TOP

Olwa October 29 kati lwa kuwummula - Museveni

Added 1st November 2018

Olwa October 29 kati lwa kuwummula - Museveni

 Minisita wa Busoga ow'ebyobulambuzi Hellen Namutamba (ku kkono), Bp. Samuel Egesa owa Bukedi, Sipiika Rebecca Kadaga, Pulezidenti Museveni, Ssaabalabirizi Ntagali, Bp. Paul Kiptoo Masaba owa Kapchorwa, minisita w'eggwanga ow'ebyobwegassi Fredrick Gume ne Sipiika w'Olukiiko lwa Busoga George Mutyabule.

Minisita wa Busoga ow'ebyobulambuzi Hellen Namutamba (ku kkono), Bp. Samuel Egesa owa Bukedi, Sipiika Rebecca Kadaga, Pulezidenti Museveni, Ssaabalabirizi Ntagali, Bp. Paul Kiptoo Masaba owa Kapchorwa, minisita w'eggwanga ow'ebyobwegassi Fredrick Gume ne Sipiika w'Olukiiko lwa Busoga George Mutyabule.

PULEZIDENTI Yoweri Museveni akkiriziganyizza ne Ssaabalabirizzi wa Uganda Stanely Ntagali n’Abalabirizi ab'e Busoga okufuula olunaku (October 29) olujjukirirwako Omulabirizi James Hannington olw'okuwummula mu ggwanga.

Bino Pulezidenti yabyogedde ayanukula okusaba kw’Omulabirizi wa Busoga Samson Naimanyhe eyamusabye olunaku lwa Bishop Hannington alufuule olunaku olukulu mu ggwanga bwe baabadde nga balamaze e Kyando mu disitulikiti y'e Mayuge nga bajjukira Omulabirizi Hannington eyatibbwa mu 1885.

Olunaku lwa Hannington lukuzibwa nga October 29 e Kyando mu Mayuge era nga olw’omwaka guno lwakuziddwa ku Mmande. Waasoose kubeerawo okusaba okwakulembeddwaamu Ssaabalabirizi Stanely Ntagali ng'ayambibwako Omulabirizi wa Central Busoga Patrick Wakula.

Mu kusaba, Ntagali yasabye abantu okukulembeza Katonda n’okwagala. Ntagali yeemulugunyizza mu maaso ga Pulezidenti ng'abakuumi be bwe baamuyisizza obubi n’okubatyoboola nga baagala okumwaza ne mukyala we nga baakatuuka mu kifo ekyo era n’asaba Museveni abagambeko bakyuseemu ku ngeri gye bakwatamu bannaddiini.

Yasabye Gavumenti ebakwatireko okukulaakulanya n’okutumbula ebifo eby’obulambuzi eby’eddiini omuli ekya Bishop Hannington, St. Matia Mulumba e Mayuge n’ekya St. Gonzaga Gonza e Kaliro.

BATONZEEWO OBULABIRIZI OBULALA Yayongedde n’abuulira Abasoga amawulire amalungi nti, Ekkanisa ya Uganda etegeka kutondawo Obulabirizi obulala obwa EastBusoga Diocese ng'ekitebe kyabwo kigenda kuba Bugiri nga buno bugenda kuweza Obulabirizi 38 mu Uganda.

Ye Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga yategeezezza nti azimba wooteeri eyitibwa Century Hannington Resort mu kifo ky'e Kyando okwongera okutumbula ebyobulambuzi.

Kadaga yategeezezza nti wooteeri eno ya bisenge 40 era ye Pulezidenti yatema evvuunike okugizimba. Yasabye Pulezidenti akube kkoolaasi oluguudo olugenda mu kifo kya Bishop Hannington Memorial Site e Kyando.

Bwe yabadde ayogera eri abalamazi, Pulezidenti Museveni yabategeezezza nti akkirizza eky’okwongera olunaku lwa Bishop Hannington Day ku nnaku enkulu ezikuzibwa mu Uganda era n’asuubiza okukuba kkoolaasi omutonotono ku luguudo olugenda e Kyando. “Tulina ennaku enkulu ezikuzibwa mu Uganda nnyingi naye luno olwa Bishop Hannington lwa njawulo era lwetaaga kwongerwa kw’ezo eziriwo ze tukuza mu mwaka,” Museveni bwe yategeezezza.

Museveni yategeezezza nti Uganda efuna doola akawumbi kamu n’obukadde 400 okuva mu by’obulambuzi okusinga ku doola obukadde 500 z’efuna mu mmwaanyi era nti kyetaaga okwongeramu amaanyi mu kubitumbula Bannayuganda basobole okuganyulwa.

Pulezidenti yagambye nti agenda kulaba Minisita w’ebyensimbi okulaba ng'assaawo omutemwa gwa ssente okukulaakulanya ekifo kya Bishop Hannington Site n’ebirala. Yasiimye emirimu egyakolebwa Omulabirizi James Hannington n’egya Janan Luwumu mu ggwanga. Oluvannyuma bonna baasaze keeki.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....