TOP

Taata wa Zaake ayagala kifo mu NRM

Added 1st November 2018

Taata wa Zaake ayagala kifo mu NRM

OMUSUUBUZI Emmanuel Sembuusi Butebi, taata w’omubaka wa Mityana munisipaali, Francis Zaake ayagala kifo kya ssentebe wa NRM mu disitulikiti y’e Mityana. Butebi yeewuunyisizza abamu ku bantu ababadde balowooza nti wa ludda oluvuganya Gavumenti, nga bakiggya ku ndowooza ya mutabani we n’okuba nti azze awagira abantu abatali ba NRM mu kulonda okwaggwa.

Zaake wadde yalondebwa nga tajjidde ku kaadi ya kibiina kya byabufuzi kyonna, kyokka amanyiddwa nti wa ludda oluvuganya. Mu Gavumenti y’ekisiikirize ey’abooludda oluvuganya, Zaake ye minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’amawanga g’obuvanjuba bwa Afrika. Enock Kato Zigoti, eyali ssentebe wa NRM mu disitulikiti y’e Mityana bwe yafa mu December wa 2016, amawulire gaasooka kuyitihhana nti Butebi y’omu ku baali beegwanyiza okumuddira mu bigere.

Kyokka okulonda okwali okw’okujjuza ekifo tekwategekebwa, bwatyo eyali omumyuka wa ssentebe Haruna Kibirige Nziiza n’asigala mu ntebe n’okutuusa leero. Butebi bwe yabuuziddwa oba nga ddala kituufu wa NRM era nga yandyagadde okubeera ssentebe w’ekibiina, yagambye nti abantu abalowooza nti wa ludda oluvuganya Gavumenti bakyamu.

Yagambye nti eky’okubeera nga yazaala omubaka w’oludda oluvuganya tekitegeeza nti naye kyali kuba bazaala mibiri. “Zaake musajja mukulu eyeetegeerera era bw’abeera asazeewo okubeera mu kibiina ky’ebyobufuzi kyonna libeera ddembe lye,”. Butebi bwe yagambye. Ku ky’okwesimbawo yagambye nti abadde tannaba kukirowoozaako, weewaawo nga waliwo abaamutuukirira nga bamusaba yeesimbewo. Olw’okuba ekifo kino kirondebwa abakulembeze bangi, abantu bwe babeera bamulabyemu obusobozi ne bakimuwa asobola okubaweereza.

Kyokka waliwo abakulembeze ba NRM abalwana okulaba nga Butebi tebamukkiriza kukulembera kibiina nga bagamba nti ssinga yali muwagizi mutuufu yalina kuwagira Charles SseruggaMatovu eyali asimbiddwaawo ekibiina mu kulonda kwa munisipaali okwaggwa.

Okwesimbawo kwa Butebi kutemyemu aba NRM ng’abamu bagamba nti Butebi alina obusobozi okutwala emirimu gy’ekibiina mu maaso kuba amanyiddwa nti yeesobola mu by’ensimbi ate ng’azigaba.

Omubaka Francis Zaake teyafunise kubeerako ky’ayogera ku nsonga eno, ng’abamuli ku lusegere baagambye nti yabadde awummuddeko nga teyeewulira bulungi. Kyokka abawagira Butebi baagambye nti bw’anakkiriza obwassentebe tekijja kubeewuunyisa kuba aludde nga talabibwa mu ntalo mutabani we z’azze yeenyigiramu ez’ebyobufuzi.

ABA NRM BAWADDE ENDOWOOZA ZAABWE Nuuh Kalamwa, sipiika wa divizoni y’e Busimbi yagambye nti Butebi okwesimbawo aba NRM balina okugulaba ng’omukisa ne bamusembeza okusinga okumugobera ebweru kubaekibiina kyonna kikula bantu. Abali mu bukulembeze yabawadde amagezi okutuula naye bakulaakulanye ekibiina. Munnamateeka Ibrahim Kamya yagambye nti okujja kwa Butebi yagulabye ng’omukisa gw’okufuna abantu abalina embavu abasobola n’okuteeka ssente mu kibiina obutereevu.

GWE BAAGALA OKUKYUSA ENTEBE AYOGEDDE Haruna Nziiza Kibirige, ssentebe wa NRM aliko yagambye nti talina buzibu na Butebi kubeera mu NRM kuba ddembe lye era baaniriza buli muntu ayingira era y’ensonga ebakuumidde mu buyinza okumala ebbanga. Kyokka ku ky’okubeera ssentebe yamusabye asookere ku kukyusa mutabani we omubaka Zaake amuleete mu NRM, kuba tekigasa ye okuvaayo ate mutabani we n’asigalayo. “Abalonzi be bajja okusalawo okumulonda oba obutamulonda, kyokka mu mbeera gy’alimu akyalina olusozi luwanvu”, Nziiza bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abapoliisi nga balawuna mu Kampala.

Okunoonyereza kulaze ebibul...

OKUYITA mu kunoonyereza kwa Vision Group etwala ne Bukedde, Bannayuganda balaze ebyokwerinda n’obutebenkevu bwe...

Nakibinge

Kasikonda amusse ayigga kalulu

KASIKONDA akutte eyeesimbyewo ng'anoonya akalulu n'aziyira. Amulumye okumala ennaku nnya ng'assiza ku byuma oluvannyuma...

Abasawo nga bassa omwana mu ‘incubator’

Bafunye ebyuma ebibikka abaana

OMUWENDO gw'abaana abafa nga tebannatuusa myezi 9 (kwe balina okuzaalibwa) mu disitulikiti y'e Kamuli, Buyende...

Katuukiro (owookubiri ku ddyo), Polof Kisambira (akutte akazindaalo) ne baminisita ba Busoga.

Kyabazinga akungubagidde Ntalo

KYABAZINGA wa Busoga William Wilberforce Nadiope IV akungubagidde Vincent Ntalo Kakete taata wa Katuukiro we, Dr....

Nassimu Kyazike.

'Muntaase munponye okusula ...

OMUSERIKALE wa UPDF abafere gwe baalimba okuguza enju ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu n'okumubbako obukadde...