TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amasannyalaze gasse omwana abatuuze ne banenya UMEME

Amasannyalaze gasse omwana abatuuze ne banenya UMEME

Added 5th November 2018

AMASANNYALAZE gakubye omwana ow’omwaka ogumu ne gamutta.

 Aba UMEME nga basima waya eyayisibwa mu lubalaza e Kanyanya gye buvuddeko. Mu katono ye mwana eyafudde.

Aba UMEME nga basima waya eyayisibwa mu lubalaza e Kanyanya gye buvuddeko. Mu katono ye mwana eyafudde.

Bya MOSES LEMISA NE MOREEN NABWETEME
 
AMASANNYALAZE gakubye omwana ow’omwaka ogumu ne gamutta. Omusango abatuuze bagutadde ku kitongole kya umeme kye balumirizza okukola ebikwekweto
n’ekigendererwa ky’okunoonya ssente so si kuvunaana bagabba.
 
Bino byabadde mu Kiganda Zooni e Kawempe. Omwana eyafudde ye Steven Umarrwoth mutabani wa Walter Umarrwoth 24. Ono abadde yaakamala ennaku ssatu
ng’asenze mu kitundu kino.
 
Amasannyalaze we gaakubidde omwana, nnyina yabadde wabweru. Mu nnyumba mwabaddemu soketi eteri mbikkeko.
 
Gye buvuddeko aba Umeme nga bakulemberwa Christopher Muhwezi, akulira ebikwekweto by’ababba amasanyalaze mu Kawempe baakwata abamu ku bagambibwa okubba amasannyalaze nga bano baabaggya Kyebando.
 
Muhwezi yalaga zooni ezibba amasannyalaze okuli Kizza, omuluka gwa Makerere III gwonna, Bwaise, Kyebando, Mulago, Mpereerwe, Kisenyi, Kanyanya n’ebirala n’asaba abatuuze okugenda ku Umeme bafune amasannyalaze ga YAKA kuba gali ku
ssente ntono.
 
Richard Kato Ssemakula omu ku batuuze yategeezezza nti aba umeme be basibye
obubbi bw’amasannyalaze mu Kawempe nga bano balina bakamyufu be bakolagana nabo okubasolooleza ssente mu bantu ng’era abamu balina n’obuyumba omuli ebyuma
bye bakozesa okuteekako n’okuggyako amayumba agaba gagaanyi okusasula mu budde.
 
Yayongeddeko nti e Kawempe enju ogisasula yokka ng’avunaanyizibwa ku masannyalaze mulala. Omuzigo ogusulwamu osasula 10,000/- ate ow’edduuka asasula 20,000/- okudda waggulu kye yagambye bino byonna aba Umeme babimanyiiko.
 
Omwana eyafudde waakuziikibwa e Zombo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bugembe ng'abuulira enjiri mu kusabira omugenzi Yiga.

Jjengo tolwana ntalo za kit...

Omusumba w'Ekkanisa ya Worship House e Nansana akubirizza Omusumba w’Ekkanisa ya Revival Christian Church Kawaala,...

Abakuumaddembe nga bakunguzza omuvubuka.

Abaabadde bakola effujjo mu...

Abavubuka abaagenze mu kuziika omugenzi Pasita Yiga Abizzaayo e Kawaala ku Lwomukaaga kyokka ne badda okunoonyeza...

Abatuuze nga basobeddwa mu lusuku lwa munnaabwe olwasaayiddwa.

Abantu ab'ettima basaayidde...

ABANTU ab'ettima abatannaba kutegeerekeka bakakkanye ku lusuku lw'omutuuze Jane Namakula 45, ow'e Kyassenya oluwezaako...

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...