TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Agambibwa okutta ow'e Najjeera bamukwatidde Kamwokya

Agambibwa okutta ow'e Najjeera bamukwatidde Kamwokya

Added 27th October 2018

Agambibwa okutta ow’e Najjeera bamukwatidde Kamwokya

 Kisuule n’abaserikale ba poliisi.

Kisuule n’abaserikale ba poliisi.

OMU ku basajja abasatu abagambibwa okuyingirira amaka ga maneja wa Bomanite Tiles, Archie Rwego ne bamutemaatema mu maaso ga mukazi we e Najjeera n’afa mu kiro ekyakeesezza Olwokusatu, poliisi emukutte.

Johnson Kisuule ow’e Kisaasi, poliisi yamusanze mu kalwaliro e Kamwokya gye yabadde addukidde okuweebwa obujjanjabi. Kigambibwa nti embwa ya Rwego eyookusatu bwe baabadde tebannagitta yamutaagudde omugongo, engalo era misoni yaabwe baagimalirizza atonnya musaayi. Ku Lwokusatu akawungeezi, yagenze mu kalwaliro akamu e Kamwokya okufuna obujjanjabi omu ku basawo abaabadde bawulidde ku byagudde e Najjeera ne yeekengera.

Yakubidde omuduumizi wa poliisi ya Kira Road, Michael Kasigyire eyakubidde banne aba Kira Division ne bamukwatta. Johnson Kisuule yasangiddwa aliko enkwagulo mu mugongo n’engalo zonna nga zijjudde ebiwundu ebimu nga bisibiddwa ppamba okuziyiza omusaayi.

Yatwaliddwa ku poliisi ya Kira Division ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Lucas Owoyesigyire yagambye nti, agenda kubayamba mu kunoonyereza kwabwe. Rwego abadde yawasa Dorah Asio owooluganda lwa dayirekita w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango Grace Akullo era ye yakulembeddemu enteekateeka z’okuziika n’okunoonyereza kwonna.

POLIISI Y’E MUKONO EKUTTE 21 Poliisi ye Mukono ekutte abasajja 21 abavunaanibwa emisango egy’enjawulo egyekuusa ku ttemu ly’ebijambiya eritutte akabanga ka mwezi nga gumu nga liyindira mu tawuni kanso ya Ntenjeru -Kisoga mu disitulikiti y’e Mukono. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza nti abakwate kuliko; Kasimu Lubega (36), Fred Ngobi (23), Denis Tericha (20), Shafiq Kaliisa (19), Jamil Eremye (19), Tony Mugosi Mukama (18), Sharif Tenywa (19), Ronald Ongorot (19) ne Levy Okumu (20).

Abalala kuliko; Cyrus Amea (20), Abdul Waiswa (19), Denis Kaliisa (19), Rasaline Kasuti (17), Rogers Kazibwe (20), Samuel Byekwaso, Emmanuel Kaliisa (18), Micheal Isiko (22), Jackson Baganza (17) ne David Wangwa (17). Bonna babeera Bugolombe mu Ntenjeru nga batema bikajjo mu masamba.

Abalala ye Joel Kyebayiizima ow’e Nakafuufu mu ggombolola y’e Nakisunga ne Patrick Katamba (50) omuvuzi w’emmotoka e Ntinda Kalinaabiri mu Munisipaali y’e Nakawa mu Kampala. Rogers Sseguya, aduumira poliisi e Mukono yagambye nti abamu ku basajja bano baakwatibwa n’amajambiya gaabwe mu kiro poliisi bwe yabazingiza nga baliko olukwe lwe baluka okugenda okutigomya abatuuze.

Mu lukiiko lw’ebyokwerinda olwatudde ku kitebe kya Town Council ya Ntenjeru - Kisoga ku Lwokubiri, Sseguya yagambye nti, baabadde bamaze okusonga ku basajja basatu be balumiriza okubalumba.

Sseguya yagambye nti abakwate bakuumirwa ku poliisi y’e Mukono ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso. Olukiiko lw’ebyokwerinda olwetabiddwamu abakulu mu bitongole ebikuumaddembe n’abakulembeze okuli; aduumira poliisi mu Kampala n’emiriraano Michael Musani, RDC w’e Mukono Fred Bamwine, ssentebe wa Town Council ya Ntenjeru - Kisoga Robinson Kiyaga n’abalala. Kiyaga yagambye nti abakwatiddwa bajja kubayamba okuzuula bannaabwe abalala be bakolagana nabo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaleppuka n'ogwokulya mu n...

KKOOTI yamagye e Makindye yejjeerezza abajaasi bataano ababadde bavunaanibwa okukola olukwe okuvuunika gavument...

Nuwashaba (ku kkono) lwe baamultwala ku kkooti okukola siteetimenti. Ku ddyo ye mwana Kyamagero eyattiddwa

Nuwashaba alaze bwe yafuna ...

OMUSAJJA gwe baakutte n’omutwe ku Palamenti ayogedde engeri gye yaweebwa ddiiru y’okusala omutwe gw’omwana n’alumiriza...

Nagirinya eyattibwa

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Katikkiro, Charles Peter Mayiga ng’aliko by’ayogera ne Emmanuel Katongole mu kusabira Kitaka e Lubaga.

Kabaka atenderezza emirimu ...

SSAABASAJJA Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi atenderezza emirimu egikoleddwa Francis Xavier Kitaka eyafa...