obuzibu bw’ensimbi z’amasannyalaze ezibabanjibwa okuba ennyingi kiva ku gavumenti kubawa ssente ntono ez'okukozesa mu bajeti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...

Ekizimbe kya Ivory Tower e ...

Amyuka Cansala wa Makerere University Polof. Barnabas Nawangwa atuuse ku ofiisi y'ebyensimbi n'evunaanyizibwa ku...

Spoon X Lounge bataddewo amaduuka

Corona anyize ab'ebbaala ne...

Eyo y'embeera ekirwadde kya corona we kituusizza bannannyini bifo ebisanyukirwamu naddala ebbaala. Oluvannyuma...

Omukazi yabuuka n'eyavaako ...

ABAKAZI abasinga tebalina bugumiikiriza! Maama w’abaana bange bwe bansiba mu kkomera e Luzira nagenda okuvaayo...