TOP

Muka Kirumira adduse awaka!

Added 27th October 2018

Muka Kirumira adduse awaka!

 Mukyala wa Kirumira ng'asitudde omwana gwebabbula mu Felix Kaweesi

Mukyala wa Kirumira ng'asitudde omwana gwebabbula mu Felix Kaweesi

NNAMWANDU wa Kirumira adduse mu maka bba mwe yamuleka aba famire ne basoberwa. Yasoose kuyita nnyazaala ne ssezaala we n’abategeeza nti ebbanga ly’amazeewo limala afunye waagenda awalala.

Mariam Kirumira eyakazibwako erya 'Maama Sofia' ye mukazi yekka omutongole Mohammed Kirumira gwe yaleka, wadde nga bba yalinayo abakyala abalala be yazaalamu abaana. Bazadde ba Kirumira okuli maama Nantongo Kawooya ne taata Abubaker Kawooya kyabakubye wala nga Mariam abategeeza nti, takyasobola kusigala ng’abeera mu maka.

Baamubuuzizza gy’agenda wabula n’abategeeza nti, tebafaayo ajja kuba bulungi. Baamulemeddeko nnyo ababuulire ekituuseewo nti wabula ng’ensonga aziyita ku ngulu. Oluvannyuma yabategeezezza nti waliwo omukulu mu Gavumenti eyamupangisirizza ennyumba nti era ennyumba eyo baagisasudde omwaka mulamba, era awo ne bongera okusoberwa.

Baamubuuzizza ekimuggya mu nnyumba gye baazimba ne bba, alyoke asalewo okugenda mu nnyumba empangise, n’abategeeza nti okusalawo okwo takukoze mu bubi wabula akyali wamu ne famire era bamusabire gy’agenda abeere bulungi. Baasoose kulowooza nti abaana anaabaleka, wabula kyababuuseeko ng’abaana bonna abasitudde n’agenda nabo.

Kino nakyo kyabasobedde kubanga teyababuulidde ngeri gye bagenda kuddamu kulaba ku baana bano. Mariam bwe yamaze okubiyitiramu bazadde ba Kirumira, olwo kwe kutandika okusiba ebintu era ku ssaawa 2:00 ez’ekiro ky’Olwokubiri n’asimbula. Yakozesezza emmotoka kika kya FUSO kwe yatisse ebintu bye, wamu n’eby’omu nnyumba ng’entebe, ekitanda ekikye ne ky’abaana, ttivvi, engoye n’ebintu ebirala era n’agenda.

Obwedda Mariam atikka ebintu nga Kawooya ne Nantongo bali mu luggya lwa mutabani waabwe beewuunaganya olw’okusoberwa. Mariam bwe yamalirizza okubitikka ebintu bye ku mmotoka, nnyumba yagitaddeko ekkufulu oluvannyuma n’alinnyisa abaana be abana ku mmotoka, n’asiibula abazadde n’abulawo.

Bazadde ba Kirumira baagezezzaako okumujjukiza nti abaana b’atwala basomera ku masomero ga mu kitundu ky’e Bulenga okuliraana awali amaka g’omugenzi Kirumira, ne bamusaba waakiri abaana abasoma agira abaleka alibakima ng’olusoma luwedde, wabula ekyo n’akigaana.

OMUKYALA ABADDE YEKOLERA BIBYE Omu ku booluganda lwa Kirumira ataayagadde kumwatuukiriza yagambye nti: Ensonga za mulamu waffe zaatutabula kubanga bba kasooka afa abadde akola bintu bye yekka nga tatambulira wamu naffe.

Ne bwe kyatuuse ku kutegeka Dduwa ya Kirumira ku Ssande ewedde, nti enteekateeka Mariam yazibadde bbali. Mulamu wa Mariam ono yagasseeko nti: Muganda waffe bwe yafa, Mariam yaweebwa obukuumi obw'enjawulo bw'abadde atambuliramu ne tulowooza nti, bwa bulijjo obuleeteddwaawo olw’embeera eriwo ey’okutta Kirumira. Mariam abadde alina emmotoka yaabuyonjo gy’abadde atambuliramu n’abajaasi basatu abamukuma buli gy’alaga. Bwe yavuddewo, nti n’abakuumi ne bavaawo.

EBYAVUDDEKO NNAMWANDU WA KIRUMIRA OKUVA AWAKA Omu ku booluganda lwa Kirumira yagambye nti ensiitaano yabadde ku baana, wabula oluvannyuma baasazeewo Nnamwandu bamuleke akole ky’awuliriramu emirembe ng’abamu ku ba famire baleese ensonga nti, Mariam yandiba nga yeetaaga obudde okuyita mu nnaku y’okufiirwa bba eyakubwa amasasi nga September 8, 2018 bwe yali mu mmotoka n’omuwala Resty Mbabazi Nalinnya.

Awo we baakizuulidde nga n’abaana yali yabakyusa essomero nga yabazza ku Kampala Junior ekyabalowoozesezza nti pulaani evaawo amaze akaseera ng’agitegeka. Nti babadde bakimibwa emmotoka ennene etaliiko nnamba nga y’ebatwala ku ssomero era n’ebazza akawungeezi.

Kigambibwa nti abamu yabategeeza nti ekifo ekyo kimuwa ensisi n’ebirowoozo bingi nga buli ky’atunulako ajjukira obulamu bwe ne bba era amaziga ne gamuyitamu nga yeetaaga ekifo ekipya w’anaagumira. Abalala bagamba nti abadde alina okutya nti abatta bba engeri gye batannamanyika, basobola okumutuusaako obuzibu kubanga amaka ago bagamanyi bulungi era kino Kawooya naye ky’agamba nti kye kyavuddeko okusenguka okwo.

Kyokka waliwo n’abagamba nti engeri Kawooya gy’abadde atambuzaamu ensonga z’okuyamba bamulekwa nayo yandiba nga yavuddeko obuzibu kubanga ssente ezisoloozebwa n’enkozesa yaazo, zeetooloolera ku Kawooya. Nti n’engeri gy’abadde akoowoola abakazi Kirumira be yazaalamu abaana mu lujjudde nayo ebadde enyiiza abamu ku bali ku ludda lwa Mariam nga bagitunuulira ng’ewewula ekitiibwa kya Kirumira n’obufumbobwabwe ne Mariam.

Bbo baali baagala ensonga ekwatirwe munda mu ngeri eya “twekisize”. Nantongo yagambye nti nga jjajja w’abaana yandyagadde okumanya abazzukulu gye bali, w’ayinza okugenda n’abalabako. Abamu ku baliranwa abataayagadde kwatuukirizibwa baategeezezza nti Mariam yasoose kubasiibula nga tannaba kusenguka era n’abasuubiza nti waakuddanga abalabeko. Kyokka teyababuulidde gye yalaze

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....