TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Klezia ekukkulumidde KCCA okubalemesa okukulaakulanya ettaka ly'e Ntinda

Klezia ekukkulumidde KCCA okubalemesa okukulaakulanya ettaka ly'e Ntinda

Added 24th October 2018

Klezia ekukkulumidde KCCA okubalemesa okukulaakulanya ettaka ly'e Ntinda

KLEZIA ekukkulumidde ekitongole kya KCCA olw’okubalemesa okukulaakulanya ettaka eryabaweebwa akakiiko akavunaanyizibwa ku ttaka aka Uganda Land Commission. Ettaka lino lisangibwa Ntinda ku polot 20/26 okuli essomero lya Ntinda Primary School KCCA nga litudde ku yiika emu n’ekitundu okuliraana ekigo kya St. Charles Lwanga.

Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa olukiiko olufuzi olw’Essaza ekkulu erya Kampala eggulo, Vicar. Genero. Msgr. Charles Kasibante yategeezezza bannamawulire ku kigo kya St. Charles Lwanga Ntinda nti ettaka lino akakiiko ka Uganda land commission kaalikwasa klezia okuliddukanya mu kiseera ekigere eky'emyaka etaano.

Kasibante agamba nti baali batuuse ku nzikiriziganya n'abakakiiko ka Uganda land Commission kyokka ekitongole kya KCCA ne kiyingira mu nteekateeka yaabwe ey’okukulaakulanya essomero lino mu bbaluwa KCCA gye yabawandiikira nga April 6, omwaka guno ng'esazaamu pulaani yaffe.

Yayongeddeko nti oluvannyuma lw'ekitongole kya KCCA okubasimbira ekkuuli ku nteekateeka z’okukulaakulanya ettaka lino ab'ekitongole baagaana n’okuyisa pulaani y'ekizimbe Klezia kye yali eteekateeka okuzimba. Yawakanyizza n'eky’omu ku bakungu ba KCCA, David Esuku eyategeeza abaamawulire gye buvuddeko nga Klezia bwe yafuna ettaka lino mu bukyamu.

N'ategeeza nga ebigendererwa byaffe bwe bitali bya kutumbula bya njigiriza wabula nga twagala kuzimba akeedi. Kasibante yagambye nti Klezia terina kigendererwa kya kusattulula byanjigiriza wabula okutumbula omutindo.

‘’Klezia esuubira okuyamba abaana abali mu UPE abava mu maka amaavu ng’eyita mu kubateerawo essomero ery’omulembe bafune ebyenjigiriza ebifaanagana awatali kwawula mu baana’’ Kasibante bwe yategeezezza Yeemulugunyizza ne ku bamu ku bakungu b'akakiiko akalondoola emivuyo gye ttaka ak’omulamuzi Catherine Bamugemereire b'agamba nti bwe bajja okunoonyereza baawulirizaako ludda lumu awatali kuwa mukisa ludda lw'emulugunyizibwako.

Twasaba akakiiko ka Uganda Land Commission katuwere ddala obwannannyini obwenkomeredde ku ttaka lino baleme kuwuliriza bannakigwanyizi abeenoonyeza ebyabwe abeekiise mu nsonga zino. Francis Buwule Kabonge okuva mu Buwule & Mayiga Co. Advocates omu ku balooya b’Essaza lya Kampala yategeezezza nti beetegefu okugenda mu maaso n'ensonga zino mu mateeka basobole okufuna obwenkanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.

Ekibalo ky'okulima ennyaany...

ENNYAANYA kireme ekyettanirwa abangi olw’okuba kikula mangu ate nga kirina akatale okutandikira ku bantu b’okukyalo...

Basajjabalaba

Ebyapa Basajjabalaba by'ali...

EBYAPA omugagga Haji Hassan Basajjabalaba bye yafuna ku ttaka lya Panda PL e Luzira, bisattiza abatuuze nga bagamba...

Abatuuze nga bagezaako okuzikiriza omuliro

Omuliro gwokezza amayumba 1...

ABATUUZE b’e Kawaala bali mu maziga olw’omuliro ogugambibwa okuva ku masannyalaze okusaanyaawo amayumba agawera...

Abakozi ba Imperial Royale ...

ABAKOZI ba wooteeri ya Imperial Royale bavunaaniddwa okujingirira ebiwandiiko n’okufiiriza gavumenti ya Uganda...