TOP

Mujje tukube omuziki nga bwe tusinza

Added 2nd November 2018

Mujje tukube omuziki nga bwe tusinza

OMUYIMBI Twina Herbert leero ali ku Theatre La Bonita mu kivvulu ky’atuumye ‘‘Friends of Twina Herbert’’. Kiwagiddwa kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde. Twina yagambye nti ekivvulu kino ekitegese okusembeza n’okugatta abawagizi be n’okwongera okumuwagira n’abayita bakube omuziki nga bwe basinza. Awerekeddwako mikwano gye okuli: Pr. Wilson Bugembe, Joy Tendo, Joseph Ngoma n’abalala bangi.

Okuyingira 50,000/- ne 100,000/-. YATANDIKA DDI OKUYIMBA? Twina agamba nti okuyimba yakutandika akyasoma ku High Way College e Makerere mu S.2 gye yakwataganira n’omusumba Bugembe.

Agamba nti okuyimba tekwasooka kumuyingira mu birowoozo okutuusa mu 2006 bwe yafuna okunyigirizibwa mikwano gye nga bamwefuulidde ne bamugoba mu nnyumba. Okuva wano yasibira ku kkanisa gye yeewogoma kyokka bwe yali mu takisi, baakuba oluyimba lwa “To the River”olwali lukwata ku mbeera gye yalimu. Ku kkanisa nafuna omuvubuka eyannyamba n’ansuza okumala akabanga okutuusa lwe nadda mu kyalo gye namala emyaka ena.

Mu kyalo nanoonya akatambi ka ‘‘To the River’’ ne nkyusa oluyimba luno ne nduzza mu Luganda ne nzigyamu ‘‘Ku mugga’’ nga lugamba nti ‘‘mukwano nneetegese okuwaayo byonna ebyange nkwata omukono, onsembeze nneetaaga okukusisinkana’’. Abantu bwe baalwagala ne yeeyongera okuyimba okutuusa kati. Ennyimba endala z’ayimbye kuliko: Saabisaanira,Sibyakyama, Siryerabira, Ng’enda wala, Oli Nsonga yange,Njagala engeri, Nyamba n’endala nnyingi.

Agamba nti okuyimba afunyemu emikwano, asobola okwebeezaawo ne famire ye ng’ate mu kiseera kino ali mu kumaliriza nnyumba ye nga n’emmotoka avuga. Twina agamba nti leero ligenda kubeera bbinu lyennyini kubanga bagenda kuyimba nga bwe basinza era Katonda tugenda kumusembeza abeere wamu naffe. Ekivvulu kino kitegekeddwa Phillip Mwesigwa owa Phillo Promotions.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ekiragiro ky'okusengula aba...

Abattakisi bagamba nti tebajja kukkiriza kuvaawo okuggyako ng’ebyabaggya mu ppaaka bimaze okugonjoolwa okuli enguudo...

Omusumba Ssennyonga mu lukiiko lwa bannamawulire.

Ssennyonga yeeyamye okuyamb...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga owa Christian life church e Bwaise asabye abakazi bonna abalina abaana b’omugenzi...

Omulambo gwa Paasita Yiga g...

OMULAMBO gwa Paasita Augustine Yiga guggyiddwa mu ggwanika ly'eddwaliro ly'e Nsambya gy'abadde ajjanjabirwa ne...

Enkuba egoyezza ab'e Kyeban...

Obuzibu abatuuze bano babutadde ku bakola oluguudo lwa Northern bypass abaayiwa ettaka mu mikutu egyanditutte amazzi...

Paasita Kyazze

Paasita Kyazze naye ayogedd...

Agambye nti Omusumba Yiga abadde muyiiya nnyo, omusanyusa era ayagala ky'akola kyokka bino byonna yandibikoze...