TOP

Museveni yeetondedde bannaddiini

Added 5th November 2018

PULEZIDENTI Museveni yeetondedde bannaddiini ku ngeri embi abajaasi gye babakwatamu naddala mu bifo Pulezidenti gy’abeera akyadde.

 Ssaabalabirizi Ntagali ng’asembeza Pulezidenti Museveni.

Ssaabalabirizi Ntagali ng’asembeza Pulezidenti Museveni.

Bya MARGRET ZALWANGO NE IVAN MPONYE
 
PULEZIDENTI Museveni yeetondedde bannaddiini ku ngeri embi abajaasi gye babakwatamu naddala mu bifo Pulezidenti gy’abeera akyadde.
 
Museveni okwogera bino yabadde mu kusaba ku Kkanisa ya All Saints e Nakasero n’agamba nti yeetegerezza nnyo engeri abeebyokwerinda nga mulimu n’abakuumi ba pulezidenti aba SFC gye bakwatamu bannaddiini mu ngeri gye yagambye nti
tebaweesa kitiibwa.
 
Yayongeddeko nti waakwongera okutuula n’abakuumi abakola ku mikolo gy’abeera alaze balabe nga bateereza embeera eno abakulu b’eddiini baweebwe ekitiibwa ekibasaana.
 
Mu kusaba okwakulembeddwaamu Rt. Rev. Dr, Sheldon Mwesigwa okuva mu bulabirizi
bwa Ankole, kwabaddeko n’okusonda ssente ez’okuzimba ekkanisa empya, Museveni
yawaddeyo obukadde 50 kwezo obukadde 500 ze yeeyamye okuyamba okuzimba.
Abaana nga bayaayaana okukwata Pulezidenti Museveni mu ngalo.

 

 
Ekkanisa eno esuubirwa okubeera ey’emyaliiro esatu yaakutuuza abakkiriza abasukka
mu 5,000 nga kyetaagisa ssente ezisoba mu buwumbi 40 okumaliriza omulimu guno.
Museveni yayongedde n’asaba bannadddiini okukubiriza abantu okukola babeere ne ssente bakomye okusabirizanga bwe kituuka ku mirimu gy’ekkanisa.
 
Ye Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Stanley Ntagali yeebazizza Pulezidenti okubadduukiriranga buli lwe babeera beetaaga obuyambi era n’asuubiza nti December omwaka guno w’anaggweerako ng’okuzimba kuggyiddwaako engalo.
 
Okusaba kuno kwetabiddwaako Sipiika wa palamenti, Rebecca Kadaga, minisita Evelyn Anite, minisita David Bahati, minisita wa Kampala Beti Olive Kamya, eyali minisita Jim Muhwezi n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo