
Joram Omir yayidde
Ruth Mirembe (mu katono waggulu) ow'e Kyotera yannyonnyodde nti mutabani we Isaac Ssenkima (waggulu) omukono ne feesi byayidde era ye ne banne abasimattusse omuliro guno bali mu bulumi obutagambika. ‘‘Nsaasira bazadde bannange abaafi iriddwa abaana mu njega eno. Nsaba Mukama Katonda abagumye n’abali ku bitanda abanyige ebiwundu bassuuke mangu’’.
BRIAN Ssendyowa (waggulu) omuliro gwamwokezza omuliro gwonna era ali mu ddwaaliro e Kitovu apooca.
FELIX Wasswa (mu katono) ow’e Manya awaagudde enjega wennyini yategeezezza nti muto we Henry Sserukeera yamusanze mu ddwaaliro e Kitovu gye yatwaliddwa ne banne abaasimattuse omuliro ng’apooca n’ebiwundu.
‘‘Yambuulidde nti ekiro ku ssaawa nga 7:00, yalabye omuntu ayiwa ebintu ebyefaananyiriza amafuta wabweru oluvannyuma n’akoleeza omuliro ogwazinzeeko ekisulo kyonna. Baabuuse mu bitanda badduke kyokka baagenze okutuuka ku luggi nga lusibiddwaako kkufulu bbiri essuubi ly’okuwona ne libaggwaamu.
HARRIET Nakanwagi (mu katono) omutuuze mu Rakai Town Council y’omu ku bazadde abaasangiddwa mu ddwaaliro e Kitovu ng’ajjanjaba mutabani we Godfrey Alinitwe apooca n’ebiwundu. Yategeezezza nti amawulire g’omuliro baagafunye kiro okuva ku omu ku bakulira essomero. ‘‘Omwana yayidde omutwe gwonna ne ffeesi n’egenderamu era ali mu mbeera mbi kubanga tannaba kwogera kigambo kyonna okuva lwe yaleeteddwa mu ddwaaliro wadde abasawo batugumya nti abaana bonna embeera yaabwe egenda kutereera’’.
GEORGE Kigaaju (mu katono) ow’e Kibaale - Kooki mu Rakai naye yategeezezza nti mutabani we Frank Kamanda omuliro yagusimattuse n’ebisago ebyamaanyi ku mubiri gwonna. Yategeezezza nti kino ekyatuuse ku baana baabwe kibadde tekibeerangawo ku kitundu kino n’asaba poliisi ne bannannyini ssomero okukola okunoonyereza ku batemu bano.
ABAYIZI bano (waggulu) nabo be bamu ku baasimattuse omuliro ogwakutte ekisulo. Tebaafunye bisago by’amaanyi era bano baabadde mu ddwaaliro ly’e Manya gye baagenze okufuna obujjanjabi n’okubudaabudibwa. Omuliro guno gwatandise ku ssaawa nga 7:00 ez’ekiro nga kigambibwa waliwo eyagukoleezezza.