TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Basabye kaliisoliiso ayingire mu bya nayikonto ezitakola

Basabye kaliisoliiso ayingire mu bya nayikonto ezitakola

Added 11th November 2018

Basabye kaliisoliiso ayingire mu bya nayikonto ezitakola

Nayikonto ezitakola zitabudde ab’e Buvuma ne basaba kaliisoliiso wa gavumenti aziyingiremu. Abatuuze mu ggombolola y’e Nairambi mu disitulikiti y’e Buvuma bavudde mu mbeera ng’entabwe eva ku nayikonto ezaasimibwa ku myalo egy’enjawulo mu ggombolola eno emyaka munaana egiyise naye nga n’okutuusa kati tezikola.

Bano bagamba nti wadde nga zino zaasimibwa ku nsimbi za muwi wa musolo, abakozi ba gavumenti n’abakulembeze ku disitulikiti baagaana okuyingira mu nsonga zino. Okuva mu mbeera, kyaddiridde ssentebe w’eggombolola y’e Nairambi Matia Ocheng okulambula emyalo egy’enjawulo omuli Lukale ne Mpondwe.

Eno abatuuze baayo ne baamukaabidde ennaku y’okunywa amazzi amajama ge basena mu nnyanja sso ng’ate baali babasimidde nayikonto n’ekigendererwa ky’okubawonya okunywa amazzi amacaafu wadde ng’ate tezaabayamba kuvvuunuka kizibu ekyo.

Ocheng yagambye nti okuva mu mwaka gw’ebyensimbi 2011- 2012, mu ggombolola ye wazimbiddwaayo nayikonto nga mukaaga naye nga zino ekinene ennyo abantu zaabawa amazzi okumala wiiki emu ne zifa wadde nga bakontulakita baakola lipoota nga balaga omulimu guwedde bulungi era ne basasulwa ensimbi empitirivu.

Ku mwalo gw’e Lukale, mu kulambula twasanzeeyo nayikonto eyanzimbibwa era n’eggyibwako engalo ng’ennaku z’omwezi 19 June 2012 ku nsimbi ezaava mu nteekateeka amanyiddwa nga Poverty Alleviation Fund (PAF).

Bernard Maganda, ssentebe w’ekyalo Lukale 1 yagambye nti nayikonto eno bwe yamalirizibwa yali ereeta amazzi nga majama nga bakkontulakita babategeeza nti gano bwe ganaggwaayo ejja kuba etandika okuleeta amayonjo kyokka bwe waayita wiiki gaalekera awo okujja.

Omubaka w’ebizinga by’e Buvuma mu palamenti, Robert Migadde yasabye akulira abakozi mu disitulikiti y’e Buvuma ne ssentebe wa disitulikiti, Alex Mabiriizi okubuuliriza ku nsonga za nayikonto zino. nga ssinga banaakizuula nga waaliwo ekkobaane okunyaga ensimbi ng’abantu tebafunye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....