
Abooluganda abalumirizza Ssekate okutwala ettaka lyabwe.
ABOOLUGANDA abalumirizza omwogezi w’ekitongole ekikwasisa empisa mu poliisi,Vincent Ssekate okubanyagako ettaka basabye ab’obuyinza okubayamba ensonga zaabwe zitunulwemu.
Nga bakulembeddwaamu Wilberforce Kityo Kaweesa ne Robinah Nalumansi ab’e Kisanjufu mu ggombolola y’e Kyampisi mu disitulikiti y’e Mukono bagamba nti ettaka lyabwe eryabanyagibwaako liweza yiika 19. Bagamba nti ettaka lino lyabaweebwa kitaabwe omugenzi Christopher Ssempa mu 2005, kyokka beewuunya okulaba nga Ssekate alina ekyapa kye yafuna mu 2015 newankubadde ng’ettaka lino libaddeko envumbo.
Bagamba nti ebiwandiiko bya Ssekate biraga nti ettaka yaligula ku Miriam Nabulya muwala wa Yonasi Magoba, nga bakitaabwe baali ba mukwano. Bagamba nti newankubadde Ssekate amanyi amateeka kyokka yagenda mu maaso n’okugamenya. Bagamba nti ensonga baazitwala mu kkooti kyokka tebannaba kufuna kuyambibwa.
Ssekate bwe yabuuziddwa yagambye nti talina ky’ayinza kwogera ku nsonga eziri mu kkooti. Bagamba nti Nga August 28, 2015, Ssekate yatwala abaserikale ne batandika okupima ettaka era bwe baagezzaako okubalemesa ne babagoba nga waliwo muganda waabwe eyagwa n’alumizibwa.
Kityo agamba nti Ssekate ettaka teyalifuna mu makubo matuufu, kubanga ekyapa kya kitaabwe yakifuna mu 1971. Basaba Pulezidenti abataase babaddize ettaka lyabwe.