TOP

Abaatema ab'e Masaka basaliddwa emyaka 40

Added 23rd October 2018

Abaatema ab’e Masaka basaliddwa emyaka 40

 Bukenya ne Jjumba abaasibiddwa emyaka 40.

Bukenya ne Jjumba abaasibiddwa emyaka 40.

ABAATEMA abantu ne babatta e Masaka babasindise e Luzira beebakeyo emyaka 40 ne bakaabira mu kkooti. Derrick Jumba 40, ne Matia Kizza Bukenya 42, ssentebe wa kkooti y’amagye e Makindye abakalize emyaka 40, buli musango gwe bakkirizza.

Ssentebe wa kkooti y’amaggye, Lt Gen Andrew Gutti bwe yabadde asindika Jumba ne Bukenya mu kkomera yabategeezezza nti wadde baasaba kkooti ebakwatirwe ekisa olwokuba balina famire, naye n’abo be batta baalina famire zaabwe ezaali zibaagala ennyo.

Gutti yayongeddeko nti wadde teboonoonye budde bwa kkooti, ekikolwa kye baakola kyali kibi nga ne Moses Kaliisa baamufiiriza ssente nnyingi ate nga baaleka okutya kungi mu bantu mu kitundu obutemu gye bawakolebwa.

Abasajja bano baasibiddwa olw’okutta omukuumi, Moses Musinguzi n’omukozi Shafik Kiggundu abaali bakola ku dduka lya Muto Hardware mu kibuga Masaka.

Oluvannyuma baakozesa emmundu ne banyaga ssente ezisukka mu bukadde 400 ezaasangibwa mu dduuka. Baasooka ne beegaana emisango, kyokka oluvannyuma ne bakkiriza nti ddala byonna ebyogerwa bituufu.

Bano beebamu ku kibinja ky’ababbi n’abatemu abakazibwaako bakijmbiya abatemaatema abantu mu bitundu by’e Masaka, Ssembabule, Kyotera, Rakai n’ebitundu ebiriraanyewo.

Abasajja bano bavunaanibwa n’abalala okuli omujaasi eyawummula, Corporal Paul Kiwanuka, Johnbosco Waligo, Stephen Kayemba, Julius Tweheyo nga yeeyita Rutwigi, Gerevazio Kankaka eyeeyita Kojja ne Mudathiru Tumwesigye nga bo emisango baagyegaana era baasindikibwa mu kkomera ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Bano bavunaanibwa emisango ena okuli egy’okutta abantu ebiri, okubbisa emmundu ebiri nga byonna byaliwo nga July 1,2018 e Masaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugagga Ham eyakulembeddemu bannanyini bizimbe mu lukiiko ne Amelia Kyambadde

Bannanyini bizimbe balemedd...

AKAKIIKO kebassaawo okubaga ebinaagobererwa kisobozese okuggulawo akeedi z’omu Kampala kamalirizza lipooti eno...

Jackson Musisi kitunzi w'essaza lya Gomba ku kkono ng'akwasa Mansoor Kamoga obuvunaanyizibwa bw'essaza

Aba ttiimu y'essaza lya Gom...

OLUVANNYUMA lw’ Essaza lya Gomba okusaasaanya ssente empitirivu mu kugula abazannyi, abakungu baalyo bafunyemu...

Omutendesi Bamweyana ng'assa ku ndagaano omukono

Omutendesi Bamweyana olwega...

OMUTENDESI omuggya owa Wakiso Giants FC mu Star times Uganda Premier League, Douglas Bamweyana asuubizza omupiira...

Bryan White kati asizza ku ku byuma

Bryan White mulwadde muyi: ...

Bryan White mu kiseera kino asizza ku byuma amaze wiiki biri mu ddwaaliro ly'e Nakasero kyokka embeera ye ekyagaanye...

Kato Lubwama nga tebannamulongoosa

Omubaka Kato Lubwama bamulo...

OMUBAKA Kato Lubwama ( Lubaga South) amaze essaawa ssatu mu sweeta ng'abasawo bamulongoosa n'okumwekebegya omulundi...