TOP

Engoye ezitankwata ku mubiri sizambala

Added 3rd November 2018

Engoye ezitankwata ku mubiri sizambala

STELLAH Nakimbugwe 24, musomesa mu ssomero erimu e Kajjansi. Muwala afaayo okwekuumira ku mulembe era agamba nti ekimu ku bimunyumira z'engoye ezimukwata omubiri.

Yayogedde ne AISHA NABUKEERA ku bintu eby'enjawulo by'akola ne bimukuumira ku mulembe mwaka ku mwaka. "Buli lwe nnyambala olugoye olunkwata omubiri muli mpulira emirembe era mmanya nti nnyumye. Eno y'ensonga lwaki nzettanira. Ebika by'engoye ze nsinga okwambala mulimu; ‘Top dresses': Buno bubeera bu bbulawuzi obukoma mu maviivi.

Ekisinga okubunjagaza kwe kuba nti buggyayo bulungi ffi ga yange. Ntera kubwambalira ku mpale ng'enkutte bulungi oba ku leegingi. Empale ezinkwata zongera okuggyayo ekikula kyange ne bwe mba nnyambaliddeko bbulawuzi ennyimpi era ndabika bulungi.

Ebitengi nabyo mbyettanira kubanga ndi mukazi Mufi rika. Ebitengi binnyumira nnyo ate ekirungi nti tebiboola, kasita okitungisa mu musono ogukunyumira. Oluusi ntungisa ekitengi nga nkigasseeko matiiriyo endala ate olulala nkitunga kyokka mu musono ogunnyumira era ne ndabika bulungi.

Ennaku zino waliwo emisono eginyumira abawala nga nze era gino gye nsinga okwettanira. Kuno ngattako n'emisono emirala egiri ku mulembe olwo ne ndabika bulungi.

Ebintu ebirala ebimukuumira ku mulembe mulimu; OLUSUSU Ebiseera ebisinga neesiiga mekaapu y'ensonga lwaki buli w'onsangidde mbeera ndabika bulungi. Wabula ekiro oludda awaka nsookera ku kunaaba mu ffeesi ne nzigyamu mekaapu yenna. Ono munaabamu n'amazzi agabuguma.

Ekirala, ffeesi nfuba okugikuutamu ne ‘scrub' oluvannyuma ne nginaabamu n'amazzi agabuguma. Oluusi nfuna obudde ne neeyoteza, ekiyamba olususu okutuuyana n'evaamu obucaafu bwonna obwandireese embalabe.

Okunywa amazzi nayo nsonga nkulu era sigigayaalirira. Gano gayamba olususu okuweweera n'okulunyiriza.

FFIGA Omuwala yenna alina okumanya awali amaanyi ge mu nkula ye. Nze ffi ga yange mmanyi nti etunda etra kye kimu ku bintu bye nsinga okufaako nga ngirabirira mu ngeri ennungi. Kino okukituukako, nkola dduyiro naddala mu biseera byange eby'eddembe.

Ekirala emmere ntera kulya ya kigero, era ekyeggulo nakivaako. Amazzi agabuguma nago sigasuulirira kubanga gasala amasavu mu mubiri ekitangira omugejjo. ENVIIRI Njagala nnyo okusiba omusono gwa penso ne ‘dreads' kuba zimpa emirembe. Ntera n'okusiba emisono emirala nga wiivu kanassatu nga zitera kummalako 60,000/- n'okudda waggulu.

Wabula osanga omuwala ng'enviiri ze zirabika bubi nnyo ne weewuunya ky'alowooza kyokka ng'enviiri kye kitiibwa ky'abakyala.

ENGATTO Engatto empanvu zinkolera nnyo kuba zimpa obuvumu ate zinfaananya bulungi nga wadde ebiseera ebimu obeera oyambaliddeko olugoye nga si lwa bbeeyi, engatto ziruggyayo bulungi n'onyuma nga zino ntera kuzigula 50,000/- n'okudda wagulu, nga langi yaazo sitera kugifaako kasita eba ng'enennyumira. ENJALA Ntera kusiiga ‘jell nails'nga zino zikalira mu kyuma.

Zino nzikolera 20,000/-. Ntera kusiiga langi ya kakobe ne maruuni kuba zindabikira bulungi. Enjala zitera okuyiwayo abawala nga tebazifuddeeko kuba omuntu kw'atuukiza amaaso. ENSAWO Ntera okukwata ensawo ennene kubanga nteekamu buli kimu kye neetaaga. Ensawo nzigula okuva ku 70,000/- okudda waggulu. Ntera kuzigula ku kizimbe kya Grand Corner mu Kampala. EBYOKWEWUNDA Nkozesa nnyo mekaapu kubanga andabisa bulungi. Lipusitiiki nesiiga mumyufu kubanga agendera ku langi y'olususu lwange

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...