TOP

KCCA emenye emidaala gy'abasuubuzi mu Kampala

Added 6th November 2018

EKITONGOLE kya KCCA nga kiyambibwako poliisi kikoze ekikwekweto mwe kigobedde abasuubuzi bonna ababadde bakolera ku nguudo ne mu bifo ebitakkirizibwa.

 Owa KCCA ng’amenya ekimeeza ky’omusuubuzi.

Owa KCCA ng’amenya ekimeeza ky’omusuubuzi.

Bya ERIA LUYIMBAZI NE LAWRENCE MUKASA
 
EKITONGOLE kya KCCA nga kiyambibwako poliisi kikoze ekikwekweto mwe kigobedde abasuubuzi bonna ababadde bakolera ku nguudo ne mu bifo ebitakkirizibwa.
 
Ekikwekweto kino kyakoleddwa eggulo oluvannyuma lw’ekitongole kya KCCA okuyisa okulabula eri buli akolera mu bifo ebikyamu ne ku nguudo okubyamuka bunnambiro.
 
Abaserikale ba KCCA nga bali ne poliisi ekkakkanya obujagalalo basookedde ku katale k’e Nakasero we baagobedde abasuubuzi ababadde batadde ebintu ku nguudo. Beeyongeddeyo ku ppaaka enkadde n’awalala.
 
Ku ppaaka enkadde aba KCCA baamenye ebimeeza n’emidaala abasuubuzi gye babadde batundira n’amatundubaali ge baagiseresa ne bagayuzaayuza ne babalagira okuggyawo emmaali yaabwe amangu ddala nga ssinga tebakikola banaawulira ekinaava mu y’ebiraka.
 
Akulira poliisi ya KCCA, Kituuma Rusoke eyakulembeddemu ekikwekweto yagambye nti, okukikola kiddiridde abatembeeyi n’abasuubuzi okuddamu okweyiwa ku nguudo ate nga bakolera mu bifo ebatakkirizibwa ekireeta omugotteko mu kibuga.
Abasuubuzi nga bawanise emmaali yaabwe ku kizimbe okugitaasa aba KCCA.

 

 
“Okukikola twasooka kulabula bantu bano enfunda eziwera ne tubasaba bave mu bifo wabula ne bagaana okugondera amateeka naffe ku kukyusa mu nkuba” Kituuma bwe yategeezezza.
 
Yagasseeko nti, ebikwekweeto bino bikyagenda mu maaso okusobola okukwasisa amateeka agafuga ekibuga okulaba nga tewali atundira by’amaguzi ku nguudo kuba baagala abantu abali mu maduuka bakole basobole okufuna ensimbi ezisasula emisolo, egirabirira ekibuga okuli layisinsi n’emisolo emirala.
Abakolera mu bizimbe basasula ssente z’obupangisa nnyingi nga balina okuweebwa omwagaanya okukola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...