TOP

Kawooya owa DP azzeeyo okweyanjula

Added 1st November 2018

Kawooya owa DP azzeeyo okweyanjula

Yusuf Kawooya owa DP azzeeyo ne yeeyanjula ku CMI e Kireka ne bamwongera wiiki bbiri addeyo mu ddwaaliro yeeyongere okujjanjabibwa.

Yatwaliddwa aba famire ye n’emikwano nga yenna atidde ng’alowooza nti agenda kuggulwako emisango kubanga baamussaako akakwakkulizo nti bambega bakyagenda mu maaso n’okunoonyereza; tebannaba kumwejjeereza.

Eggulo yawerekeddwako kitaawe, Habib Jingo ne mwannyina Sharifah Nakitende nga baddayo okweyanjula. Baamutaddeko obukwakkulizo nti bateekwa okumuzzaayo oluvannyuma lwa wiiki bbiri okuva eggulo.

Kati wiiki bbiri nga Kawooya akwatiddwa kyokka yayimbulwa ku kakalu ka poliisi nga tagguddwaako musango. Bwe yali akwatibwa , abaserikale abaali babagalidde emmundu baamukuba ebigala ne bamukosa embiriizi era agamba nti okutu okumu kwakosebwa era ajjanjabirwa mu ddwaaliro lya Kampala Hospital e Kololo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...