TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Empaka za Bukedde ez'okufumba zikomyewo mu butale

Empaka za Bukedde ez'okufumba zikomyewo mu butale

Added 4th November 2018

Empaka za Bukedde ez’okufumba zikomyewo mu butale

 Nabuuma (wakati mu biddugavu) ne Kazibwe (ku kkono) nga bakutte Tv eyassiddwaawo aba Prestige Margarine egenda okuwangulwa anaasinga banne mu kufumba.

Nabuuma (wakati mu biddugavu) ne Kazibwe (ku kkono) nga bakutte Tv eyassiddwaawo aba Prestige Margarine egenda okuwangulwa anaasinga banne mu kufumba.

EMPAKA z’okufumba eza Bukedde ez’omulundi ogwo kusatu zisabuukuluddwa n’amaanyi era nga ku luno ebirabo ebissiddwawo okuwangulwa byamulembe.

Omukolo ogw’okutongoza empaka z’omwaka 2018 gubadde ku kitebe kya Vision Group nga gwetabiddwaamu abasaale mu kuziteekateeka aba Vision Group, bassentebe b’obutale omuli abanaavuganya omwaka guno n’abavujjiridde empaka zino okuli Pepsi, Prestige Margarine ne Yokuku abakutusaako enkoko ewooma okuzaama.

Empaka z’omulundi guno zigenda kutandikira Najjembe omwezi guno nga 19, Nakasero 20, Wandegeya 22, Mubende 23, Kiteetikka 26, ne Lufula 27 era enteekateeka eno yayanjuddwa Joweria Nabuuma, akulira okuteekateeka ebivvulu bya Vision Group.

Bassentebe b’obutale abeetabye ku mukolo guno ye Gita Jonathan okuva mu katale k’e Wandegeya, Muhammad Nsubuga Lufula, Muzafaru Kizito akulira abawuliriza ba Bukedde Fa Ma mu katale e Nakasero, Muzamir Kezimbira Najembe.

Ku mulundi guno aba Prestige Margarine empaka bazongeddemu ebinnonnoggo bwe bataddewo ttivvi kkumi ze bagenda okugabira abawanguzi buli katale Bukedde gy’egenda okuteeka empaka.

Yayongeddeko nti, abantu ab’enjawulo abanaavuganya buli omu ajja kuvaawo n’ebirabo. Obutale obusatu obwawangula empaka z’omwaka oguwedde kwaliko Lufula, Kiteetikka ne Najjembe era nga ttivvi ezigenda okubaweebwa zaakussibwa mu butale abantu okulabirako ebigenda mu maaso ku Bukedde Tv.

Hope Kuyocwi, kitunzi wa Yokuku yagambye nti baakuwaayo enkoko yonna n’ebirungo ebinaakozesebwa mu kufumba mu mpaka, n’abanaavuganya bye banayambala nga bafumba. Abasazi b’empaka bagenda ku kulirwa Simon Kaheru, Jamira Nameera ne Victoria Nasuuna eyasabye abafumba okugoberera ebikulu ebinaabayamba okuwangula empaka zino

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bugembe ng'abuulira enjiri mu kusabira omugenzi Yiga.

Jjengo tolwana ntalo za kit...

Omusumba w'Ekkanisa ya Worship House e Nansana akubirizza Omusumba w’Ekkanisa ya Revival Christian Church Kawaala,...

Abakuumaddembe nga bakunguzza omuvubuka.

Abaabadde bakola effujjo mu...

Abavubuka abaagenze mu kuziika omugenzi Pasita Yiga Abizzaayo e Kawaala ku Lwomukaaga kyokka ne badda okunoonyeza...

Abatuuze nga basobeddwa mu lusuku lwa munnaabwe olwasaayiddwa.

Abantu ab'ettima basaayidde...

ABANTU ab'ettima abatannaba kutegeerekeka bakakkanye ku lusuku lw'omutuuze Jane Namakula 45, ow'e Kyassenya oluwezaako...

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...