TOP
  • Home
  • Amawulire
  • E Zombo wakyaliyo abayizi ba P6 abatamanyi kugatta!

E Zombo wakyaliyo abayizi ba P6 abatamanyi kugatta!

Added 31st October 2018

E Zombo wakyaliyo abayizi ba P6 abatamanyi kugatta!

 Abayizi nga bali mu kibiina e Zombo

Abayizi nga bali mu kibiina e Zombo

GAVUMENTI efubye okutumbula ensoma y’abaana mu bitundu  eby’enjawulo okulaba nga buli muyizi waali asobola okubeera ku mutindo oguvuganya n’okuyita ebibuuzo ku mutendera gwonna. Wadde nga guli gutyo, wakyaliwo okusoomoozebwa mu nsoma y’abayizi mu pulayimale naddala mu bitundu eby’ebyalo ebibaleetedde n’okugwa ebibuuzo bya P.7.

Mu kunoonyereza okwakoleddwa aba Twaweza nga bayita mu nteekateeka ya Uwezo mu disitulikiti y’e Zombo, era nange kwe nagoberedde nalabye ebintu eby’enjawulo bye ndowooza nti ssinga gavumenti, abazadde wamu n’abasomesa okwo gattako abalala abakwatibwako ku by’enjigiriza babiteekako omulaka kijja kuyamba okutumbula eby’enjigiriza mu byalo bituukane n’ebitundu by’ebibuga.

 
Abantu ab’enjawulo abaakoze omulimu gw’obwannakyewa okulambula amassomero n’amaka ag’enjawlo mu Paidah TC, ggombolola y’e Paidah, Zeu n’endala nga bagenda babuuza abasomesa ku nsoma y’abaana n’okubuuza abaana ebibuuzo okuli okusoma emboozi, okugatta n’okwatula ennukuta.

Ebintu byonna ebyabuuziddwa bya kibiina kyakubiri (P2), wabula abamu ku bayizi naddala mu ggombolola y’e Zeu abasoma P7, P6 ne P5 nga tebasobola kuyita bibuuzo bya P2 eby’okugatta n’okusoma emboozi! Kino kiraga nti waliwo obuzibu kyokka nga batuuse okukola eby’akamalirizo ebya P7 ekitegeeza nti nabyo biyinza okubakaluubiriza.

Abayizi abamu abasoma P6 tebasobola kugatta, kwawula n’okukubisa. Ate ekibuuzo kyekimu bw’okimubuuza ng’okyusizaamu akigwa ne wankubadde ng’ate bw’okyusa mu ngeri endala akiyita!
 
Okunoonyereza kuno kwakoleddwa ku baana wakati w’emyaka 6 ku 16, kyokka obwedda waliwo abayizi abali mu myaka 10 nga baava dda mu massomero ekintu eky’eraliikiriza.
 
Abamu badda mu kutayaaya ku byalo, abalala balonda mmwaanyi n’okukola obulimu obulala ne bafuna ssente ate abamu okutuuka mu bibiina ebya waggulu nga tebasooka kusoma nassale.
 
Ronald Atiku amyuka akulira essomero lya Mvugu Lower (ssomero lya gavumenti) mu kabuga k’e Paidah yagambye nti, obuzibu buviira ddala ku musingi abaana gwe bafuna nga bato okuba omunafu.
 
Wabula abazadde abamu balemwa okugulira abaana baabwe n’obuntu obusookerwako okuli ebitabo, ekkalaamu, yunifoomu n’ebirala kale olwo omwana aba agenda kusoma atya?

Ono yawagiddwa Christine Odokodit, omusomesa wa P2 ku ssomero lye limu eyagambye nti, mulimu abaana abajja nga tebalina kintu kyonna ogenda okubawa eby’okukola nga tebalina we bawandiika ate abamu abalina ebitabo nga tebalina kkalaamu, kino kimalamu abaana bano amaanyi ate nga nange mba sirina ggezi lyonna.

 
Kale abazadde basaanye okuwagira abaana baabwe mu nsoma ebyenjigiriza lwe bijja okukyuka omwana ave wansi nga ategekeddwa bulungi. 
Yayongeddeko olw’okuba ekitundu kyabwe kirimu obunnyogovu, mu biseera by’enkuba abaana abato tebasoma olw’obutiti ate abamu nga tebalina masweta. Wabula ne ku lunaku lw’akatale era tebasoma abazadde babasindika mu katale okutunda ebintu ebyo nabyo bikosa ensoma yaabwe.
 
Justine Ulema Owinja akulira essomero lya Jopomwocho P/S, mu ggombolola y’e Paidah nalyo nga lya gavumenti yagambye nti, Abasomesa ku ssomero lye kikyali kizibu nga weesanga mu P2 alinamu abaana 353, kyokka alina abasomesa babiri bokka ekitegeeza nti buli musomesa alina okufa ku baana abasoba mu 100 kino n’amateeka g’okusomesa tagakikkiriza kubanga galagira abaana 55 buli musomesa ate nawo ng’onyigirizza.
 
Kitgeeza gavumenti erina okulowooza okwongera ku muwendo gw’abasomesa ate n’abasomesa abakolera mu byalo baweebweyo akasiimu ak’enjawulo kuba ebitundu ebimu tebituukikamu kijja kuyamba okubakuumira ku mirimu.
 
Wabula wakyaliwo okusoomooza kuba n’abazadde bwe tubayita mu nkiiko z’essomero abamu tebajja, wabula omuwendo gw’abaana abava mu massomero nagwo gulinnya buli olukya. Kubanga abaana abato babakozesa emirimu ne batandika okufuna ensimbi ekibaleetera okuva mu kusoma.
 
David Abiwekango omusomesa wa P2 ku Jopomwocho yagambye nti, abazadde abamu ne bw’obasabayo 2,000/- ez’okukuba ebigezo by’abaana baabwe tebakkiriza kuzireeta ne weesanga ng’olumu abaana tebatuula bibuuzo.

Ekizibu ekirala kibeera ne ku ssomero, okugeza wano tulina entebe ntono ng’abayizi abamu batuula wansi kale kibakaluubiriza mu kusoma ne baba nga tebassaayo mwoyo n’okuwandiika kibeera kizibu gye bali.

William Anyolitho akulira ekitongole ky’obwannakyewa ekya Life Concern e Paidah, yagamby nti, abazadde basaanye bamanye nti ensi yakyuka nga bino ebiseera okusoma kwe kujja okuyamba abaana baabwe okubeera obulungi noolwekyo bakuteekeko essira.
 
Katho Sharon Ocola eyakuliddemu abaakoze okunoonyereza kuno yagambye nti, okunoonyereza kwatambudde bulungi era ebyazuuliddwa Twaweza egenda kubigatta bulungi ebifulumye kiyambe gavumenti n’ebitongole ebirala ebivunaanyizibwa ku byenjigiriza okumanya we balina okuteeka essira okutumbula eby’ensoma naddala mu baana abato.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dr. Okello Kalule.

Omulimi by'olina okukola ok...

MU Uganda mulimu ebika by'ebinyeebwa ebisukka mu 26 nga buli kimu kisobola okudda kumpi mu buli kitundu kya ggwanga...

Kigoonya.

Nze nnindiridde buwanguzi -...

Bya Vivien Nakitende Angella Kigoonya Namyalo eyeesimbyewo ku bwameeya bwa munisipaali y'e Lubaga ku kaadi ya...

Mberaze aleebya Ssebuggwaawo.

Ebya Mmeeya Ssebuggwaawo bi...

We buzibidde ng'okubala obululu mu bitundu bya Lubaga South eby'enjawulo kulaga nga Munna NUP, Zachy Mawula Mberaze...

Nga bateeka omulambo gwa Bisaka (ku ddyo) mu nnyonyi okugutwala e kapyemi. Eyeeyita Katonda alese ebyafaayo.

Eyeeyita Katonda alese ebya...

ENTEEKATEEKA z'okuziika Owobushobozi Bisaka ziri mu ggiya. Omulambo gwe okuva e Nairobi gwaleeteddwa mu nnyonyi...

Ggaadi eziwedde okukola.

Okwokya ggaadi za bodaboda ...

BW'OZITUNUULIRA kungulu oyinza okulowooza nti ziggyibwa bweru wa ggwanga olw'endabika yaazo ennungi. Ggaadi zino...