TOP

Bannakatemba bakungubagidde Kitaamirike

Added 11th November 2018

Bannakatemba bakungubagidde Kitaamirike

 Omugenzi Kitaamirike

Omugenzi Kitaamirike

BANNAKATEMBA beeyiye mu maka ga munnaabwe, Dick Kitaamirike abadde amanyiddwa nga Nadduli okumukungubagira n’okusiima emirimu gy’alese akoze mu kisaawe kya katemba.

Omulambo gwa Nadduli gwatwaliddwa mu maka ge e Masooli, nga guggyibwa mu ddwaaliro gye gubadde gukuumirwa okuva lwe yafa nga bakyalinda abamu ku b’eηηanda okuva ebweru. Ku Lwokutaano nnamwandu w’omugenzi, Milly Namukasa yatuuse okuva mu Bungereza gy’abeera okuziika ku bba.

Nadduli eyafi iridde ku myaka 67 yaziikiddwa ku Lwomukaaga ku biggya bya bajjajjaabe e Namulonge. Abadde azannyira mu kibiina ekiyitibwa Ssuubi Entertainment ekikulirwa Ashiraf Ssemwogerere ng’omuzannyo gwabwe gumaze ebbanga nga gulagibwa ku Bukedde TV.

Bannakatemba baayogedde ku Nadduli ng’omuntu abadde n’ekitone eky’amaanyi, era alese atadde ettofaali ddene ku katemba mu Uganda ng’ayita mu kuzannya emizannyo egiyigiriza abantu n’okubasanyusa.

Nadduli katemba amumazeemu emyaka egisukka mu 40 era nga mwe baalabaganira ne mukyala we Milly ye nga yali azannyira mu kibiina kya The Theatricals. Nadduli yafi iridde mu ddwaaliro e Kiruddu oluvannyuma lw’okulumbibbwa obulwadde bw’okusannyalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...