
Mutabaazi
Bya FLORENCE TUMUPENDE
SSENTEBE wa disitulikiti y'e Lwengo, Geroge Mutabaazi alagidde abatuuze
basaanyewo amasabo agajjudde mu Lwengo agagambibwa nti ge gaviirideko
ekitta bantu n'ekisaddaaka baana ekikyaase mu kitundu kino.
"Wabula Mutabaazi ndabye, bulijjo mu mawulire bampandiikakonti maze ennyumba z’essubi mu Lwengo naye abasamize mu kinkoze. Kino atooba kissusse, eggombolola emu bweti
okuba ng'erimu amasabo 500?
Kaakati y’essaawa abatuuze mutandikirewo okwokya amasabo gano ndabe
omusamize anabavunaana? Mutabaazi bwe yategeezezza.
Okwogera bino yasinzidde mu lukiiko mu ggombolola ye Kisekka
n’alagira abatuuze okuteeka mu nkola ekiragiro kino alabe omusamize
anavaayo okumwesimbamu.
Yalabudde abakulembeze abanagezaako okulemesa enteekateeka nti ajja kubaamula ku bukulembeze sinakindi abawewenyule kibooko.
Ekiragiro kya Mutabaazi kiddiridde Pulezidenti Museveni
okukyalako mu Lwengo wiiki ewedde n’alagira RPC Ratiifu Zaake okukwata
abasamize abavuddeko okutta abantu n'okusadaaka abaana ekivuddeko ettemu
okweyongera mu ggwanga.
Abantu munaana be baakattibwa mu bbanga lya myezi esatu.