TOP

ISO ezingizza ababbi b'emmotoka n'ekwatako 2

Added 5th November 2018

EKITONGOLE ky’amagye ekiketta munda mu ggwanga ekya ISO kizingizza ekikomera ekigambibwa nti ababbi b’emmotoka mwe beekweka ne kikwatako babiri ne battottola engeri gye bakaabizzabannannyini mmotoka mu Kampala.

 Kimera (ku kkono) ne Odongo.

Kimera (ku kkono) ne Odongo.

Bya MARGRET ZALWANGO
 
EKITONGOLE ky’amagye ekiketta munda mu ggwanga ekya ISO kizingizza ekikomera ekigambibwa nti ababbi b’emmotoka mwe beekweka ne kikwatako babiri ne battottola engeri gye bakaabizzabannannyini mmotoka mu Kampala.
 
Ssaawa zaabadde 9:00 ez’ekiro ekyakeesezza Olwomukaaga aba ISO ne bazingako ekikomera omuli ennyumba eya kalina ezimbibwa mwe baakwatidde abavubuka
babiri be baludde nga balondoola ku bubbi bw’emmotoka.
 
Baasanze baakayingizaayo emmotoka ekika kya Noah kapyata gye babbye mu galagi ekiro ekyo.
 
Bino byabadde mu zooni y’e Kaabuuma mu minisipaali ya Makindye Ssaabagabo mu distulikiti y’e Wakiso, gye baakwatidde bavubuka babiri n’emmotoka ekika kya Noah nnamba UBB 882F gye babbye mu galagi emu.
 
Abaakwatiddwa ye Daniel Odongo nga yeeyita Magezi enzaalwa y’e Alebtong nga yasoma bya kukanika mmotoka era yategeezezza aba ISO nti mu galagi mwe yayigira okuvulumula emmotoka ku sipiidi eya waggulu.
 
Odongo yakwatiddwa ne Shafik Kimera omutuuze w’e Namungooona nga baasangiddwa mu nnyumba eri mu kikomera mwe babadde babeera wadde
ng’ebadde ekyazimbibwa.
 
Abavubuka bano baagambye nti baludde mu mulimu gw’okubba emmotoka era tewali mmotoka ebalemerera bwe baba bagyagadde.
 
Beewuunyisizza abajaasi bwe baategezezza nti mu Uganda temuli mmotoka ebalema kutwala nga n’ezirimu obuuma obulondoola emmotoka (tracker) bazitwala nga nnyiniyo tategedde.
 
Odongo yattottodde nti yatandika okubba mmotoka ku ntandikwa ya 2017 nga bakolera wamu mu kibinja n’ayongerako nti mu kiseera kino tamanyi muwendo gwa mmotoka ze yaakabba.
 
Yagambye nti emmotoka ze basinga okutwala zibeera za buyonjo omuli noah, Prado, Premio wadde nga wiiki ewedde balina takisi kigege gye baatutte, wabula bettanira nnyo enkola empya ku katale.
 
Bazitwala Kenya nga bayita ku nsalo e Busia we basanga bannaabwe
abalala olwo ne bayingira Kenya. Wakati mu kubuuzibwa, kyazuuliddwa nti Odongo abaddde yaakava mu kkomera lya Murcshion Bay e Luzira gy’abadde yaggalirwa
ku misango gy’okutomera omuntu nga kigambibwa nti era yali avuga mmotoka enzibe
ng’agivuga ku sipiidi eya waggulu.
 
Baayongeddeko nti emmotoka bwe bamala okuzibba baziyingiza ekikomera mwe basula olwo ekiro ne basimbula okuzitwala e Kenya nga tewali abakuba ku mukono.
 
Mu wiiki baagambye nti batwala mmotoka ezitakka wansi wa mukaaga, olwo
buli mmotoka gye batwala ne baweebwa omutwalo gw’e Kenya.
 
Baagambye nti e Kenya bazitwalira Joseph Buruuli gwe baakazaako erya “Jose” ng’ono olumu bamusanga Busia ne bakyusa ennamba za mmotoka ne bassaako eza Kenya bwe kiba kyetaagisizza, kyokka olumu nti bazivugira ku nnamba za Uganda ne batakyusa okutuuka e Kenya.
 
Okukwata abasajja bano aba ISO bagamba nti baludde nga babalondoola oluvannyuma
lw’okukwatibwa kw’abamu ku baali mu kibinja kyabwe okuli Wilson, Edgar Kiyemba n’abalala.
 
Mu nnyumba baasangiddwaamu ne munnaabwe Marks Kizito era ono yeemuludde n’adduka nga kigambibwa nti ono mutabani wa nnannyini kalina mwe babadde babeera, era kigambibwa nti nnyiniyo abeera bweru wa ggwanga.
 
Omu ku batuuze abaliraanyeewo yagambye nti buli lunaku bawulira emmotoka eziyingira mu kikomera ekyo kyokka babadde tebamanyi nti mulimu abantu abasulamu nga balaba kalina ekyazimbibwa ng’ate ne ggeeti ebeera nzigale buli kiseera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Munnamateeka wa Kyagulanyi, Sseggona (wakati) ng’awayaamu n’omuwandiisi wa NUP, , Lubongoya  (ku ddyo) ku kkooti .

Buubuno obukwakkulizo gavum...

GAVUMENTI eyagala Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alangirire nti tagenda kwetaba mu bikolwa bya kwekalakaasa...

Abantu nga balwana okutaasa ttaanibboyi eyabadde alaalidde mu byuma.

Ensiitaano y'okutaasa ttani...

POLIISI n'abadduukirize kyabatwalidde essaawa 11nnamba okutaasa ttanibboyi Abdu Sserunjogi ebyuma by'emmotoka gwe...

Loodi Meeya Lukwago.

Lukwago anaakolagana atya n...

MUNNAMATEEKA Erias Lukwago 50 asuubirwa okulayizibwa mu wiiki esooka eya June 2021 okutandika ekisanja ekyokusatu...

Kasasiro asuulibwa mu myala ne gizibikira.

15 beesowoddeyo okugonjoola...

ABEESOWODDEYO 15, banaasobola okumalawo ebizibu ebitawaanya abantu ba Kyengera Town Councli ebiremye Abdul Kiyimba?...

Rogers Mulindwa

'Manifesito ya NRM ebyemiza...

ROGERS MULINDWA - OMWOGEZI WA NRM Nsooka okwebaza bannabyamizannyo olw'obuwagizi era njagala okubagumya nti...