TOP

Stella Nyanzi bamutwala mu kkooti

Added 7th November 2018

Stella Nyanzi bamutwala mu kkooti

 Stella Nyanzi

Stella Nyanzi

POLIISI etegeezezza nti yadde Dr. Stella Nyanzi akyagaanyi okukola sitetimenti, balina obujulizi obumala okumutwala mu kkooti okumuggulako omusango.

Omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekibuuliriza ku misango, Vincent Ssekate yagambye nti ekya Nyanzi okugaana okukola sitetimenti ng’agendera ku biragiro bya balooya be tekimuyinula kubanga obujulizi bwe balina ne bw’aba takoze sitetimenti bumala.

Nyanzi akuumibwa ku SIU e Kireka oluvannyuma lw’okukwatibwa poliisi y’e Wandegeya wiiki ewedde gye yali agenze okusaba obukuumi mu kwekalakaasa kwe yali ategeka olwa yunivasite e Makerere okugaana okumuzza ku mulimu so ng’akakiiko kaawuliriza ensonga ze ne kasalawo nti baali baamugoba mu bukyamu ne kalagira adde ku mulimu.

Nyanzi ekyamukwasizza by’ebigambo bye yateeka ku mukutu gwe ogwa “Facebook” ng’avuma Pulezidenti Museveni ebigambo ebiwemula nga mw’atadde n’okuyingizaamu nnyina (maama wa Museveni).

Kinajjukirwa nti Nyanzi akyalina omusango omulala ku kkooti ya Buganda Road ng’era gwekuusa ku kuvuma pulezidenti Museveni bwe yamugeraageranya ku butuuliro.

Omusango guno gwayimirizibwa nga bwe balindirira kkooti ya Ssemateeka okusalawo oba nga etteeka lya Mental Treatment Act gavumenti lye yali yeesigamako okusaba Nyanzi atwalibwe e Butabika akeberebwe oba omutwe gwe gukola bulungi terityoboola ddembe ly’abantu olw’ensonga nti lyabagibwa mu biseera bya bafuzi b’amatwale.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...