TOP

Dr. Nyanzi awemudde omulamuzi n'amusiba

Added 8th November 2018

Dr. Nyanzi awemudde omulamuzi n’amusiba

 Stella Nnyanzi

Stella Nnyanzi

DR. Stella Nyanzi avudde mu kuwemula nadda mu kwesittazza abantu. Teyafunye kutya kwonna nti ali mu maaso ga mulamuzi, bwe yamokkodde agagambo kkooti n’efa ekitiibwa.

Yabadde ng’eyeesasuza omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road, Esther Nahirya okumugamba nti agenda kumusindika e Luzira okutuusa ku Lwokutaano lwa wiiki eno kubanga si y’ateekeddwa okuwulira omusango n’atandika okuwemula n’omulamuzi neyeekanga.

Baabadde bamusomera emisango egimusibisizza mu Luzungu n’agamba nti, ebigambo ebimu nga “Vaginal Canal sibitegeera nsaba mubinkyusirize mu Luganda. Omuwandiisi wa kkooti yazzeemu okumusomera mu Luganda bwe yatuuse ku kigambo ‘Vaginal Canal’ n’agamba nti ebitundu by’ekyama.

Nyanzi yabadde ng’alabye ku ndaba ku ki. Yawogganidde waggulu nti, “ssebo lekeraawo okulumaaluma mu bigambo nze ndi Nnaalongo mulamba ebyo tebabiyita bitundu bya kyama wabula babiyita... (n’akubawo eggambo eddene). “ Nnyabo ow’ekitiibwa ebigambo mubyogere nga bwe biri ntegeere bulungi kubanga ebitundu by’ekyama kitegeeza ebintu bingi.

Mmaze ennaku ttaano ku poliisi nga mbasaba bantegeeze omusango ogwankwasa naye tebaakikola. Ssinga baguntegeeza sandibateganyizza kubasaba kunnyinnyonnyola bigambo mu Luganda,” Nyanzi bwe yategeezezza.. Kkooti yonna yawuniikiridde omulamuzi Nahirya n’amutunuulira mu ntunula erengezza era eyeewuunya nga takikkiriza nti Nyanzi amuwemulidde mu maaso g’abantu.

Nyanzi yagenze mu maaso nga bw’ayogera naye nga takoma ku kya kukubawo gagambo ganene omulamuzi n’amutunuulira butunuulizi okutuusa bwe yeekomyeko n’amugamba nti “ow’ekitiibwa nkomye awo”.

Abantu abaabadde mu kkooti baasoose ne baseka nga Nyanzi akubawo agagambo naye nabo kyabayitiriddeko ne bamutunuulira. Omuwandiisi wa kkooti eyabadde amukyusiza ebigambo okubizza mu Luganda yamukase okuyita ebitundu by’ekyama mu ngeri ye Nyanzi gye yabadde ayagala biyitibwe olwo Nyanzi n’akkakkana nga bw’aseka.

Looya we Isaac Ssemakadde naye yabaddewo nga Nyanzi awemula naye n’alemwa okumukkakkanya ng’agamba kimu nti kkooti yeerina okunenyezebwa olw’engeri gy’ekolamu emirimu gyayo.

Mu 2016, Nyanzi bwe yali avunaanibwa omusango gw’okulengezza Museveni bwe yamugeraageranya ku butuuliro, Gavumenti yasaba atwalibweko mu ddwaaliro e Butabika bamukebere oba omutwe gwe gukola bulungi olw’ebigambo ebinene n’enneeyisa ye kyokka yagenda mu kkooti etaputa Ssemateeka n’awakanya eky’okumutwala e Butabika era omusango tegunnaggwa.

Ku mulundi guno omusango ogwamusibizza gwabaddemu n’okuwemula maama wa Museveni omugenzi Esteri Kokundeka nga yeeyambisa omukutu gwa “Facebook”. Ebigambo ebivuma nnyina wa Museveni Nyanzi yabiwandiika nga September 16, 2018 bwe yali ayozaayoza Museveni okutuuka ku mazaalibwa ge n’agamba nti ssinga ebitundu by’ekyama ebya maama wa Museveni byayokebwa nga Museveni akyali mu lubuto n’atazaalibwa!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abantu nga babuuza ku Amuriat.

Amuriat abuuzizza ku balonz...

PATRICK Oboi  Amuriat (POA) eyeesimbyewo ku bwa pulezidenti owa FDC   ayolekera Kabale naye asoose  ku ssundiro...

Ambassador Mugoya (ku ddyo) minisita Okello oryem, Dr. Ahmed Ssengendo ne  BIruma Sebulime.

Dr. Ahmed Ssengendo alonded...

Olukungaana olw'ekibiina ekitwala amawanga g'Abasiraamu mu nsi yonna (OIC) olw'omulundi ogwa 47 lutudde mu kibuga...

Kasasa ng'ali mu ddwaaliro e Masaka.

Kasasa ebbanja lw'eddwaalir...

Omuyimbi Disan Kasasa adduse ku kitanda ayimbire Mukasa awone ebbanja ly'eddwaaliro. Omuyimbi ono era omuzannyi...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka e Sironko gye yasisinkanidde abakulembeze ba NRM okuva e Sironko ne Bulambuli ku ssomero lya Masaba SSS.

Museveni asuubizza okuyamba...

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okussa mu bajeti y'eggwanga ssente ez'okudduukirira abasuubuzi ne bannannyini bizinensi...

Bobi wine ng'atambula n'abawagizi be e Nakasongola.

Abawagizi ba Bobi Wine aban...

Bobi Wine n'abawagizi batabuse ne poliisi oluvannyuma kw'okubawa ekifo ekyewala okukubiramu kampeyini olubigaanye...