TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abayizi 671,923 be batudde ebigezo bya P7 ebitandise leero

Abayizi 671,923 be batudde ebigezo bya P7 ebitandise leero

Added 5th November 2018

OLWALEERO abayizi ba P7 batandise okukola ebigezo byabwe eby’akamalirizo nga batandise n’ekigezo ky’okubala ate olweggulo baakukola ekigezo kya SST ne Religious Education.

 Abayizi nga bakola ebigezo

Abayizi nga bakola ebigezo

Bya EDWARD LUYIMBAAZI
 
OLWALEERO abayizi ba P7 batandise okukola ebigezo byabwe eby’akamalirizo nga batandise n’ekigezo ky’okubala ate olweggulo baakukola ekigezo kya SST ne Religious Education.
 
Akulira ekitongole kya UNEB, Daniel Odongo yagambye nti we bwazibidde eggulo ng’ebibuuzo byatuuse dda mu bifo byonna 316 ebiri ku disitulikiti ez’enjawulo.
 
Mu bifo ebyo we babiggya okubitwala mu masomero n’ebifo ebiwera 13,072
abayizi we bagenda okutuulira PLE okwetooloola eggwanga lyonna.
 
Odongo agambye nti tebeetaaga bantu bonna kutaataaganya bayizi bagenda kutuula bibuuzo bino, era n’asaba abazadde n’abasomesa okuleka abayizi bano okukola obulungi ebibuuzo byabwe mu mirembe.
 
Alabudde omuntu yenna anaakwatibwa ng’agezaako okugulirira abantu abateereddwaawo okukuuma ebibuuzo nga bwe bajja okumukolako nga
bayita mu mateeka agaateekebwawo okukangavvula abeera yeenyigidde mu muze guno era n’asaba n’abo abagenda okukuuma ebibuuzo obutakemebwa
kukkiriza nguzi.
 
Odongo yagambye nti mu buli kifo awaterekeddwa ebibuuzo wamu ne ku masomero abayizi gye babituulidde balondoolayo okulaba ng’abayizi bakola bulungi ebibuuzo byabwe.
 
Ate ye omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Emilian Kayima yagambye nti bayungudde abaserikale abagenda okuyambako ekitongole kya UNEB okutambuza n’okukuma ebibuuzo mu buli kitundu gye byetaagibwa.
 
Agumizza abazadde n’abasomesa nga bwe bali abeetegefu okuyambako UNEB ssinga efuna obuzibu mu kutambuza ebibuuzo naddala mu kiseera ky’enkuba eno etonnya
n’agamba nti bategese ebidduka bya poliisi eby’enjawulo ebisobola okuyingirawo okutaasa ssinga ekizibu kino kibeera kiguddewo nga bino kuliko emmotoka, amaato wamu n’ennyonyi.
 
Asabye abazadde n’abasomesa okwewala okwenyigira mu muze gw’okubbira abayizi ebibuuzo kubanga bagenda kubeera bakotoggedde abayizi ssinga bakwatibwa.
 
Abayizi 671,923 be batudde ebigezo bya P7 mu bifo 13,072 okwetooloola eggwanga lyonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.

Ekibalo ky'okulima ennyaany...

ENNYAANYA kireme ekyettanirwa abangi olw’okuba kikula mangu ate nga kirina akatale okutandikira ku bantu b’okukyalo...

Basajjabalaba

Ebyapa Basajjabalaba by'ali...

EBYAPA omugagga Haji Hassan Basajjabalaba bye yafuna ku ttaka lya Panda PL e Luzira, bisattiza abatuuze nga bagamba...

Abatuuze nga bagezaako okuzikiriza omuliro

Omuliro gwokezza amayumba 1...

ABATUUZE b’e Kawaala bali mu maziga olw’omuliro ogugambibwa okuva ku masannyalaze okusaanyaawo amayumba agawera...

Abakozi ba Imperial Royale ...

ABAKOZI ba wooteeri ya Imperial Royale bavunaaniddwa okujingirira ebiwandiiko n’okufiiriza gavumenti ya Uganda...