TOP

Museveni akaaye ku batiisatiisa Abachina

Added 29th October 2018

WABALUSEEWO akasattiro mu bayinvesita abava e China, abakolera muno oluvannyuma lw’okubatiisatiisa okubatta.

 Onyango ng'alaga omusajja gwe banoonya kyokka ekifaananyi kye tekirabika bulungi.

Onyango ng'alaga omusajja gwe banoonya kyokka ekifaananyi kye tekirabika bulungi.

Bya STUART YIGA ne MUWANGA KAKOOZA
 
WABALUSEEWO akasattiro mu bayinvesita abava e China, abakolera muno oluvannyuma lw'okubatiisatiisa okubatta.
 
Waliwo ekibinja ekigambibwa okuba eky'abamenyi b'amateeka ekyeyise ‘People Agency' ekyatandise okubaweereza obubaka ku masimu n'okubakanda omudidi gw'ensimbi bwe bataziwaayo kwe kubalaalika okubatta essaawa yonna.
 
Ssente ze babasaba ziri wakati wa doola z'Amerika emitwalo esatu n'ena n'ekitundu (muza Uganda obukadde 90 n'omusobyo).
 
Kino kiwalirizza Pulezidenti okusitukiramu n'alabula buli ali emabega w'ekikolwa ky'okutiisatiisa Abachina bano okukikomya mbagirawo kuba batandise okulondoolwa.
 
"Ebiwuka bino oba embizzi ezo ezigenda zisindika obubaka nga zikangakanga bayinvesita okubasaba ssente n'okubakangakanga badduke wano tujja tuziwangula. Bagamba babikola lwa byabufuzi. Bannabyafuzi ki abatayagala Uganda kukulaakulana?", Museveni bwe yabuuzizza.
 
Bino yabitadde mu kiwandiiko kye yafulumizza ku Lwomukaaga ng'alambika ebikoleddwa Gavumenti n'okulabula abatandise okukangakanga abantu naddala bayinvesita nga babasindikira obubaka ku ssimu n'obubaka obukwate ku butambi nga babasaba ssente n'okubagamba badduke.
 
Ng'oggyeko bayinvesita abasindikirwa obubaka obukangakanga waliwo ne mu bitundu by'eggwanga ebimu ‘abazigu' abasuula ebibaluwa nga bisaba abantu ssente n'okubalaalika okubatta.
 
Museveni yagambye nti, abasindika obubaka nga beeyambisa essimu kyangu okubalondoola wadde kyetaagamu obukkakkamu. N'agamba nti, obumu ku bubaka obukanga bayinvesita bwasindikiddwa ng'abakikola bakozesa ennamba za ssimu ez'e Sweden ne Australia n'agamba nti,bagenda kweyambisa poliisi y'Ensi Yonna (Interpol) okulondoola abaakikoze.
 
Yayongeddeko nti, bagenda kuyiwa abakuumaddembe mu bifo by'amakolero n'akubiriza abatiisibwa obutatya kuloopa ku poliisi.
 
Museveni yagambye nti, enkulaakulana ezzeewo mu Uganda esaaliza abatayagaliza ggwanga lino kwe kutandika okukangakanga bayinvesita nti naye ekyo tebagenda kukikkiriza kubaawo.
 
Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga Patrick Onyango eggulo yayise bannamawulire ku kitebe kya poliisi e Naggulu, n'ategeeza nti, waliwo ekifaananyi ky'omusajja kye baafunye ng'ateeberezebwa okuba omu ku bali mu kibinja kya ‘People Agency'.
 
"Tutaddewo obukadde 20, eri omuntu yenna anaatutuusa ku bantu bano oba okutubuulira ekikwata ku musajja oyo alabikira mu kifaananyi.
 
Tutaddewo nnamba z'amasimu alina amawulire gonna kw'ayinza okutufunira nga ku zino kuliko; 0712 827702/0702436325/0702415982 oba 0715411689," Onyango bwe yategeezezza.
 
Onyango era yategeezezza nti, ekibinja kya ‘People Agency' kyafulumizza olukalala okuli kkampuni z'Abachina kkumi saako eya bbaasi emu, ze beewerera okulaga essomo ssinga tebabawa ssente ze baagala.
 
Onyango agamba nti kkampuni ezisinze okukosebwa ziri ku Mukono, okumpi n'oluguudo oluva e Jinja okudda e Kampala.
 
Yayongeddeko nti, bagenda kutuula wiiki eno okunyweza ebyokwerinda kwa bayinvesita n'abantu abalala abazze batiisibwatiisibwa.
 
Yasabye n'abantu okutegezanga ku poliisi mu budde nga bafunye abantu abeekikula kino ababatiisatiisa ne babaggyako ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....