TOP

Taata ow'emyaka 90 abaana bamufunidde omubeezi

Added 4th November 2018

Taata ow’emyaka 90 abaana bamufunidde omubeezi

 Abagole nga bamema oluvannyuma lw’okugattibwa

Abagole nga bamema oluvannyuma lw’okugattibwa

“KYANNUMA okumala ebbanga nga ndaba taata obulwadde bumugonzezza, nga yeefumbira ne yeerimira n’okukola emirimu emirala gyonna ku myaka 90 nga ndaba embeera eno egenda kukendeeza obuwangaazi bwe. Nafuna ekirowoozo nti ssinga abeera afunye omubeezi ayinza okuyambibwa okugonza mu mbeera ne yeeyongerako emyaka emirala ng’akyali ku nsi.

Kyewuunyisa nti, nagenda okufuna ekirowoozo nga naye kye kimuli mu bwongo ekyannyanguyiza okukola ku by’okubateekerateekera embaga n’akuba empeta,” bwatyo Fred Mugambe bw’annyonnyola engeri gye yawasirizza kitaawe omukyala.

Nga bwe bagamba nti, olukula luyonka baana baalwo, enjogera eno etuukira bulungi ku musajja mukulu George Wilson Kulubya abaana gwe baawasirizza omukyala. Kulubya mutaka ku kyalo Kwaba Kabira mu muluka gwa Ssaabagabo Kyanja mu disitulikiti y’e Mpigi. Yayanjudde era n’akuba empeta Juliet Nababi 70, era emikolo gyabwe gyacamudde ekyalo anti kino babadde tebakirabangako.

TAATA YATUSABA OKUMUFUNIRAYO MAAMA Fred Mugambe 73, agamba nti: “Nali nafuna dda ekirowoozo nga njagala okufunira taata omubeezi naye nga nnoonya bwe nkitandika. Lumu mba ndi waka ewange mu Kitunzi e Lungujja taata n’ankubira essimu ng’ampita wabula teyaηηamba kimpisa.

Bwe natuuka e Kabira awaka nasanga baganda bange bonna yabakubidde era nga bali waka ekyasooka okunkangamu nga ndowooza nti oba atuyise kutusiibula agenda kufa. Ekyandeeta akaseko ku matama kwe kuwulira ensonga eyali etukuηηaanyizza n’atutegeeza nti yeetaaga okutufunirayo maama.

Olwawulira bino namugamba kimu nti, taata ontikkudde omugugu kubanga kye kimbadde ku mutwe era ne mmuddamu kimu nti njagala maama waffe tumuleete mu mateeka nga twanjulwa mu bakadde be n’okubatwala mu kkanisa bagattibwe mu bufumbo obutukuvu.

Natandikirawo okukola enteekateeka z’omukolo gw’okwanjulwa n’embaga wabula ate eby’embi kwolwo ate twetemamu ne baganda bange anti ababiri ku ffe baakiwakanya ne bagaanira ddala nti tekisoboka taata okuwasa omukyala omulala era bano kukwanjula ne ku mbaga tebaalinnyayo n’abazzukulu abaali babeera ne taata ne babamubaggyako.

ENTAMBULA Y’EMIKOLO Omukolo gw’okwanjula gwali ku kyalo Nabusanke mu maka ga bakadde ba Nababi era eno abaana tetwawerekera kitaffe wabula yeegattibwako bataka banne n’abeemikwano ne bagenda okwogereza.

ABAALIYO BANYUMYA NTI Era ng’emikolo gy’okwanjulwa emirala bwe gibeera, bwe batuuka ku buko bayingizibwa mu nyumba ne bazaalibwa oluvannyuma ne bafuluma mu kidaala awaali okwanjulira omuko abataka n’abantu abaali bakuη− ηaanye. Nababi yafuluma ennyumba ng’azina bw’awuubira ku bantu wamma ng’azze buto.

Bannyina ba Kulubya baamuwa ekimuli ne bamuwaana n’obugambo obwamuleetera okwemoola nga bw’akuba mwana munne Kulubya oluuso enduulu n’etta abalabi. Kulubya yatwala ebirabo ebiwera omwali ennyama, eby’omu bibbo, omwenge n’ebirala era abakadde ne bakkiriza okumuzaala mu maka gaabwe.

Baamukuutira okumulabirira obutamutuusaako lubale wabula amukuume nga bwe bamumuwadde kye yeeyama okukola. Oluvannyuma lw’emikolo gy’okwanjula, Nababi yasiba kadaali era ne boolekera kkanisa y’omutukuvu Firipo e Nabusanke gye baagattirwa mu bufumbo obutukuvu.

Ebirayiro Kulubya yabikuba atudde mu katebe olw’obunafu naye Nababi n’alayira okumulabirira mu bulwadde ne mu bulamu, mu bwavu ne mu bugagga okutuusa okufa lwe kulibaawukanya n’omwami n’akola kye kimu. Nga bamaze okugattibwa, baayolekera mu maka ga Kulubya awaali wategekeddwa okusembereza abagenyi baabwe era baatuukawo ku ssaawa bbiri ez’akawungeezi wakati mu nduulu y’abatuuze b’oku kyalo.

MAAMA WEEBALE KULABIRIRA TAATA Abaana ba Kulubya abasatu abaaliwo ku mukolo okuli: Fred Mugambe, Gladys Nakkungu ne Grace Nabubiro baasiima nnyaabwe omugole era ne beeyama okukolagana naye.

NALONDA KYAPA MU LINNYA LYANGE - NABABI BW’AYOGERA KU MPETA “Ku myaka gyange 70, mbaddesikyalina ssuubi nti ndikubwa empeta mu bulamu era kino George ky’ankoledde kyamagero kye ndaba ng’omuntu alonze ekyapa mu mannya ge. Omulimu gwe mbadde nkola okuva mu 1970 gwa kusiba bagole era ku kyalo Kabira nze musibi w’abagole nga nsibye abasoba mu 300. Bwe nasooka okukitegeezaako baganda bange baalwawo okukikkiriza okutuukira ddala ku lunaku George lwe yajja okwanjulwa.

ENTANDIKA Y’OMUKWANO GWAFFE Nga tetunnatandika bya mukwano ne George twali tumanyiganye ebbanga ddene emabega.Mu ddya gye nasooka okufumba ew’omugenzi Kulanima Kirigwajjo, baze oyo yali mukwano gwa George ng’amaka gaffe gakolagana bulungi, anti nange mukyala we omugenzi yali yafuuka mukwano gwange

Katonda yatwala baze ate mu kiseera kye kimu ne George munne n’amufaako ne tusigala awo nga buli omu ali yekka naye ata nga tunyumya. Wabula mu kiseera nga baze akyali mulamu, George teyaη− ηambako kigambo kyonna, naye bwe waayita omwaka gumu ng’afudde awo we yatandikira okunsonseka obugambo.

Okuηηamba, aliko omukyala omu gwe yatuma naye nga wa ku kyalo kyaffe era ono olwaη− ηamba ne mmubuuza kimu nti anakkiriza okunkuba empeta kubanga nze kye nsinga okwetaaga. Nnaalongo ono gwe yatuma olwazzaayo amawulire ewa George yamuddamu kimu nti, empeta tagirinaamu buzibu ne ηηamba nti ekirooto kyange kimaze okutuukirira kwe kutandikira awo mpolampola okutuuka olwaleero lw’agenze mu bakadde ne mmwanjula era n’ankuba n’empeta.

Era okusinziira ku kino ky’ankoledde simanyi kya kumusasula naye Katonda n’amala ankolera ekyamagero n’ampa ezzadde ery’abalongo mbeera mmaze. Ebbanga lye namala mu bufumbo ne baze omugenzi saasobola kuzaalayo ku mwana naye bwe mba mmufunye mu George mbeera ηηenda kwebaza nnyo Katonda.

Omwami ono akoze ekyalema baze omugenzi kubanga yansuubiza empeta okuva mu 1963 lwe yampasa okutuuka lwe yafa mu 2010. Nali naguma nti tasobola kuginkuba kubanga aliko omukyala gwe yalina ow’empeta ne mmanya nti okuggyako oli ng’afudde naye eby’empeta ne mbyenenya ate laba bwe zireeta George eyajja nga malayika.”

ABAANA SI BE BANSALIRAWO -KULUBYA Abaana abankyaye olw’okufuna omubeezi tebammalira budde kuba si be bansalirawo. Abaana bano balina emitima egitaagaliza kubanga ku bbanga lye mmaze obw’omu nga tewali n’omu abadde asobola kunfumbira wadde okundabirira mu mbeera yonna, y’ensonga lwaki sisobola kuleka kabiite wange lwa baana.

Oluvannyuma lw’okufi irwa mukyala wange Meere Nalule nasigala mu kiwuubaalo ate nga sirina annyamba kubanga obulwadde bwa puleesa bwandeetera okunafuwa olw’okulemala kale mbadde nga kateeyamba okumala emyaka mukaaga okuva lwe yafa.

Bwe nagenda okwetegereza nga mu bantu be ndaba nga Nababi ambeereddewo nnyo. Omukyala oyo anzijanjabye n’andabirira mu buli mbeera abaana we batabeera kale ne ndaba ng’asaanidde okumbeera okumpi buli kadde kubanga buli lw’abadde abeera nange nga mbeera n’akaseko ku matama ne mmanya nti kirabika ye muntu omutuufu gyendi.

Bwe nafuna ekirowoozo ekimusembeza nakubira abaana bange bonna okuli; Fred Mugambe, Gladys Nakkungu, Nampiima, Yonasaani Kibirango ne Night Namagembe ne mbayita era ne mbategeeza ku nsonga eno.

Wabula kyanneewuunyisa nnyo ate abaana ababiri okundaga nti tebakyagadde era nti tekijja kusoboka. Eky’abaana abamu okumpakanya tekyandeetera kweraliikirira kwonna kuba nali mmaze okusalawo nti ηηenda kuwasa, kwe kukwatagana n’abaakiwagira abaakola enteekateeka ne mbaleetera nnyaabwe omuggya era ndi musanyufu mu kiseera kino.

Omwana omu, Kibirango yali yeeweze okutuusa ku mukyala wange ekikyamu naye namutwala mu kakiiko ka LC ne bamutuuza okumubuuza ky’ayagala. Nze njagala okubakakasa omukyala ono gwe banyiigira si ye yatta nnyaabwe era teyamulinaako kakuku konna.

Sigenda kukola kye baagala kubanga nze nneebeezaawo ne bwe babeera tebalina kye bampadde nja kubeerawo ne mukyala wange ate tweyagale,” Kulubya bw’amaliriza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Angella Katatumba ali mu ki...

OMUYIMBI Angella Katatumba ali mu kiyongobero olwa muyimbi munne Nina Rose okutwala muninkini we, Daddy Andre n’amwanjula...

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...