TOP

Ali ku gw'okutta Kirumira alaajanye

Added 1st November 2018

Ali ku gw'okutta Kirumira alaajanye

 Abaserikale b’amakomera ng’abatwala Kalungi mu kaduukulu k’oku kkooti e Wakiso.

Abaserikale b’amakomera ng’abatwala Kalungi mu kaduukulu k’oku kkooti e Wakiso.

OMUSAJJA Abubaker Kalungi avunaanibwa omusango gw'okutta Muhammad Kirumira asabye kkooti emukkirize afune obujjanjabi olw'obuvune bwe yatuusibwako.

Bino Kalungi yabitegeezezza omulamuzi wa kkooti ye Wakiso, Eseza Nakadama. "Oweekitiibwa omulamuzi nsaba kkooti enzikirize nfune obujjanjabi kuba nnumizibwa ekisusse," Kalungi bwe yategeezezza kkooti.

Yagambye nti abaserikale abaamukwata baamutulugunya nga kati awulira obulumi obwamaanyi mu kifuba, embiriizi n'amagumba nga yeetaaga okujjanjabibwa. Kalungi yasoose kwagala kubaako ky’ayogera wabula abaserikale b’amakomera ne bamugaana wabula basibe banne ne bamugamba ayogere ebimuluma eri abaamawulire kye yakoze ne mu maaso g'omulamuzi Nakadama.

Yakikaatirizza nti eby’okutta Kirumira tabimanyi era nti amazima gajja kuzuuka. Omulamuzi Nakadama yawadde ekiragiro nti mu ddwaaliro eriri mu kkomera e Kigo bwe waba tewali bujjanjabi bumala Kalungi bamukyuse bamutwale mu ddwaaliro lya Murchison Bay mu kkomera e Luzira. Omusango yagwongeddeyo okutuusa nga November 14, 2018

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...