
ENKUBA egoyezza ekitundu ky’e Kabingo mu ggombolola y’e Kyazanga mu disitulikiti y’e Lwengo n’ereka abatuuze nga tebalina kyakulya. Ebitooke, kasooli, ebijanjaalo, ebinyeebwa, kawo, muwogo, lumonde n’ebirala byonna byayonoonese olw’omuzira ne kibuyaga.
Abamu ku baakoseddwa kuliko, Irene Mashamba 86, Geofrey Kaganda 75, Brain Butalabeho 68, Felemon Mugisha 50, Oliva Nabukalu 48 n’abalala. Abatuuze baasabye abazirakissa okubataasa nga babawa emmere n’ensigo kubanga bandiremererwa okuliisa famire zaabwe.