TOP

Mayiga akyalidde Ssemwogerere

Added 30th October 2018

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga, akyaliddeko mu maka ga Paul Kawanga Ssemwogerere, e Lubaga, okulaba embeera gy’alimu oluvannyuma lw’okuzirikira mu lutikko e Lubaga.siibulwa mu ddwaaliro e Lubaga gye yali yaddusibwa ng’ali mu mbeera mbi.

 Mayiga  mu maka ga Kawanga

Mayiga mu maka ga Kawanga

Bya STUART YIGA 

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga, akyaliddeko mu maka ga Paul Kawanga Ssemwogerere, e Lubaga, okulaba embeera gy’alimu oluvannyuma lw’okuzirikira mu lutikko e Lubaga.siibulwa mu ddwaaliro e Lubaga gye yali yaddusibwa ng’ali mu mbeera mbi.

Ssemwogerere 86, yazirikiramu lutikko e Lubaga wiiki ewedde.

Abantu beekolamu omulimu ne bamuddusa mu ddwaaliro okufuna obujjanjabi kyokka nga kati yasiibuddwa ali mu makaage.

Oluvannyuma lw’okulaba ku Mayiga, Ssemwogerere eyabadde anekaanekanye mu kkanzu, yabugaanye essanyu era n’ayaniriza omugenyiwe.

Kinajjukirwa nti Ssemwogerere, yaliko Pulezidenti w’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya DP era nga yavuganyaako ne kubwa Pulezidenti.

Ebyobufuzi yabinnyuka mu 2005, kyokka nga mu kaseera kano, yoomu ku bannabyabufuzi asinga okuweebwa ekitiibwa mu kibiina kya DP, olw’obumanyirivu bw’alina (Yakulembera ekibiina kya DP okumala emyaka 25).

Ssemwogerere yazaalibwa 11, February, 1932, e Kisubi, mu disitulikiti y’e Wakiso. Yasomera ku St. Henry’s College Kitovu-Masaka, Makerere University, Allegheny College, Meadville-Pennsylvania. Mu 1979, yakoonola digiri y’obwa dokita mu by’obukulembeze okuva mu yunivaasite ya Syracuse, New York, mu Amerika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo