TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Baabano abayimbi Full Figure baasinga okuvuma, Baasinga yabakolamu ttatu ku mukono!

Baabano abayimbi Full Figure baasinga okuvuma, Baasinga yabakolamu ttatu ku mukono!

Added 2nd November 2018

Baabano abayimbi Full Figure baasinga okuvuma, Baasinga yabakolamu ttatu ku mukono!

 Full Figure

Full Figure

OMUYIMBI Full Figure bw’omusanga alina omuntu gw’awalabula oyinza okumuwujja oluyi ate ne bakusibira bwereere. Tomukola kintu n’akulekera era bw’oba tomumanyi oyinza okulowooza nti alina ekikyamu. ‘Avuma, awemula nga n’ennyambala ye si yeesanyusa ekiryawo’. Bw’oba okyewuunya enjogera ya Full Figure ate n’olaba enjokyo ku mukono gwe ogwa kkono okuli amannya g’abasajja b’agamba nti bamusula ku mwoyo nga lufuba.

Abasajja bano kuliko: Geoffrey Lutaaya (bba wa Irene Namatovu), Omusumba Kakande, Yezu, King Saha (agira n’amusangulako n’amuzzaako), Bobi Wine, Sipapa, Chameleone, Gravity Omutujju ne Pallaso. Kuno agattako abaana be Lucky Muwanguzi ne Flower Mirembe wamu ne bba Dr. Joseph Balikuddembe akola ku ddwaaliro lya Paragon. Oba abasajja bano baamuwa ki?

Kubanga okusinziira ku bulumi omuntu bwayitamu nga yeeyokya enjokyo zino balina okuba nga banjawulo mu bulamu bwe. Mulimu n’abamu ba’atera okukuutiizaako nga King Saha ate olumala n’amuzzaako.

Oba aba amukozeeki? Nze naawe. Kyokka bw’omubuuza omusajja we akugamba nti: Nze tombuuza bya basajja, nze ndi mukazi muganda atabalirwa basajja. Nnina dokita, nnina looya n’omubaka wa palamenti n’abalala. Kati ggwe ku bonna ani gw’obuuza? Bwe yabuuzizza ng’eno ataddeko ffeesi ebanja. Bwe yamaze okwogera bino n’amaguka omulundi gumu n’agamba nti: Bannange munsonyiwe, bino bye mulaba bazadde bange be baabintuusaako.

Maama yangoba awaka ne nkulira ku luguudo era ebyavaamu byebyo bye mulaba. Nze nali mwana wa mpisa naye maama wange bwe yafa, taata n’awasa omukazi eyambonyaabonya ennyo nga ankuba, tampa mmere, yannemesa okusoma n’ebirala ebyangoba awaka ne ntuuka n’okwagala omusajja gwe nali sirowoozangako nga nnoonya ekyokulya n’aw’okubeera.

Taata ne mukyalawe nabakoowa era newankubadde babeera awo e Nateete mu Musoke zooni, sirinnyayo. Nagula n’ettaka lyange ne nkola ebiggya byange era mu kiraamo kyange gye balina okunziika era aligezaako okukikyusa aliroza ku bukambwe bw’omuzimu gwange. Ebyo nabyo olwabimaze n’alumba Fr. Kiibi Kateregga ku Lutikko e Lubaga ku Lwokubiri n’amusaba amusabireko ave mu mbeera gy’alimu n’akikola. Fr. Kiibi yamuwadde omukisa n’amusaba akyuse ku mbeera ze.

Full Figure yakkirizza n’amulaga essanyu olw’okumulabako kubanga okuva lwe yamulaba ku ttivvi ng’asabira Moze, bulijjo abadde yeesunga okumulaba afuuke mukwano gwe. Baawanyisiganyizza essimu Full Figure n’amusuubiza n’okumutwalira abaana be ababiri ababatize. Yamutegeezezza nga bw’alabirira abaana abalala mwenda ng’abayamba lwa kwebaza Katonda okumukuza n’abeera bulungi wadde bazadde be b’amubonyabonya ne bamulemesa n’okusoma.

FULL FIGURE Y’ANI? Ono ye mukazi abamu gwe bagamba nti yafuukira Kampala n’emiriraano ekizibu kubanga bw’atakuvuma akuwemula oba okukukola byombi. Alina edduuka ku luguudo lw’e Salaama gy’atundira ebintu ‘ebikuba’ omuli omwenge, amayirungi, omulondo, emmwaanyi ne cakalacakala omulala wabula avuma ne bakasitoma be. Waliwo gwe yawalabula olw’okumuwa akapapula ka 50,000/- ng’ate ayagalako air- time wa 2,000/- ng’ekimuvumya lwa kubulwa bbalansi gw’amuddiza. Zungira muli mu baavu banno n’obusente bwo obw’omusaala.

 

Waliwo ne bassereebu abaagenda mu byafaayo olw’okuvumwanga Full Figure nga ku bano kuliko: ABAYIMBI BAATAMBULIRAKO lRebecca Jjingo: Ono oyinza okugamba nti amuliira ku kyankya buli kadde gw’akeererako n’amuvuma nti: Nze tompita buli bu Rebecca Jjingo obutasalawo ku by’abasajja ne bubasagaasaganiramu ng’akabiriiti akatooleko. (Agamba nti ekimuvumya oluyimba lwa Mudigide mucakale lwe yakola ne Chance Nalubega, Rebecca yagamba nti lwali lwa Chance). lEvelyn Lagu Ono ye kennyini yamufuula kivumo.

Agenda n’avuma omuntu n’awunzika nti; Kirabe kiringa Evelyn Lagu. (Agamba nti Evelyn Lagu yennyini yeefuukira ‘problem’ ekizibu naye olumu teyeetegeera kati omuntu abeera mu mbeera ezo ky’ekivumo ky’amuvuma.) lHajati Madiina Bibuuza Abo abakazi abakadde, abanyogoga ekyababuza n’abasajja, tobambuuzanga.

(Olwo yabadde abuuziddwa lwaki amuvumanga) lCatherine Kusasira ‘Oyo namukoowa nga bw’okoowa omuntu bannange nakoowa omukazi oyoooo..’ Kyokka yategeezezza nti bwe yagenda mu Eagles Production okuyimba nga yaakava e Bukomero ku lw’e Hoima, Kusasira ne bba Fred Sserugga ne Geoffrey Lutaaya be baasooka okumwaniriza naye yakyawa Kusasira olw’okumuzza mu kulera abaana be mu kifo ky’okumukkiriza okuyimba nga kye kyamugya mu kyalo.

lTreka Man ‘Mukama n’akusisinkanya ebikolimo bibiri ng’ebya Trekaman, omanyanga nti ofudde. (Agamba nti omuyimbi Trekaman yafuuka kikolimo era ekimuvumya, yanyiiza Sipapa owa Sipapa Entertainment ate nga mukwano nnyo gwa Full Figure).

lMary Bata ‘Abo ba Mary Bata banywa emyenge gy’abantu…mu mabaala nga babayise okuyimba n’okulya emmere eby’obwereere bye baagala basiiba mu bya kweyerusa ky’ova olaba ali nga wa bitanga. (Yabadde abuuziddwa ekimuvumyanga Mary Bata).

Bamusasula oku vuma Wabula Mary Bata yategeezezza Bukedde nti, omukyala oyo asasulwa okuvuma abantu nga bw’oba ne ky’omuwadde, agenda n’amusonjola awatali kutya.

Kyokka Full Figure kino yakigaanyi n’agamba nti Mary Bata kennyini akimanyi nti abanjibwa naye yagaana okusasula Full Figure lwe yamuyimbirako ewa Muko Mitanda ku bbaala eyali eyitibwa PTC ku Salaama road ate okuva olwo yagifuula mpalana.

Okuyimba Abayimbi ba Eagles Productions mu biseera ebyo bwe baagenda e Bukomero ku lw’e Hoima, Full Figure gye yali abeera ewa kojja we ng’era tannaba kutandika kweyita linnya eryo, abayimbi baamwo naddala Geoffrey Lutaaya, Grace Ssekamatte n’abalala baamwegomba olw’empisa ze ng’abaweereza bulungi emmere mu wooteeri mwe yali akola.

Wano we yabasabira okubeegattako. Enkeera yalinnya takisi n’abalumba ku bbaala ya AY e Makindye ne bamuwa omulimu era nga muwala mulungi alina empisa. Lutaaya amukubamu oluyimba Agamba nti n’oluyimba lwa Geoffrey Lutaaya omuli ebigambo: Jenniffer mwannyinaze topapa kwagala musajja oyo… yali ayimba ku ye ng’amubuulirira aleme kupapira ku basajja be Kampala bayinza okumwonoona ng’ate yali akyali muwala muto.

Agattako nti n’erinnya lya Full Figure, Lutaaya ye yalimutuuma olwa ffiga eyali etandise okutambuza abasajja b’e Kampala akannaginnagi. Anyigira abayimbi ba Eagles Produ ction Wabula mwennyamivu nti talina luyimba lwonna lwe yayimbira mu bbandi eyo kye yava yakoowa abayimbi abaagirimu abasinga kubanga baamuzzanga mu kukola mulimu guno na guli ne bamulemesa okuyimba.

Nga bwe bagenda mu safari akola gwa kubafunira loogi mwe banaasula n’okutereka ebisumuluzo byabwe, okwala obuliri, okubafumbira caayi n’okubaweereza emmere n’ebirala. Akola erinnya mu Gomiba band Agamba nti wadde baali bamuwadde omulimu mu Eagles, yali wolole atakkirizibwa kulinnya ku siteegi okuggyako okukola guno na guli mu bbandi.

Bwe yalaba Chance Nalubega ku Calendar, yamusaba amwegatteko n’amukkiriza kwe kukola oluyimba oluyimba lwa ‘‘Mudigide Mucakale’’ era Nalubega n’amuyamba n’amuteeramu amaloboozi n’amutwala n’ewa Dr. Tee eyamutwala mu situdiyo za Kasiwuukira Bugembe (yafa) n’alukwata ku lutambi. Oluyimba luno bwe lwakwatayo n’amutwala ewa Lusyn n’alugula 15,000,0000/- wabula Full Figure ajjukira nti baamuwaako 5,000,000/-.

Agamba nti talina kye yazikolamu okuggyako okutya ababbi era yatambulanga nazo okutuusa mukwano gwe muganda w’omubaka omu e Makindye lwe yazimwewoolako. Ennyimba ze Teri mulimu mubi, mucakale mudigide, oluwombo, Ndi mukoowu n’endala.

Obuzaale Amannya ge amatuufu ye Jeniffer Namutebi eyazaalibwa mu 1984 ng’alina emyaka 34. Yasomera ku Jovic Nursery e Nalukolongo, St. Matia Mulumba e Mutundwe gye yamalira P7. Tayogera mannya ga bazadde be naye bw’akuyamba erya kitaawe akugamba lye baamukazaako nti ye Paapa olw’okuba Omukatoliki ennyo. Agamba nti yakoowa bazadde be era e Nateete gyebali naye tayagala kumanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Full Figure ne Balaam e Mbarara.

Full Figure atabaganye n'ab...

OMUYIMBI Jenniffer Fullfigure nga kati akola nga omuwabuzi wa pulezidenti Museveni asisinkanye abayimbi n'abavubuka...

Biden avuganya ne Trump.

Abalonzi obukadde 4 mu Amer...

OKULONDA kwa Amerika kuli mu katyabaga bannassaayansi bwe bagudde mu lukwe lw'amawanga bwe batalima kambugu nga...

Pulezidenti Museveni.

Twagala buwanguzi bwa Musev...

Omumyuka wa ssentebe wa NRM mu Buganda, Godfrey Kiwanda Ssuubi atongozza akakiiko akagenda okunoonyeza Pulezidenti...

Mukasa (ku kkono) nga y'akamala okwewandiisa.

Abeewagudde ne batabula eki...

ABATAAYITAMU mu kamyufu ka NRM n’abaalemwa okuyita mu kusunsula kwa NUP batabudde ekibalo mu kalulu k’ababaka ba...

Latif Ssebaggala nga yeewandiisa e Ntinda.

Latif Ssebaggala olumaze ok...

OMUBAKA Latif Ssebaggala olumaze okwewandiisa okuddamu okuvuganya ku kifo ky'omubaka wa Kawempe North n'awera....