TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusumba Lwanga abuulidde Museveni ebiruma abantu

Omusumba Lwanga abuulidde Museveni ebiruma abantu

Added 11th November 2018

Omusumba Lwanga abuulidde Museveni ebiruma abantu

 Pulezidenti (wakati) Bp. Lwanga ( ku kkono) ne Bp. Odama nga basala kkeeki.

Pulezidenti (wakati) Bp. Lwanga ( ku kkono) ne Bp. Odama nga basala kkeeki.

SSAABASUMBA Cyprian Kizito Lwanga abuulidde Pulezidenti Museveni embeera abantu gye bayitamu omuli, obutabanguko mu maka obuvuddeko okutabula emirembe, obumenyi bw’amateeka, ettemu n’ebirala.

Olw’amaze okubimutegeeza n’amutendereza okuzza emirembe mu ggwanga n’okugikuuma. Yabadde ku mukolo yunivasite ya Uganda Martyrs e Nkozi bwe yabadde ejaguza emyaka 25 bukya etandikibwawo ne yeebaza Museveni olw’obuyambi bw’awa enzikiriza ez’enjawulo mu ggwanga.

Yamusabye abakwatizeeko okuzimba ekizimbe ekipya ku ttendekero e Lubaga n’okubayamba okuzimba ekifo awatuukira abagudde ku kabenje mu ddwaaliro ly’e Nkozi.

Pulezidenti yennyamidde olw’amatendekero ga Gavumenti ge yagambye nti gamala gasomesa abayizi ne bamalirizza nga tebasobola kwetandikirawo mirimu n’atendereza amatendekero g’obwannannyini olw’okusomesa abayizi okwetandikirawo emirimu n’okubeera abayiiya.

Yagambye nti essira asoose kulissa ku kuzimba nguudo, okubunyisa amasannyalaze n’okutumbula ebyobulamu ng’agenda kitandika ku byenjigiriza. Yabawadde obukadde 400 ziyambeko okuzimba ekizimbe eky’ekijjukizo ky’ettabi lya yunvasite e Lubaga ate n’ateeka n’obukadde 100 mu SACCO y’abayizi abaasomerako mu ttendekero lino ziyambe mu kukulaakulanya pulojekiti ya Equator.

Museveni yeebazizza abaatandikawo yunivasite eno nga bakulemberwa omugenzi Kalidinaali Nsubuga, Kalidinaali Wamala n’abalala olw’okussa ettafaali ku byenjigiriza n’abasuubiza nti waakubawa obuyambi obw’enjawulo ku matendekero amalala.

Ssaabasumba w’e Gulu, John Baptist Odama yeebazizza Museveni olw’okuzimba enguudo naddala oluva e Kayabwe okudda ku yunivasite y’e Nkozi n’amusaba abayambeko ne ku luguudo oluva e Nkozi okudda e Bulo mu Butambala, nalwo balukube kkolaasi.

Akulira yunivasite eno, Polof. John Chrysostom Maviiri yeebazizza Gavumenti okukkiriza yunivasite z’obwannannyini okubangula abayizi nga tewali abakuba ku mukono.

Yeebazizza n’obuyamba bwa ssente bwe bafuna okuva mu bbanka y’Ensi Yonna era n’amusuubiza okukuuma omutindo gw’ebyenjigiriza nga guli waggulu.

Yagambye nti bakunyweza ebigendererwa bya Klezia ebyatandisaawo yunivasite eno nga basomesa okukuuma obutonde bw’ensi okukulembeza ebyobulimi kiyambeko okutumbula embeera z’abantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

Aba NUP si bamativu ku miso...

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku misolo emipya egiteekebwateekebwa gavumenti...

Zaake ng'ayogera e Kamwokya.

Omubaka Francis Zaake awera

Omubaka Francis Zaake akiikirira munisipaali y'e Mityana era nga ye mukulembeze w'abavubuka mu NUP, alojjedde Bannakibiina...

Kayongo ng'annyonnyola.

Nkyali mukulembeze w'akatal...

Abadde ssentebe w'akatale ka St.Balikuddembe, Godfrey Kayongo ategeezeza nti akyali mukulembeze w'abasuubuzi b'ekibiina...

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Bakoze ekyuma ekifuyiira n'...

Abakugu mu bya tekinologiya okuva mu ggwanga lya Romania nga bali wamu n'ab'ekitongole kya Good Care baliko ekyuma...