TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bayingidde mu butakkaanya bw'Abadiventi ne Nantaba

Bayingidde mu butakkaanya bw'Abadiventi ne Nantaba

Added 8th November 2018

Bayingidde mu butakkaanya bw’Abadiventi ne Nantaba

OBULABIRIZI bw’Ekkanisa y’Abadiventi obutwala amasekkati ga Uganda (Central Uganda Conference) buyingidde mu butakkaanya wakati wa bammemba b’ekkanisa y’e Bukolooto mu disitulikiti y’e Kayunga, n’omubaka wa Palamenti omukazi ow’ekitundu ekyo, Idah Nantaba, obuva ku mizindaalo egyabatoneddwa ssentebe wa Muvumenti mu kitundu kye kimu, Moses Karangwa.

Ku Lwomukaaga oluwedde, ebbiina ly’abayaaye erigambibwa okukolera ku biragiro bya Nantaba lyazinze ekkanisa eno ng’okusaba kwakaggwa ne limenya ppata z’enzigi ne liwamba emizindaalo kyokka poliisi n’egibaggyako n’egitereka.

Poliisi yakutte Ali Mujomba, ayokya ebyuma e Kayunga, agambibwa okukulira ebbiina eryazinze Abadiventi n’aggulwako omusango gw’okumenya ekkanisa n’okumalako abantu eddembe ly’okusinza.

Ono yasindikiddwa ku limanda e Ntenjeru okumala ebbanga lya wiiki bbiri. Omulabirizi Samuel Kajoba yakkirizza bwe baayingidde mu nsonga zino n’ekigendererwa ky’okutabaganya abagoberezi ne Nantaba. “Nasindise omusumba Ssennuuni atuule mu nsonga zino n’abakadde b’ekkanisa eno era nninze lipoota ye,” Kajoba eyagambye nti yabadde ava ku mirimu gy’ekkanisa e Ssembabule bwe yategeezezza.

Omusumba Daniel Ssennuuni y’akulira Abadiventi e Mukono, Kayunga ne Buikwe (East Buganda Region). Ensonda mu bakadde b’ekkanisa eno zaategeezezza nti Obulabirizi bwalagidde omusumba w’e Kayunga, Patrick Kiweewa akole nga bw’asobola okuwooyawooya abakadde b’ekkanisa y’e Bukolooto baggye omusango ku poliisi olwo bwo bulabe bwe bubatawulula ne Nantaba, kiwonye Obwadiventi bwonna okuswala.

Wabula kino kinyiizizza abagoberezi nga baagala Omulabirizi yennyini y’aba ajja abatangaaze oba Katonda agaana atali wa kkanisa yaabwe okubatonera. Nga October 20, Karangwa yatonera ekkanisa y’e Bukolooto emizindaalo ekyanyiiza Nantaba nti tayinza kukkiriza kintu kyonna ekivudde ew’omuntu bwe bali akabwa n’engo, okuyingira mu kkanisa gye yakola ennyo okuzimba.

Abadiventi nabo baalinnya mu kyoto nga bagamba nti tebaagala Nantaba kuyingiza byabufuzi mu kkanisa yaabwe ne bongerako nti si y’abategeerera kuba n’ekisooka wadde naye Mwadiventi, obwammwemba buli mu kkanisa ndala eya Makerere Adventist Centre.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...