
Yagambye nti abantu abamu batambula n’abantu be batamaanyi bikolwa byabwe ekibaviriddeko okufuna ebizibu n’asaba buli muntu okutambuza obulamu nga yesigamye mu katonda .
“Obulamu bwe nsi mulina kubutambuliza mu katonda okusobola okuwangula abantu bangi batambula n’abantu be batamanyi mu bintu ebyenjawulo ne bafundikira nga babakozesezza ensobi , mwe abayizi mugenda kukola ebigezo mulina okwesigama ku katonda ekirala ky’osiga ky’okungula eno y’essaawa okulaga abazadde bamwe n’abassomesa nti mubadde mussoma ” Omulabiri bwe yategeezezza
Godfrey Banana nannyini ssomero yalabudde abazadde okukomya okuyingiza abayizi mu ntalo z’abakulu , yagasseeko nti abazadde abamu bwe bafuna obutakkaanya bayombera mu maaso ng’abaana baabwe kye yagambye nti ebiseera ebisinga kitaataaganya nnyo obwongo bw’abaana ne baviirako okwonooneka olw’ebigambo ebikozesebwa abazadde mu busungu nga bayomba.
Yagenze mu maaso n’asaba abazadde okukomya okusuulira amasomero abaana ne batafaayo kulondoola bye bakola , yagambye abamu olumala okusasula ebisale by’amassomero tebaddamu kulinya ku massomero ng’ebiseera ebimu kiviraako abayizi okwekubagiza ng’abatalina bazadde .