TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abazigu balumbye amakolero ne batema abantu n'okutwala emmundu

Abazigu balumbye amakolero ne batema abantu n'okutwala emmundu

Added 3rd November 2018

Abazigu balumbye amakolero ne batema abantu n’okutwala emmundu

 Poliisi ng’ekuuma ekifo ky’Abachina kye baalumbye ne babba.

Poliisi ng’ekuuma ekifo ky’Abachina kye baalumbye ne babba.

ABABBI baazinze mu kiro ekkolero ly’Abachina e Jjeza ku lw’e Mityana , basibye abaserikale ba poliisi abakuumawo ku miguwa. Batutte emmundu z’abaserikale, ssente enkalu n’emmotoka empya.

Zaabadde zikunukkiriza okuwera ssaawa 7:00 mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano, omuserikale eyabadde akuuma ku kkolero lya Sino Plywood e Jjeza mu ggombolola y’e Muduuma e Mpigi, n’alengera omuntu abuuka ekikomera ye n’alowooza nti, yabadde omu ku bakozi abakola ekiro.

Omusajja yatambudde butereevu ng’agenda awali omuserikale olwatuuseewo n’amusongamu emmundu n’amulagira amuwe eyiye era yakikoze. Olwamaze okuwaayo emmundu, ababbi abalala ne bayingira ne basiba omuserikale ku miguwa ne bamulagira abatwale awali munne gw’akuuma naye.

Yabakulembedde ne batuuka awali munne era naye olwatuseewo ne bamusongamu emmundu ne bamulagira aweeyo eyiye. Olwo naye ne bamulijja emiguwa, ekyazzeeko kugenda nga bakonkona ku nnyumba omusula Abachina omu kw’omu nga buli aggulawo bamusiba ku miguwa ne bamukuba n’okumulagira okuwaayo ssente. Bwe baamaze okuzikuhhaanya ne baggulawo ggalagi ne baggyamu emmotoka Harrier Abachina gye babadde baakagula.

Olwamaze okukuhhaanya omunyago ne badda ku mabbali ne bagabana kyokka ku nnyumba kwe baabadde nga tebaagikonkonye era muno mwe mwabadde omukozi eyabadde asigaddemu n’awulira nga bagamba nti, “ggwe Brian egyo emitwalo 30 gikumala.” Poliisi bwe yatuuse mu kifo kino, yasanze basuddewo emmundu emu ng’endala baagitutte.

Ku Lwokutaano ku makya poliisi yasazeeko ekifo n’egaana abantu baabulijjookuyingirayo ne bw’abeera nga mukozi wa kkampuni. Wano abantu we baasongedde olunwe mu Crime Preventer gwe babadde bamanyi nti ye Brian era poliisi yamukutte n’emuggalira e Mpigi.

Ekkolero lino, minisita w’amakolero n’obusuubuzi Amelia Kyambadde, yaliggulawo mu 2015 era lirina abakozi abawera n’okuwa abaana b’omu kitundu emirimu.

AB’EBIJAMBIYA E MUKONO BALUMBYE EKKOLERO LY’ABACHINA EDDALA Omukozi ku Hongland Ltd. e Bamutakudde mu Ggombolola y’e Kyampisi e Mukono, yategeezezza nti baabadde beebase ne beekanga ekitangaala ekyaka ng’ekimyanso nga kibaase mu amaaso.

Olwasitudde omutwe, omusajja n’abalagira okuwaayo ssente ze balina oba ssi ekyo ejjambiya eboogerere ku mubiri. Baalajanye okuyita omukuumi Yusufu Eleni abataase, baakitegedde luvannyuma nti abatemu gwe baasookeddeko ne bamutemaatema ebijambiya ne bamuleka ng’ataawa.

Abaabadde bakyesisiggiriza baalabye abasajja bangi nga buli omu yeeswanta n’ejjambiya kwekukunulayo ssente gye baabadde bazikukulidde. Ababbi baabalagidde nti obusente bwe babawadde tebumala babongerezeeko buli omu essimu gy’alina ne kompyuta ekika kya laptop ze baabadde nazo.

Byabaddewo mu kiro ekyakeesezza Olwokuna era baagenze okubalamu ng’ababbi batutte ssente eza Uganda eziri mu bukadde 140 ne doola ze bataategedde muwendo. Baasookedde mu nnyumba z’abakozi ne badda mu z’Abachina abaasoose okwesisiggiriza abasajja ne bawagala ku bijambiya olwo ne batandika okusikayo obubookisi omwabadde ssente ezaabadde zisigaddewo nga bamaze okusasula abakozi.

Baabatutteko essimu ne laptop nga buli gwe bagiggyako basooka kumulagira kuteekamu ‘password’. Aduumira poliisi y’e Naggalama Grace Nyangoma ng’ali wamu n’akulira okubuuliriza ku misango Sampson Higenyi, baakulembeddemu abaserikale okutuuka mu kifo awaabadde obunyazi buno. Poliisi yazudde ejjambiya ssatu ababbi ze baasudde, emmotoka ekika kya Nissan gye baabadde babbye, baagisudde mu kkubo oluvannyuma lw’okwabika omupiira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...