TOP

Bamenye ofiisi z'ekkanisa e Kawempe

Added 23rd October 2018

Bamenye ofiisi z’ekkanisa e Kawempe

 Latif ne Rashida baabadde mu musomo gwa Ssenga ku Freedom City gye buvuddeko.

Latif ne Rashida baabadde mu musomo gwa Ssenga ku Freedom City gye buvuddeko.

POLIISI y’e Kawempe etandise omuyiggo gw’abazigu abaamenye ofiisi y’ekkanisa ne babbamu ssente ezikunukkiriza mu bukadde 30 n’ebintu ebikalu. Bible Gospel Church eya pasita Edward Mwesigwa Baligonzaki ye yamenyeddwa mu kiro ekyakeesezza ku Mmande.

Kigambibwa nti olukwe lwalukiddwa Bruno Ngolobe, omukuumi mu kitongole kya Blue Water Security guards nga y’abadde akuuma ekifo kino. Ono olwamaze okutuukiriza misoni ye, yasuddewo emmundu ye ekika kya Mass nnamba FH60 733 n’adduka.

Emmundu yasangiddwa mu kkanisa munda nga yabaddemu amasasi asatu agaliko nnamba: 12A2, FN68 ne FN68. Amawulire g’okumenya ekkanisa, gaasasaanyiziddwa abagoberezi abayambako pasita abaabadde bakedde okuddukanya emirimu gy’ekkanisa. Bagguddewo fayiro y’omusango ku nnamba SD:REF: 20/22/10/2018. Poliisi yaleese embwa ekonga olusu n’erawuna ekifo kyokka tewali kyazuuliddwa.

Ofiisi ezaamenyeddwa kuliko ey’ebyensimbi, eya pulojekiti z’ekkanisa ng’eno babbyeemu sseefu. Mu birala ebyatwaliddwa kw’abaddeko ne laaputopu, kaadi z’emmotoka n’ebimu ku byapa by’ettaka ly’ekkanisa. Yagambye nti ssente ezabbiddwa ze zimu ku nsimbi abagoberezi b’ekkanisa ze baasonze ku Ssande okwongera ku pulojekiti y’okuzimba ekkanisa yaabwe n’okuyamba abaana abatalina mwasirizi ekkanisa b’erabirira.

Omu ku batuuze mu kitundu kino, yategeezezza nti abazigu baamenye ku ssaawa 9:00 mu kiro ekyakeesezza ku Mmande nga baawulidde enswagiro kyokka tebasobodde kufuluma.

OMUKUUMI ABADDE YAAKALEETEBWA Richard Ochola avunaanyizibwa ku kugaba abakozi mu kitongole kya Blue Water Security Guard, Ngolobe mw’abadde akolera, yagambye nti kituufu Ngolobe yali mukozi waabwe emyezi musanvu egiyise kyokka yali yeewummuza ku mulimu.

Yazzeemu okukola nabo wiiki ewedde, era olw’okuba yali yagenda tebamulinaako buzibu bazzeemu ne bamuwa omulimu, era bamugambye okukuuma ku kkanisa w’abadde amaze ennaku ssatu.

Yagambye nti byonna ebikwata ku Ngolobe gwe basuubiriza okuba mu bitundu by’e Lira babirina okuli ebiwandiiko bye yasabirako omulimu, ndaga muntu nga bagenda kukwatagana n’ab’ekkanisa ne poliisi okulaba ng’akwatibwa. Ofiisi ezaamenyeddwa zisangibwa mu Nabukalu zooni wakati w’eddwaaliro ne poliisi y’e Kawempe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...