TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Jangu oyige okukola ennyama ya ffene enkya mu musomo gwa 'The Great Sundowner

Jangu oyige okukola ennyama ya ffene enkya mu musomo gwa 'The Great Sundowner

Added 31st October 2018

Jangu oyige okukola ennyama ya ffene enkya mu musomo gwa ‘The Great Sundowner

 Omukenkufu Julius Nyanzi ng'asiimibwa olw'okubeera omuyiiya ssaako n'okwongera omutindo ku bintu ebikozesebwa bannayuganda

Omukenkufu Julius Nyanzi ng'asiimibwa olw'okubeera omuyiiya ssaako n'okwongera omutindo ku bintu ebikozesebwa bannayuganda

WIIKI ewedde nakulaga engeri ez’enjawulo z’osobola okukozesa okugattako omutindo ku masanda ga payini n’okulunda enseenene. Leero tugenda kwogera bw’oyinza okukola ennyama okuva mu ffenne, jjukira nti hhenda nkusunirako ku bintu by’ogenda okusoma mu musomo gwa ‘The Great Sundowner 3’ enkya.

Omusomo guno gubaayo buli mwaka era ng’ekigendererwa ekikulu kumanyisa bantu nti basobola okugatta omutindo ku bintu bye balima, era ekimu ku bye basobola okugattako omutindo ne bakola ebintu eby’enjawulo kwe kuli ennaanansi ne ffene.

ENNYAMA YA FFENE Abamu balowooza tekisoboka, era ffene ng’avaamu atya ennyama? Naye beerabira ekintu kimu nti, ky’otasobola kukola tolowooza mbu tekisoboka? Ky’ekiseera abantu okuzibuka amaaso.

Ffene alina ebiguwaguwa ebiringa ebiri mu nnyama ekitegeeza nti musobola okuvaamu ennyama ate eriibwa buli muntu n’abo abalina alaje ku nnyama bagirya kubanga tebaleetera birogologo.

Ssinga ogatta ebiguwa bino mu butto w’entungo n’ekinzaali n’emitendera emirala nga bwe tunaagimalayo enkya okolamu ennyama. Ate ekirala tebaamu masavu nga gano agali mu nnyama eyaabulijjo noolwekyo eya ffene tekuleetera mugejjo ate nga tesobola kukulwaza kalusu oba bulusera ebitera okuva ku nnyama. Tesiba byenda nga bwe guli ku nnyama endala olumu ekivaako abamu okulwala alusa ate tekola butwa mu mubiri ng’ogiridde.

Kino kitegeeza nti, omuntu abadde akola sumbuusa ogenda kukola sumbuusa ezirimu ennyama ya ffene, kino kigenda kubeera kipya n’abalala abakola ebintu ebigendamu ennyama mufunye ennyama empya. Wabula n’abantu abamulima kye kiseera okumugattako omutindo.Laba wano mu video

https://www.facebook.com/CHAIR.NYANZI/videos/2084882604908722/?__tn__=%2CdC-R-R&eid=ARB0EVhOmoOQcPf53Nvf8c4D68zwuPEv7rZAxy3mcdmO-bkNNRhb5aIOme-QMJ9GO9IAMBhG4IgzSVEe&hc_ref=ARTTa3js2HCe-TDFmt7s8-tZiq3FTp6EC1uo_wKgmVcSJZI9CxIlTqFRJ9BODeRUkD4&fref=nf

ENNAANAANSI Abagenda okwetaba mu musomo tebagenda kukoma ku kuyiga kukola nnyama ya ffene, bagenda kuyiga n’okukola viniga okuva mu nnaanansi ono ayamba okusala omugejjo, aleeta ebiriisa mu mubiri, ayamba obuteesiba lubuto, atta obuwuka okugeza obuleeta kandida n’ebirala. Guno gwe mukisa ogusoose Bannayuganda okumanya bwe bakola viniga ono ne batadondolwa ssinga ennaanansi zibeera ku kidibo.

Bagenda kumukola basobole okwongera ku nnyingiza yaabwe. Omuzadde jangu n’omwana abeeko by’ayiga naddala emirimu gye musobola okukolera awaka. Nkusuniddeko ku bigenda okubaayo enkya ebirala hhenda kubirambululira mu musomo.

Jjukira nti ogenda na kussoma ku ‘Black pepper’ mu musomo gwa ‘The great sundowner’ nga enkya ku wooteeriya Equatorial mu Kampala. Tujja kusomesa n’ebintu ebirala okuli okulima flax, emirimu gy’oyinza okukolra awaka n’ofuna ssente, okugatta omutindo ku masanda ga payini, okugatta omutindo ku Mamera n’ebirala. Asangibwa ku Equatorial Mall edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.