TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Oluvannyuma lwa Kabaka okumegga Mabiriizi Mmengo erangiridde ekiddako

Oluvannyuma lwa Kabaka okumegga Mabiriizi Mmengo erangiridde ekiddako

Added 27th October 2018

Oluvannyuma lwa Kabaka okumegga Mabiriizi Mmengo erangiridde ekiddako

 Ssaabawolereza wa Buganda, Daudi Mpanga (wakati) ng'ali n'abakulira Buganda Land Board.

Ssaabawolereza wa Buganda, Daudi Mpanga (wakati) ng'ali n'abakulira Buganda Land Board.

KABAKA amezze Hassan Male Mabiriizi omulundi ogwokubiri mu musango gwe yamuwawaabira ng’awakanya okuwandiisa abantu ku ttaka lya Buganda mu nkola eyatuumibwa 'Kyapa mu ngalo'. Omulamuzi wa Kkooti Enkulu Henry Peter Adonyo atuula ku ttendekero ly’ekitongole ekiramuzi e Nakawa ye yagobye omusango guno ku Lwokusatu era n'alagira Mabiriizi okusasula Kabaka ssente zonna z'akozesezza mu musango guno. Mu nsala ye, Adonyo yagambye nti tasobola kugenda mu maaso na kuwulira musango guno ng’ate kkooti Ejulirwamu eri waggulu we, yamala dda okugusazaamu ng’egamba nti teguliimu ggumba.

Yategeezezza nti wadde Mabiriizi ayagala okweyongerayo okuwulira omusango guno, kkooti emusingako yakisalawo dda nti omusango guno gwawaabwa mu bukyamu nga teguyinza kweyongerayo kuwulirwa era naye talina buyinza bweyongerayo nagwo. Omulamuzi Adonyo yategeezezza nti, Mabiriizi yalemwa okukyusa mu mpaaba ye bwe yamulagira okuwaaba omusango guno ku lulwe so ssi ku lw’abantu abalala batalaga na mu mpaaba ye n'amutegeeza nti omusango guno teguyinza kuyimirirawo nga Mabiriizi bw'ayagala.

Era Adonyo asinzidde ku nsala ya kkooti Ejulirwamu ey'abalamuzi abasatu okwali Egonda - Ntende, Ezekiel Muhanguzi ne Hellen Obura abaagoba omusango guno nga October 1, 2018 nga bano baategeeza nti, Mabiriizi omusango gwe tegusobola kuyimirirawo ku lw’abantu bonna kubanga mu mpaaba ye, yalemwa okulaga omuntu yenna gwe yali akiikirira ng’awakanya okuwandiisa abantu abali ku ttaka ly'Obwakabaka era nti Kabaka si ye nnannyini ttaka lino.

Abalamuzi bano abasatu era baasazaamu ekiragiro ky'Omulamuzi Patricia Basaza eyali alagidde Kabaka okuwaayo ebiwandiiko bye byonna ebiraga akawunti okuli abantu abawandiisiddwa ku ttaka, eri Mabiriizi bimuyambeko okuwoza omusango guno. Wabula Adonyo ategeezezza nti Mabiriizi alina eddembe okuddamu okuwaaba omusango gwe guno buto.

MABIRIIZI BY'AGAMBA Mabiriizi agambye nti talina ky'afiiriddwa kubanga yatwala okwemulugunya kwe mu kkooti Ensukulumu ng'awakanya ebyasalibwawo kkooti Ejulirwamu era alina obwesigwa mu kkooti eno nti egenda kukyusa kkooti Ejulirwamu bye yasalawo. Mu ngeri y'emu Mabiriizi agamba nti yeewuunyizza kkooti eno okugoba omusango gwe nga tebawulirizza ludda lwe ng'omuwaabi.

MMENGO EYOGEDDE Ssaabawolereza wa Buganda, Daudi Mpanga asabye abantu ba Buganda okwewala okutwala obutakkaanya bwe babeera bafunye n’Obwakabaka mu kkooti wabula bayite mu nkola z’obuwangwa ennuhhamu okwemulugunya kwabwe kukolebweko. Bino yabyogeredde Bulange - Mmengo oluvannyuma lw’obuwanguzi buno obwatuukiddwaako. “Tulina enkola zaffe eziwerako mwe tuyinza okuyita okugonjoola obutakkaanya bwonna obubeera bubaluseewo okuli ebitawuluzi, amagombolola, abaami b’amasaza ne ofiisi nnyingi eziri e Mmengo.

Tulina abakulu mu bika n’abavunaanyizibwa abalala ng’omuntu yenna asobola okubatuukirira okuyambibwa ku nsonga z'abeera afunye okusinga okugenda mu kkooti ezitwala ebiseera n’ensimbi,” Mpanga bwe yategeezezza. Mpanga yeebazizza abantu ba Buganda olw’okulaga obukkakkamu ekiseera eky’emyaka ebiri bukya musango guno gutwalibwa mu kkooti ng’abaagutwalayo baali bagenderera kuteekawo njawukana n’obukyayi mu bantu ba Kabaka.

Yeebazizza kkooti okusala amazima n'eggya omusango guno mu ddiiro kubanga gututte ebiseera bingi ebyandikoleddwaamu emirimu gya Kabaka n'ategeeza nti nga bwe guwedde enkola ya 'Kyapa mu ngalo' egenda kugenda mu maaso. “Mu kiseera kino tetunnamanya ssente mmeka ezisaasaanyiziddwa ze tugenda okusaba Mabiriizi era tetusobola kwogera ku kya kusonyiwa Mabiriizi ye kennyini nga takisabye.

Noolwekyo bannamateeka baakugenda mu maaso n’enteekateeka y'okubalirira ssente ezigenze oluvannyuma lwa kkooti okuwa ensala yaayo,” Mpanga bwe yayogedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...