TOP

Ennyonyi esse 189

Added 30th October 2018

OMUGOLE gwe babadde bagenda okukuba embaga, y’omu ku baafiiridde ku nnyonyi eyagudde mu nnyanja mu Indonesia eyabadde etisse abantu 189.

 Abadduukirizze nga basitudde egimu ku mirambo egyannyuluddwa mu nnyanja.

Abadduukirizze nga basitudde egimu ku mirambo egyannyuluddwa mu nnyanja.

Bya MUSASI WAFFE

OMUGOLE gwe babadde bagenda okukuba embaga, y’omu ku baafiiridde ku nnyonyi eyagudde mu nnyanja mu Indonesia eyabadde etisse abantu 189.

 

Owooluganda lw’omugole yategeezezza nti yabaddeko ne balamube wamu n’abooluganda

abalala nga bagenda kusisinkana baganda b’omulenzi gy’azaalibwa.

 

Enjega yaguddewo ku Mmande nga bukya. 

 

Okutuusa kati gikyali miranga na biwoobe mu Indonesia, ng’abakugu bakyagenda mu maaso okunnyulula ebitundutundu by’emirambo okuva mu nnyonyi eyagudde mu annyanja ng’eriko abantu 189.

 

Omu ku booluganda ng’akaabira abantu be.

 

Waayiseewo eddakiika 13 ng’ennyonyi Lion Air flight JT610 esitudde ku kisaawe mu kibuga

kya Indonesia ekikulu Jakarta, omugoba n’akimanya nti ennyonyi efunye obuzibu.

Yayogerezeganyizza n’abasigadde ku kisaawe ne bamulagira agikyuse addeyo nga tekikyasoboka.

 

Baagenze okuddamu okwogera naye ng’ebyuma tebikyasobola kulaba nnyonyi ekyaddiridde kufuna mawulire nti yeerindiggudde mu nnyanja abantu ne bafa.

 

Kwabaddeko abantu abakulu 178, omwana omuto omu, abawere babiri, abavuga ennyonyi babiri n’abakola ku nnyonyi 5. Abantu abo abakulu kwabaddeko abakungu

mu minisitule y’ebyensimbi mu Indonesia 20 n’abakozi ba Gavumenti 23.

 

Ennyonyi eno yabadde eyolekera kizinga Pangkal Pinang wabula we yafunidde obuzibu nga ziri mu ssaawa 12:33 nga bukya ku Mmande.

 

Okusinziira ku mukungu w’ekitongole ekikola ku mbuuka z’ennyonyi mu Indonesia Sindu Rahayu, ennyonyi yagenze okufuna obuzibu ng’omugoba yaakamala okwogerezeganya n’abali ku kisaawe n’asaba okudda ne bakkiriza kyokka empuliziganya we yatabukidde ne

bataddamu kumuwuliza. Abadduukirize okuli ne baalubbira beesoggeddewo amazzi balabe

oba basangayo omuntu omulamu kyokka ekinene kye baatandikiddeko okununula byabadde

bipapajjo bya nnyonyi eyaweddewo, n’ebitundu by’emibiri gy’abantu.

 

Abenganda z’abantu abaabadde ku nnyonyi abamu baabadde ku kisaawe nga balindiridde abantu baabwe we baakabatemedde nti ennyonyi egudde mu nnyanja.

 

Emiranga n’ebiwoobe byabuutikidde ekifo kyonna abamu ne bazirika. 

 

Eyakulidde enteekateeka y’okuwenja ebibajjo by’ennyonyi n’okuzuula emirambo Muhmmad

Syaugi, yagambye nti eryato eryabadde ku lubalama kwe kuli abaalengedde ennyonyi nga yeerindiggula mu mazzi.

 

Ennyonyi Flight JT 610’ eyakoze akabenje kika kya Boeing 737 MAX 8, emu ku nnyonyi ezikyali empya mu kusaabaza abantu.

 

Akulira kkampuni ya Lion Air’s Edward Sirait, yagambye nti babadde n’ennyonyi ekika kino munaana. Bye baazudde ebikwata ku nnyonyi eno biraga nti yasoose kubuuka n’etumbiira mu bbanga ffuuti 5,000 ezo ze mmita 1,524, eno gye yabulidde ku byuma ne babeera nga tebakyagiwuliza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...