TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Uganda egenda kutuuza ''CHOGM'' omulala omwaka ogujja.

Uganda egenda kutuuza ''CHOGM'' omulala omwaka ogujja.

Added 9th November 2018

Uganda egenda kutuuza ''CHOGM'' omulala omwaka ogujja.

UGANDA egenda kutuuza olukiiko olugatta palamenti z’amawanga agali mu luse olumu ne Bungereza oluvannyuma lw’okumala emyaka egisoba mu 50 nga terutuuza.

Olukung’ana lusuubirwa okutuula e Munyonyo era ababaka ba palamenti abava mu mawanga gano bajja kufuna omukisa okulambula ebitundu bya Uganda ebitali bimu bye banaaba basiimye.

Sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga bino yategeezezza akakiiko akafuzi ak’ekibiina ekigatta palamenti z’amawanga agali mu luse olumu ne Bungereza olwa ‘Common Wealth Parliamentary Conference,okusinziira ku kiandiiko ekyafulumiziddwa palamenti ya Uganda.’

Yagambye nti akakiiko akategesi kassiddwawo palamenti ya Uganda okulondoola enteekateeka nga bwe  zinaatambula. Uganda yakoma okutegeka olukung’ana bwe luti mu 1967.

Kyokka mu nsisinkano ya sipiika n’abakulira akakiiko akafuzi aka palamenti y’amawanga agali mu luse olumu ne Bungereza olwabadde mu Westminister  yagambye nti ebintu bingi ebigenze bikyuka mu Uganda kyokka eky’abantu baayo okuba nga bamanyi okwaniriza abagenyi kikyaliwo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...