TOP

Kadaga alangiridde olutalo ku kibbattaka

Added 2nd November 2018

Kadaga alangiridde olutalo ku kibbattaka

SIPIIKA Rebecca Kadaga asabye Gavumenti n’abalala abali mu bifo by’obukulembeze byonna okuggulawo olutalo ku kibbattaka n’okugobaganya abasenze.

Yabyogeredde ku Sheraton Hotel mu Kampala ng’atongoza lipooti ezikwata ku bungi n’embeera z’abantu mu Uganda n’ensi yonna (2018 State of Uganda and World Population Reports).

Kadaga yakunze abantu okukuuma obutonde n’okujjumbira okusoma n’okusomesa abaana ebyemikono kikendeeze ku bbula ly’emirimu erireetebwa abayizi okusoma emirimu gy’okusiba amataayi, bwe bamala okugisoma ne gibula. Mu lipooti kyategeezeddwa nti, omuwendo gw’abaana ababalirirwa okuzaalibwa buli mukazi Munnayuganda gugenze gukendeera okuva ku musanvu okudda ku bataano.

Kino kizzeewo olw’abamu ku bo okwongera okujjumbira enkola ya kizaalaggumba n’abalala okusoma. Kyokka omuwendo gw’abaana abazaalibwa abakazi mu byalo gukyali waggulu bw’ogeraageranya ne mu kibuga.

Okusinziira ku akulira akakiiko akavunaanyizibwa ku bungi n’embeera z’abantu Jotham Musinguzi kino kiri bwe kiti lwa kuba mu byalo abakazi tebafuna kumanyisibwa kumala ku nsonga za kizaalaggumba ng’ate abamu tebaasomera ddala. Minisita omubeezi ow’ebyensimbi David Bahati yagambye nti omuwendo gw’abawala abafuna embuto nga tebannaweza myaka 18

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...

Abatuuze nga bali mu lukiiko.

Batabukidde omusamize mu lu...

ABATUUZE b’e Jjokolera mu ggombolola y’e Nangabo mu disitulikiti y’e Wakiso balumirizza omusamize okubateega n’abawamba...